ABAGANDA BATUNULA MU BUZIRA BWA SSEKABAKA MWANGAII

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads ABAGANDA BATUNULA MU BUZIRA BWA SSEKABAKA MWANGAII

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Kalibattanya Kalibattanya 5 years, 4 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18366
    Kalibattanya
    Kalibattanya
    Participant

    [attachment=2629]10329073_10201716242657653_6306909512496003900_n.jpg[/attachment]
    ABAJULIZI: Lwaki Mwanga asaanye afuulibwe muzira
    Kampala | Jun 03, 2014

    Bya AHMED KATEREGGA

    Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byamateeka n’ensonga za Ssemateeka Mw. Apollo Makubuya asabye wazimbibwewo ekuijjukizo kya Ssekabaka Daniel Basammula Mwanga ll ng’omu ku bamwoyo gwa ggwanga abaalwanyisa ennyo obufuzi bw’amatwale mu kifo ky’okumuvumiriranga obuvumirizi olw’okutta Abajulizi.

    Mw. Makubuya agamba nti yeewuunya okulaba nga Kabaka Mwanga ll talina kijjukizo kyonna eky’olukale ekimujjukirwako sso nga ye ne muganda we Ssekabaka John Kabarega owa Bunyoro, baalwana masajja okutaasa ensi zaabwe obutawambibwa Bungereza ne balemererwa bulemererwa.

    Ekifaananyi kino kyakubirwa Bukumbi e Mwanza mu 1885. Abajulizi 20 baali bagenze kwaniriza Msgr. Leon Livinhac eyali aweerezeddwa mu Buganda. Wano baali tebannafuuka Bajulizi.

    Agattako: Ne Gen. Gabriel Kintu, eyali omuduumizi w’abayeekera Abakatoliki, abaalwanirira ennyo Ssekabaka Mwanga, ne bwe yali amaze okuggyibwa ku Nnamulondo mu 1897, ne batuuka n’okusala ensalo okugenda e Tanzania mu 1914, nga Ssematalo eyasooka (1914-1918) abaluseewo, gye baalwanira ku ludda lwa Girmaani nga bagenderera okufuumuula kuno Abangereza, naye talina kijjukizo kyonna nga mwoyo gwa ggwanga.

    Abagabe ba Kabaka abaamulyamu olukwe ne bakulembera eggye eryamuwambira e Lango nga Apollo Kaggwa, Semei Kakungulu ne Andreya Luwandagga buli omu Abazungu gwe baasasula Lupiya 1,000 olw’okuwamba Kabaka waabwe lwaki batenderezebwa mu kifo ky’okuvumirirwa obuvumirirwa?

    Okumanya Mwanga yali muganzi eri abantu ba bulijjo, bwe baawambibwa ne Kabaleega ne baleetebwa e Kiteezi mu Kyaddondo gye baggyibwa okutwalibwa ku mwalo e Busaabala okusaabazibwa okuwang’angusirwa e Sesere, Abazungu n’abaleebeesi baabwe baali balowooza nti abantu bagenda kubajeeja, kyokka baalabira awo nga basimba ku luguudo okussa ekitiibwa mu Kabaka waabwe, era nga basaba Abazungu bamusonyiwe.

    Ekirowoozo kye baalina okumusibira mu Lubiri e Mmengo baakisazaamu ne basalawo kumuwang’angusiza ddala kubanga baali bakimanyi nti Abaganda baali basobola okwegugunga ne bamuzza ku Bwakabaka.”, bw’agamba Makubuya yabadde ayitaayita mu katabo, “Mwanga ll: Resisitance to Imposition of Colonial Rule in Buganda 1884-1899” akawandiikibwa kakensa w’ebyafaayo, Polof. Samwiri Lwanga Lunyiigo.

    Yagambye nti yeewuunya abantu okutendereza abakuza ba Ssekabaka Daudi Cwa ll nga Apollo Kaggwa, Stanislas Mugwanya ne Zakariya Kisingiri, olw’okwekobaana n’Abangereza ne baggya obuyinza ku Kabaka ne babweddiza nga bayita mu ndagaano ya 1900 n’agamba nti singa baali balumirirwa ensi yaabwe, tebandifeebezza Buganda eyali ensi eyeemalirira okufuuka pulovinsi mu Uganda ekuumibwa.

    “Waakiri bwe twandizzeemu okwefuga, twandibadde twemalirira nga bw’olaba Rwanda, Burundi oba Obwakabaka bwa Lesotho oba Swaziland,” bwatyo bwe yategeezezza n’agattako nti n’endagaano ya 1955, gye batenda nti yaggya Kabaka mu lwokaano lw’ebyobufuzi, yayongera bwongezi kumunafuya nti era Abaganda si kye baali baagala.

    Mw. Makubuya akkiriziganya ne Polof. Lunyiigo nti abawandiisi b’ebyafaayo bya Buganda ne Afirika babadde ne kyekubiira nga balaga abaalwanyisa obufuzi bw’amatwale nga Mwanga ng’abatemu sso ng’Abazungu nga Capt. Lugard be batemu bennyini n’anokolayo lwe baayokya Ekereziya y’e Lubaga, Kabaka Mwanga n’addukira ku Bulingugwe enkumi n’enkumi z’abantu battirwayo oba okubbira mu nnyanja Nalubaale baleme okuttibwa emmundu luwandula masasi, nti kyokka Abangereza kantanyi wa Paundi za Bungereza 10,000 baamusasula baminsani b’e Lubaga bokka Kabaka n’abantu be abattibwa tebaaliyirirwa.

    Ekyafaayo ekirala ekikulu mu katabo kano, ekitatera kwogerwako kwe kuba nti nga Mwanga ne Kabarega bagenda bati okusaabazibwa, baabatizibwa omuminsani Omupolositante, John Ashe amannya ga Daniel ne John wadde nga kimanyiddwa nti Mwanga eddiini yasomanga ya Kikatoliki.

    Kabaka Mwanga nga bwe yakuba Olubiri e Mmengo, omuwandiisi omu J.S. Kasirye (Abateregga ku Namulondo ya Buganda kye agamba nti ekifo ekitatama), n’asimisaawo n’ennyanja mu Ndeeba, gye yagambye nti yali tawuliranga ku Kabaka mulala yali agisimisizza.

    E Mmengo ye wasaanidde okumuzimbira ekijjukizo. Kasirye agamba nti Mwanga okutta Abaajulizi yaweesa Buganda ne Uganda ekitiibwa.

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.