Abaganda Abagenda Mu London Olympics July 2012

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebyemizannyo / Sports Abaganda Abagenda Mu London Olympics July 2012

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17651
  Alex KigongoAlex Kigongo
  Keymaster

  Ekitiibwa kya Buganda kyaava dda, naffe tukikuumenga.
  Jul 12, 2012
  [attachment=2577]Nanyondo.jpg[/attachment]
  Nakaayi (ku ddyo) ng’attunka n’Abazungu

  Barcelona
  Bya TEDDY NAKANJAKKO, SPAIN

  WINNIE Nannyondo awaniridde bendera ya Uganda bwe yeesozze fayinolo y’emisinde mu mita 800 mu mpaka z’abato eza World Junior Championships eziyindira mu kibuga Barcelona ekya Spain.Nannyondo okutuuka mu fayinolo yakutte kyakubiri mu kibinja ekyokusatu ng’addiridde Omungereza Jessica Rudd eyamukubidde ku kaguwa. Nannyondo yategeezezza nga bw’agenda okukola ennyo ku ngeri gy’ammalirizaamu mu mita ezisembayo kuba Omungereza Judd asobola okuwangula zaabu. Ate ye kapiteeni Halimah Nakaayi tebyamutambulidde bulungi bwe yasuuliddwa olw’okulinnya mu layini endala ekitakkirizibwa.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.