Abaganda bakoze ennyonyi

This topic contains 2 replies, has 3 voices, and was last updated by Machati Machati 8 years, 10 months ago.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18443
    Machati
    Machati
    Participant

    Abalala bali mu kubba, Abaganda bagenda mu maaso. Baligenda okuzukuuka bategeera kyetubaddenga tubagamba, nga baasigalira dda!!Wamma baana mwebale kukola, mwongere okuwagira Obuganda, tulage ensi kyetulinawo.

    Abaganda bakoze ennyonyi
    1286049756bayizzi.jpg
    Nsamba (wakati) ne banne nga bakola ennyonyi. Bagamba nti bwe bagimala nga bakola ekizungirizi.

    ABAYIZI abaatendekebwa e Makerere ne mu Amerika bayiiyizza ennyonyi ey’ekika kya ‘Dyna’ ng’etwala abasaabaze babiri. Bagituumye ‘Afrikan Sky Hope’ ng’omulimu guno bagubaliridde okumalawo obukadde bwa doola 18 okusinziira kw’akulira kaweefube ono e Ntinda, Chris Nsamba.

    Ennyonyi eno Nsamba agamba nti bateekateeka okugibuusa mu bwengula bwa ffuuti emitwalo ena n’ekitundu ku ntandikwa ya November w’omwaka guno ku nnyanja e Bukasa.
    Published on: Saturday, 2nd October, 2010

    #27124
    Busagwa
    Busagwa
    Participant

    Kati awo ensi ekimatire nti okuva edda nedda Amagezi gaali ga BAGANDA..era ffe twasooka okukola Emmundu gyebayita Ssasi limu “cock and Fire” naye abasajja ba Kapere Lugard tekyabasanyusa era eyagivumbula yattibwa!
    Wamma Basajja ba Kabaka temujjanga okwo!ebyo byonna byebo
    noona tujja kubizzaawo nga tumaze okubasibirako..

    #27125
    Mirembe
    mirembe
    Participant

    Banange abasajja ba Kabaka mwebale nnyo mwebalire ddala. Kino kijjakwogerwako ne mu History yensi yonna. Mugende mumasao abakotogezzi temubafako. Bajajjaffe bali bamanyi okuyiya ebintu bingi nyo ddala era nerinya nelikazibwa MAGEZI GA’BAGANDA. Kino kywewunyisa . :woohoo:

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.