Abaatwokya asidi balya butaala mu Kampala

  • This topic has 3 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #18692
    Mirembemirembe
    Participant

    Abaatwokya asidi balya butaala mu Kampala

    Bya Hannington Nkalubo

    lawyer.jpg

    LOOYA w’omu Kampala ne mukyala we bwe bakutendera ennyiike n’obulumi bye balimu okuva lwe baayiirwa asidi tolemwa kukwata ku ttama! Ekisinze okubaterebula bagamba nti poliisi ne kkooti tebibayambye kukwata na kuvunaana abagambibwa okubatuusa ku kibambulira kino wadde ng’obujulizi bwonna baabubawa.
    Tebusweeke Mayinja ne mukyala we Prossy Mayinja asidi baamubayiira bali ku bitaala by’e Wandegeya mu November w’omwaka oguwedde.

    Looya Tebusweeke abadde akola mu kkampuni y’omubaka wa palamenti, Erias Lukwago agamba ye ne mukyala we beetaaga obukadde bw’ensimbi 150 okulongoosebwa mu Buyindi basobole okutereera olususu.

    Tebusweeke agamba nti baakoma magombe attottola bwati: “Asidi yanjokya mu maaso, ensingo, ekifuba n’olubuto era kati ntambula nga Njovu, sisobola kukyusa nsingo. E Mulago tumazeeyo emyezi kumpi ena nga tujjanjabwa era emirimu gyaffe egisinga gyayimirira. Omusango ogugambibwa okututemuza nagwo gukyalemedde mu kkooti okusalwa ate n’abantu be twemulugunyaako ku poliisi nti balina kye bamanyi ku butemu buno poliisi yabakozesa sitetimenti zokka n’ebavaako.

    Fayiro yaffe ekyalemedde ew’omuwaabi wa gavumenti era mpandiise ebbaluwa nga nneemulugunya lwaki tebateekebwaako musango ate ng’obujulizi bwonna bwaliwo.”

    Mukyala we Prossy Tebusweeke yagambye nti yaziba eriiso erimu , feesi yayonooneka ate akyalumizibwa nnyo. “Simanyi oba naddamu okukola ate nga ne baze Tebusweeke wadde yatandise okukola, akyali bubi. Ffembi twetaaga ssente okugenda ebweru w’eggwanga tulongoosebwe,” bwe yagambye.

    Tebusweeke eyatandise okukola wadde ng’akyali bubi, yasengudde ofiisi ze okuva mu kkampuni y’omubaka Erias Lukwago n’akola eyiye .

    Eyiye yagituumye M/S Tebusweke Mayinja , Okello and Co. Advocates nga ofiisi yazitadde ku kizimbe ky’omugagga Mansoor Matovu ekiyitibwa Namaganda Plaza e Nakasero.

    Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Judith Nabakooba yagambye nti poliisi yayita abantu n’ebakozesa sitatimenti era fayiro ne bagiweereza ewa ssaabawaabi wa gavumenti bagikoleko nga kati tamanyi we bituuse.

    Abaagenda ku poliisi ku musango guno ne baggyibwako sitetimenti kuliko ssentebe wa Kira Town Council, Mamerito Mugerwa, omukungu mu ofiisi ya Pulezidenti Resty Kigguli, agula n’okutunda ettaka mu kitundu ekyo Kaboggozza Mutwalibu n’omupunta.

    Tebusweeke agamba nti omusango gw’ettaka gweyali awoleza muzeeyi Kalooli Tabula abeera e Namugongo gwe gwamutemuza. Abantu baayagala okunyaga ettaka lya Tabula erisangibwa e Namugongo nga liwera-ko yiika 25 nga buli yiika ebalir-irwaamu ssente obukadde 150. Agamba nti bwe yabalemesa m-u kkooti ne baagala okumutta.

    Abagagga baasooka kwagala kungulirira bampe ssente zonna ze njagala nve mu musango batwale ettaka era baatuma omu ku mikwano gyange nga musuubuzi w’omu Kampala ne tusisinkana mu kawoteeri ka Mandera ku Bombo road .

    Twayawukana nga mbalemesezza era mba nnyimiridde ku bitaala by’e Wandegeya mu mmotoka n’omukyala ne batuyiira asidi.

    Agamba nti ne balooya banne nabo tebafuddeeyo kumuyamba. Yaweze nti kazzeemu okukola tagenda kuva ku musango gw’okumuyiira asidi n’ogwa muzeeyi ogw’ettaka okutuusa ng’amateeka gakoze ku bakwatibwako.

    bukedde

    #26416
    Mirembemirembe
    Participant

    Aboluganda mugyebaleko gyona gyemukola bannyabo ne bassebo.Banange kino kyampitirideko ekya Lawyer wamu ne mukyalawe. Ensi wabula eggwawo. Ebikolwa ebyobutemu bisusse banange. Wabula Lawyer musajja muzira nnyo nyo yalaze obuvumu alemeddeko naye tumusabire nyo kuba abakikola bakyamuliko. Ensonga enkulu eri muddiro yetaga buyambi babmi atwalibwe ajanjabibwe. Yandiba owomugaso gyetuli mubiseera byaffe ebyomumaso. Twekube empawa tumudukirire. Kyonna kyetunaba tusobodde. Mukama abere namwe yonna gyemuli tusabiragane tuvunuke ebizibu byetulimu :( :(

    #26417
    NkokoteyottaNkokoteyotta
    Participant

    Baganda banange mbalamusizza. Kino kibinyo ekya Lawyer (Mukulu Tebusweeke Mayinja). Nsaba tumudukirile. Ekyamutusizza kukino kulwanirila bwenkwanya. Sekyo kyokka naye okutaasa ettaka lyabaganda elibibwa. Essimu ye yeno +256782576167. Bwoba olina kyona kyolina yogera naye mulabe bwekiyinza okumutukako. Mwebale nnyo. Tusigale ngatulikimu mubiseera bino ebizibu.

    #26420
    MulongoMulongo
    Participant

    Nkokoteyotta oli otya?

    Ku nsonga ya munnamateeka waffe oyo, mubadde mulinda ki, abaamwookya besalire omusango? Kubanga nze ndowooza okusobola okusala omusango omuntu abeera nokumanya era nokugerageranya nga asobola ekizibu kyomulala okukyessaako, ate nembeera yooyo ali mu musango nagifumitiriza. Awo kibeera kyanguko okusala amazima. Naye ensi tesobola kujjula bantu bagenda nga bookya bannaabwe acid nga ate bwebagenda nga tebabonerezebbwa. Naye kasita omusango teguvunda. Abantu naddala Abaganda betaaga okulabula abalina amatu bawulire nti ebintu bijja kukyuuka nga bulijjo bwebikola, baleme kusangibwa nga eddembe lya Buganda bbo libassa mu nkomyo.

    #27267
    NkokoteyottaNkokoteyotta
    Participant

    Baganda banange mbalamusizza. Kino kibinyo ekya Lawyer (Mukulu Tebusweeke Mayinja). Nsaba tumudukirile. Ekyamutusizza kukino kulwanirila bwenkwanya. Sekyo kyokka naye okutaasa ettaka lyabaganda elibibwa. Essimu ye yeno +256782576167. Bwoba olina kyona kyolina yogera naye mulabe bwekiyinza okumutukako. Mwebale nnyo. Tusigale ngatulikimu mubiseera bino ebizibu.

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.