Abaganda Buli Webali Bakyuuse N’embeera?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyokumawanga / Diaspora Data Abaganda Buli Webali Bakyuuse N’embeera?

  • This topic has 8 voices and 9 replies.
Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • Author
    Posts
  • #18484
    MulongoMulongo
    Participant

    Ebifo byetulimu bitukyusizzamu. Abasigala eka naabo bakyuuka nenkyuuka kyuuka zaayo. Nabagenda buli bamu mu nsi ezenjawulo nabo endowooza zaabwe nezetabikamu ebye mbeera yaabwe mu nsi ezo. Abaganda abaali eka balaba batya abantu abali ebweeru, ate abali ebweeru mulaba mutya abali eka? Ate abali ebweeru mulaba mutya bannammwe abali mu nsi endala? Tunyumize nsi ku nsi.

    #21637
    MubiruMubiru
    Participant

    Omuntu alinga Nawolovu. Ate era kyetagisa omuntu okukyuusa embeeraze zifanane nekitundu mwaali. Bwogugubira kumbeera jobaddemu, notakyuusa okusinziira mukitundu mwooli, oyinza obutamalaako.

    Ekyokulabirako, bwennali aka nali nsoma omusomo ogweBungereza gwebayita ICSA. Bwenatuuka wano wendi kati, omusomo guno gwaali tegumanyiddwa, kuba ekitundu kino ssi kyogezi kya lungereza. Nnali njagala mmalirize omusomo gwange wano, naye bangamba nti nebwenagumala, tegusobola kunfunira wano mulimu. Bampa amagezi nsome emisomo gyawano. Nange nalina okukyuusaamu, nenva kumbeera jembaddeko eka, nenzira kumbeera enenyamba (survival) mukitundu kino wendi kati.

    Wabula okutwalira awamu, abantu yadde bakyuuka okusinziira mubitundu webali, kyokka basigala nga mubuntu bebamu nga bwebaali edda. Kyova osobola okwetaba mumboozi obulungi n’abo bewaleka eka. Okutwalira awamu muba mukyakwatagana.

    #21695
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Abaganda bwebatuuka mu Britain kigambibwa nti bafuna ettima namalala nokuvaako omwooyo gwa Buganda ogwo bumu. Buli abakubira essimu balowooza nti abasaba buyambi, nga bamubuuza ebibuuzo mu ngeri eterimu buntu bulamu nakamu. Waliwo eyanyumiza nti yagenda mu London okulambula, aba atambula mu kkubo nasanga abakyaala abogera Oluganda nababuuzako, tebamuddamu bamuyitako buyisi ate nga bwebamuzimula nokumuzimuula. Naye Omuganda agamba nti towemukiranga Bunyoro nga atalidda Buganda. Kyennebuuza mbeera ki eyinza okukyusa omuntu natuuka kweekyo?

    #21708
    MulongoMulongo
    Participant

    Nnalina munnange gwenali nnoonya bwetwakulira mu kitundu ekimu. Ebiseera bizibu, ogira banno nobeebuza, bwoba osoboola nobanoonyako olabe bosigazza, ku banno abakumanyidde ddala obulungi. Kale nange bwentyo ssaalwa nga mpisa kalango mu bamanyi, mba ndi awo nga bampa essimu ya kizibwe we bwebabeera. Nange ssali mubi nga ngikuba, bwennesunga okuyita mu byedda. Kizibwe yeyagisitula, nnasooka mmulamusa bulungi, bwennamala nga mubuuza mutayi wange, kko yye, mu ddobozi ekkambwe ddala, “Ggwe ani, era ani akuwadde essimu yange?” Nange nga mukaliramu, ” Maama, abasajja Abaganda nga mukaaye! Yadde ekisa kyonna eri Baganda bannammwe temukyalina? Nammwe abava mu maka aga bantu? Olwo babawula batya eyo? Kati nno manya ssebo, mwana wani bwakula afuuka ani? Kitaawo mummanyi, kati naye ggwe, ggwe ani owa malala amagi bwegati?” Awo netutereera. Era netunyumya bulungi. Netumanyaganako nawo ku ssimu ekitono. Nantengeeza ne mukwano gange essaawa zeyali agenda okudda. Nange era kwennakubira essimu. Ekinzija enviiri ku mutwe era nadda mu byebimu. Nga mmaze okweyanjula bwetwazirunda addamu ambuuza, “Ggwe ani, nga sikumayi!” Nange mmubuuza ku bannaffe bwetwakula, nga bonna agamba tabamanyi. Kko nze, “Gundi(amannya ge gonna) sagala buyambi bwonna okuva gyooli essaawa eno. Siri namu London wenjogerera, nkubye kulaba bulabi bwooli, naye olabika ggwe wetaaga obuyambi. Wagwa ku madaala, waaba ki? Oyinza otya okwelabira banno bonna? Bitiibwa ki, sente ki ezo zewafuna?” Nga naye munnange lwadda engulu, twanyumiza essaawa eziwera, naye siddangayo kufuna maanyi gamukubira nate. Kati wayise emyaaka nga esatu. Nninda bakule.

    #21718
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Haahaha:laugh:
    gamba olinda bakwaate obuggo gwaate bwobala emyaaka gyolinda bakule Ebuganda omwaana oluweza emyaaka 18 aba abalibwa mu basajja bakulu, nze ndowooza nti okyayinza okusigala nga wekengera mubuntu bulamu okutuusa lwomanya gwoyogera naye . okusinga okudda engulu ngomaze okuwebuuka olwo bukambwe obungi bwoleeta webutasaana.

    Nze wenatukira baali tebalaba nyo baddugavu naye ndowooza nti namaalo galimu amatono kuba eka bakukuza bakugamba butatunulira nnyo bantu naye bwotuuka awantu omuntu nakutunulira neyelabira nokubunira omanya nti ekyo kirwadde kyennyini, ngo jeeko nti ebintu byaabwe byaali bitambulira ku speed ngo kwogera kati bwomanyiira embeera ngeeyo noddayo eka noyingira mu duuka oli nakubuuza, tukuuuuuuuuuyyyaaaaaaambbbbeeeeeekiiiii nnyaaaaaaaaaaaaabo oba oyagala ebintu kubimumalirayo mangu kuba olwo olurembeggereza oba tokyalujjukira nti wali olugumikirizaako

    #21723
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Eno nze gyegwansingira, eriyo Abaganda abalowooza nti okubeera ku mawanga kya waggulu okusinga omuntu okubeera mu nsi ye. Obuganda babwagala kugenda kwewanira ku bantu abasigala yo, mbu nga bwebabeera mu ba lususu lweeru, era nga bwekibafudde abawaggulu. Era kya nnaku okubasanga nga abamu bamanyi nokugamba nti Oluganda tebakyalujjukira. Bawulira kya muwendo nti abaana baabwe tebalumanyi. Newewunya nti oba balowooza nti Israel ne Palestine balwanira ki?

    #21733
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Nalabako abaali e Kenya omwezi gumu nebada nga tebamanyi Luganda. Oba bali balwaliddeyo simanyi. Nalaba babavunulira. Ate nga balimba mbu bali Kikago, kubanga e Mombasa eriyo somewhere ekipande ekiroko nti Kikago. Awo webekubira ebifananyi ne bagamba ennyonyi yaabwe yabuka kipayopayo, abali bagenda e Nairobi besanga babatusizza Kikago.

    #21742
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Naye oluusi gaba maalo nga fubutuse eri mu Mpa akataaba talabye bingi kale nalowooza nti negwanasanga ebweeru ajja kuba so impressed nze ssiraba muntu asula ku mawanga ngo bulamu bwebubaako obwo kukekkereza, nga oluusi omuntu walina okwa afford-inga okusobola okufisaawo nga kabe kasinge nebweeru kuddirisa lye abatamiivu webafuka nalyooka alowooza nti olwokuba eyo embeera emusanze bweeru wawaggulu kwaabo ababa basigaddeyo eka, oli nebwaaba asula mu kasisira ekyokuba nti aliko ennyumba nolusuku mwalima aba awo talina ngeri yonna gyamwenkanira.
    Era kyoova olaba nti okuva edda Abaganda bakuzanga abaana baabwe bawe abantu ekitiibwa kuba oli nga kyasooka okubuuza nti oba yaaba amusuza oba okumuliisa kuba ebyo, nebongereza okwo okulaba nti abaana baabwe babasaamu omwooyo gwokwekolera basobole okwetusaako ebintu ngeebyo.
    Kuno okutambula kutandise mu gino emirembe gyababbi naye bameka abaava mu Buganda okutalaaga amawanga aga Uganda mbu bagenda kukyaala ngo jeeko nti ne Buganda ngo vaayo nga yonna togitalaaze.

    #21776
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Abaganda abali mu America bewaana waana nyo. Abasinga abera nolungereza tanaluyiga kulutereza grammar nga alwanagana kwogera nga mu America mu accent. Ate abavubuka abakagendayo mu myaka gino egiyise ate bo bayitilira.

    #21805
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Nze kentambuddeko ndabye nga enneyisa za bantu munsi ezenjawulo bannange ziyinza okwawukanira ddala. Waliwo ensi ezimu nga okufuna akuyamba olina okulaga nti oli bubi nnyo. Nga bwogenda okusaba omulimu olina kugendera mu kyenkana buziina, era bwogenda oyambadde bulungi nga tebakuwa. Ate newabawo ensi endala nga okubeera nga olinakyoyagala olina okwefuula alina. Nga bwogenda okusaba omulimu olina kwambala masuuti, oba tolina wakiri weyazike. Abaganda abava mu nsi ezo zombi bewaana nnyo, naddala bwebatuuka eka. Abasooka balowoza nti balina okwewana essaawa yonna okubaako byebafuna, katugambe ekitiibwa. Abokubiri kati babeera batuuse okukungula byebakolereranga nga bessa wansi ekiyitiridde mu maaso ga beeru. Wabula bbo nebwakuwa gama emmongofu alowooza akuwadde nnyo. Era bwomwebaza alowooza eehee kiyitiridde. Nze nawulirako nomusajja omu wa myaaka 37 awo, yagenda e Buganda nasanga abakyaala abalima nebatuula wabbali wennimiro okumubuuza. Yakomawo nga atenda nti okujja ebweeru nga bwekiri ekikulu, kubanga abakyaala abakulu baka abasajja basemaka ababalibwa nga abekitiibwa bamufukamiridde!!!!

Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.