Abagala Oluganda nga Olulimi lw’eggwanga

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Olulimi Oluganda / Luganda Language Abagala Oluganda nga Olulimi lw’eggwanga

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18115
    MachatiMachati
    Participant

    “Ani yakola etteeka eryafuula amatooke emmere ya Uganda enkulu, n’eryafuula ekkanzi ne ggomesi ebyambalo by’eggwanga?” Kintu Musoke bweyabuuza. Yerabidde nti Uganda eyagala kubba bubbi si kuteesa. Amatooke, busuuti ne Kanzu kati bagamba byaabwe bebasisookako. Bubbi nabutemu bwokka byebasobola. Batulekere olulimi lwaffe lwekitegeevu bogere ebyaabwe.

    Olulimi lw’eggwanga: Oluganda lukyetaaga okukubwako akalulu?
    Jun 19, 2012
    Bya Ahmed Kateregga

    “E Bungereza boogera Lungereza, e Bufalansa boogera Lufalansa, …n’e Uganda boogere Luganda!” Ekirowoozo ekyo kyali kya mukungu eyali akulira eby’okunoonyereza ku ggwandiikiro lya NRM, Maj. Roland Kakooza Mutale mu katabo ke, ke yali yeekung’anyiza akaayitibwanga Economy mu 1988. Kaafulumanga mu Lungereza!

    Maj. Mutale yagamba nti yali akimanyi nti waliwo abaali bagenda okumulagira okulowooleza mu muwanga nti kyokka kye yali agamba kyali mu giraasi nti olulimi lw’eggwanga terusobola kubeera lusuubule. Lulina kuba lunnansi era nga mu za wano, Oluganda lwe lwali luzisinga ensumika, kubanga lwali lusinga okwogerwa mu bitundu bya Uganda ebisinga obungi.

    Maj. Mutale yali yeegasse ku kubaganya ebirowoozo okwali kutandise mu 1986 amangu ddala nga NRM yaakajja mu buyinza. Ku mukolo ogw’okusiima ebirungi enkumu omugenzi Dr. Michael Bazzebulala Nsimbi bye yali akoledde olulimi Oluganda, ogwali ku Theatre Exellesior (eyali ku Bat Valley), eyali omugenyi omukulu era Katikkiro wa Uganda omugenzi Dr.Samson Kisekka, yasoomooza ab’ekibiina ky’olulimi Oluganda okulutumbula lufuuke olulimi lw’eggwanga.

    luswayiri oba luwalabu?

    Ebyo olwagwa mu matu g’abantu ne batandika okuwandiika ng’abamu bawagira Dr. Kisekka ng’abalala bamuvumirira. Mu baamuwagira mwe mwali Maj. Mutale. Abalala baalaga omugaso gw’Oluswayiri okubeera olulimi lw’eggwanga nga bwe guli ku muliraano e Kenya n’e Tanzania, nti era Amin yaleka akoze etteeka erifuula Oluswayiri olulimi lw’eggwanga eryali lyetaaga obwetaazi okussa mu nkola.

    Okuva olwo, lwe lwali ku ssente za Uganda nga luli wamu n’Olungereza. Abawakanya Oluswayiri beesibanga ku kya kuba lugwira, lwasaanyizibwa Bawalabu n’Abaswayisi abasuubuzi b’abaddu, abandi nga balulabamu Obusiraamu, ate ng’abalala nti amagye ga Obote ne Amin ne bakkondo baalukozesa nnyo okutulugunyas abantu.

    Ate waaliwo abagamba nti ekizibu kya Uganda terwali lulimi lwa ggwanga, wabula ddembe na nkulaakulana. Eriyo abaali baagala Olungereza lukole byombi. Olaba eriyo n’abateesa lubeere Oluwalabu! Oli yawandiika mu New Vision ng’agamba nti Oluwalabu lwe lulimi lwa Katonda era nga lwe yayisaamu obubaka bwe obw’enkomerero obwakka ku Nabbi Muhammad (S.A.W) nga bwe buli mu Kulaane entukuvu!

    Eby’olulimi lw’eggwanga tebyali bipya kubanga Amin bwe yayogerera Oluganda mu lukiiko lw’ekibiina ky’amwanga amagatte olwatuula mu kibuga New York mu 1975, mu bukulu bwe nga ssentebe wa OAU, yavaayo ng’ayagala kululangirira nga lulimi lwa ggwanga. Kino ne bwe kyali tekinnaba, abantu nga Nathan Epenu, eyawandiika mu Uganda Argus mu April wa 1972, yavumirira nnyo okufuula Oluganda olulimi lw’eggwanga.

    Ate abalala ne bamuwakanya nga bagamba nti abamu ku Bannayuganda tebasobola na kwawula bigambo bya nnimi ngwira. Ku Obote ll , naye yalaga obwennyamivu olw’obutaba na lulimi lwa ggwanga lwe yali asobola okwogereramu bannansi bonna ne bamuwulira. Awo omutaka Medard Muliira, eyali asaze eddiiro okuva mu DP n’adda mu UPC n’amwambalira mu katabo The New Century, akaakubwanga ekkanisa ya Uganda, ng’agamba nti Oluganda lwali lwogerwa mu Buganda, obuvanjuba n’obugwanjuba bwa Uganda.

    Ani awakanya Oluganda?

    Mu 1989, akakiiko k’okukung’anya ebirowoozo by’okuwandiikamu Ssemateeka kassibwawo era mu bimu ku Bannayuganda bye batakkaanyaako lwe lulimi ki olusaanidde okufuuka olw’eggwanga. Olukiiko lwa Ssemateeka (1994-5) bwe lwatandika okukiteesaako, Paul Lubowa okuva e Budiope n’asemba lube Luganda.

    Baali bamulya bumere! Akakiiko akaali kakikwasiddwa nga kakubirizibwa Matiya Baguma Isoke ng’amyukibwa Bwerere Kasole, kaasemba lubeere Luswayiri yadde kino kyawakanyizibwa ababaka abamu nga Elly Karuhanga (Nyabushozi) nga bagamba nti mu Uganda temuli bamanyi Luswayiri.

    Bwe gutuuka mu lukiiko olw’awamu, ababaka abasinga ne balabika nga kye basemba, abataakisemba beekandagga ne bafuluma balemese omuwendo ogumala okukiyisa. Mu bano mwalimu eyali omumyuka wa Pulezidenti Dr. Specioza Wandira Kazibwe, n’eyali Katikkiro wa Uganda Kintu Musoke. Tekyayitamu. Olungereza lwasigala nga lulimi lutongole nga bwe gwali okuva mu 1962, gavumenti eya wakati n’ez’ebitundu ne zikwasibwa obuvunaanyiizbwa okutumbula ennimi ennansi.

    Kintu Musoke yali abaddeko mu mboozi ne Bukedde ne yeewuunya oba Oluganda lwali lwetaagako etteeka ly’okufuuka olulimi lw’eggwanga.

    “Ani yakola etteeka eryafuula amatooke emmere ya Uganda enkulu, n’eryafuula ekkanzi ne ggomesi ebyambalo by’eggwanga?” bwe yabuuza.

    Mu nnongoosereza ya Ssemateeka eya 2005, Oluswayiri lwafuuulibwa olulimi olwokubiri olutongole, nga bwe kyetaagisa mu ndagaano y’omukago gwa East Afrika ogugatta Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, ne Burundi.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.