● Ekkobe N’ente Balwanira Ngabo

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports ● Ekkobe N’ente Balwanira Ngabo

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17741
    KulabakoKulabako
    Participant

    Omuliro e Nakivubo

    ● Ekkobe n’ente balwanira ngabo

    GEOFFREY NDUGGA

    FARIDAH BONGOLE
    Olunaku buli omu lw’abadde alindirira lutuuse. Luno lwe lwa ffayinolo y’emipiira gy’ebika by’Abaganda 2010. Ffayinolo eno ya kubumbujjira mu kisaawe e Nakivubo olunaku lw’enkya (21/8/2010).

    Namunswa enkya y’ajja okukwasa omuwanguzi engabo
    a3.jpg

    Mu nsiitaano eno, gunaabula asala nga bazzukulu ba Namwama ab’ekkobe beeriga ne bazzukulu ba Katongole ab’ente, okulaba ani atwala engabo y’omwaka guno mu kucanga akapiira.

    Okutuuka ku ffayinolo, ab’ekkobe baawandudde bazzukulu ba Namuguzi ab’e Mpologoma ku mugatte gwa ggoolo 4-0 ate

    ng’abente bo baamezze Abalangira ku mugatte gwa ggoolo 1-0.

    Omupiira guno gusuubirwa okuba omunyuvu ddala, akageri ke kiri nti ab’ente balina ennyonta ya maanyi olwensonga nti engabo tebagikwatangako bukya empaka zitandika mu 1950.

    Kino kitegeeza nti ba kulwana okukuuka ejjembe okulaba nga bawangula ku ngabo eno nabo bagitwaleko ku butaka bwabwe e Mulema, Buddu.

    Bo bazzukulu ba Namwama ennyonta balina ntono bw’oba obageraageranyizza n’aba Katongole.

    Kino kiri bwekiti olwensonga nti bo waakiri engabo bagikutteko enfunda ssatu. 1955, 1961 ne 2008 gy’emyaka mwe baawangulira ku ngabo eno eyeesungibwa abangi.

    Robert Kakooza, ng’ono ye muwandiisi wa ttiimu y’ekika ky’ente yategeezezza Eddoboozi ly’emizannyo mu kutendekebwa ku kisaawe kya Nakivubo Blue mu Kampala nti abasambi baabwe bonna bali mu mbeera nnungi era balinze ffirimbi yokka balyoke batimpule ekkobe mu maaso ga Ssaabasajja.

    “Mu butuufu tuli beetegefu era tetulina kye twekwasa. Okusinziira ku kutendekebwa kwe tukoze, ekkobe terijja kuyimirira mu kkubo lyaffe eryokutwala engabo. Tusaba kimu kyokka bantu kujja kutuwagira,” Kakooza eyabadde ayogeza obuvumu bwe yakkaatirizza.


    Omutendesi w’ekkobe, Geoffrey Nsereko yalabudde ab’ente nti balina okujja nga beesibye bbiri kuba nabo engabo bagyetaaga.

    Nsereko yayongeddeko nti ente okubatwalako engabo, okulafuubana kwabwe kwonna mu mpaka z’omwaka guno kujja kuba kugudde butaka era tebajja kuganya kino kubaawo.

    Ye omwogezi w’akakiiko akaddukanya empaka zino, Lwanga Kamere, yagambye nti ebyokwerinda binywezeddwa era n’asaba abantu okujja mu bungi okwaniriza Ssaabasajja.

    Omupiira gwa kutandika ku ssaawa 10 ez’olweggulo era Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y’ajja okukwasa abawanguzi engabo.

    Ddiifiri Denis Batte ye yalondeddwa okulamula omupiira guno. Batte wa kuyambibwako Samuel Kayondo ne Ramadhan Kizito ng’abawuubi b’obutambaala.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.