Home › Forums › Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic › Kintabuli / Salmagundi › Abaakafa Ebola baweze
- This topic has 2 voices and 2 replies.
-
AuthorPosts
-
July 30, 2012 at 1:08 pm #18771
Kalibattanya
ParticipantAbaakafa Ebola baweze
18Jul 30, 2012
Omu ku bajjanjaba aba Ebola nga yeesabise.Kampala
Bya Ismael KasoohaABANTU abaakafa obulwadde bwa Ebola obwabaluseewo mu Disitulikiti y’e Kibaale baweze 18 oluvannyuma lw’okunoonyereza kw’abasawo.
Mu kusooka, kyategeezeddwa nti abantu 14 be baakafa obulwadde buno, kyokka kyazuuliddwa nti waliwo abantu abalala bana abaafudde mu bitundu eby’enjawulo abaabadde n’obubonero bwonna obw’obulwadde bwa Ebola.
Abalwadde b’obulwadde obulala mu ddwaaliro ly’e Kagadi badduse ne bava ku bitanda nga batya okukwatibwa Ebola ne bategeeza nti obujjanjabi bajja kubufunira mu maka gaabwe.
Mu ddwaaliro e Kagadi wakuumirwayo abalwadde ba Ebola mukaaga abaamaze okukeberebwa ne kikakasibwa nti babulina kyokka ng’abasawo baasattidde omu ku balwadde ba Ebola bwe yeemuludde n’adduka mu ddwaaliro nga baataddeko abantu okumunoonya wabula nga we bwazibidde yabadde tannalabika.
Dr. David Mukome eyalondeddwa okulabirira enzijanjaba y’ekirwadde kya Ebola mu ddwaaliro e Kagadi yategeezezza nti kati ekizibu kye bafunye ly’eddagala eribaweddeko n’ebikozesebwa ng’okwesabika n’ebirala okubakenderako.
Obulwadde buno bweyongedde okusaasaana mu magombolola mangi mu Kibaale era wateereddwawo ttiimu y’abajjanjabi abasindikiddwa mu byalo okukung’aanya abantu abalina obubonero bwa Ebola nga babaleeta mu ddwaaliro okwongera okukeberebwa n’okujjanjabwa.
August 1, 2012 at 6:16 am #28032Omumbejja
ParticipantEmbeera eri mu Uganda yefananyirizaako ne yali mu Egypt nga abantu bamaze okukabirira Katonda olwo kubonabona kwebayitamu. Gwaate amataba mu kibuga wakati agatuuka abantu mu bifuba endwadde ezijjira okumu okumu ebintu abatemu byebayingiza mu nsi ebyokusadaaka abantu Mukama tabyagala kyokka nga basadaaka abantu Katonda beyetondera babasadakire sitaani obutonde bwonna nebwononebwa olwomulugube ogwabatonoa ate bamusenze alanda, ebintu ebyandisigadde mu kibira , ekibira bwemukitema nga bijja gyemuli , ate singa tebasanga bantu baabakwatirwa kisa nebabasenze nga badduse yonna gyebaava kyokka bo mukubasasula nebabasasulamu kubatta ogambako nti kale ebintu ebyo byonna bisasulwa mu luvannyuma buli mubi kyasiga kyakungula.
August 1, 2012 at 6:16 am #28033Omumbejja
Participantnkomawo
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.