Abaganda mwerwaneko

  • This topic has 12 voices and 37 replies.
Viewing 8 posts - 31 through 38 (of 38 total)
  • Author
    Posts
  • #22458
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    abeating_350_236.jpg

    BANO BEMUKEERA OKUWUTTULA EMIGGO BE
    BABASASULA OMUSAALA NE MUNDU BE BAZIGULA NE TEAR GAS EBIBAWAGA NAYE KUZAABWE KWE MUMUGULA. BULI KINTU KIRIKO EKKOMO NGA TEMUNATANDIKA KUBAFUULA NTE ZAMMWE LWAAKI TEMUSOOKA KUKOLA KWEEKYO EKIVAAKO ABASUBUZI OKUVA MU MBEERA? NAYE OLWOKUBA SENTE ZEBABASASULA ZEMULIKO ZEMULYA KYEMUVA TEMUFAAYO, BWEMUBA MUTATAGANYIZZA EMIRIMU GYAABWE ATE NGA MMWE MWEZZA SSENTE EZIBASASULWA LWAAKI NAMMWE TEMUKOLA PART YAMMWE ?

    OKUSINGA OKUBAFUKIRA EBIMMONDE OBA EBINUSU EBIRIWO OKUNUUNA OBUNUUNYI OMUSAAYI EBITAFAAYO BO BALALA GYEBANAGGYA SSENTE. MWE BANYANJALA GAYIDDE ZEMWAGALIRA KU MUKEEKA.
    ABAGANDA BULI ABASAAKO ENGALO, BULI ABATULUGUNYA ,OBA ABAKUBA MU MWETEGEREZE MUMANYE NENGANDA ZE , WALIBAAWO ASASULA EFFUJJO LYAABWE.

    Amagye gakubye abasuubuzi

    [Aba Militale nga bagoba abantu mu luguudo Kafumbe lwe baabadde bazibye.]

    Aba Militale nga bagoba abantu mu luguudo Kafumbe lwe baabadde bazibye.

    ABASUUBUZI n’abakolera ku luguudo Kafumbe Mukasa mu Kampala beekalakaasizza ne baggala enguudo eziyita mu kitundu kyabwe nga bawakanya kkampuni ekola enguudo eyayiikula oluguudo luno n’erusimamu ekinnya.

    Beemulugunyizza ne ku kitongole ky’amazzi ekyapatana kkampuni enzimbi eya Dotts Services Ltd gye baagambye nti bukya eyiikuukla luguudo luno kati emyezi esatu bizinensi zaabwe zikoseddwa kubanga mmotoka tezikyayita olw’oluguudo olwaggalwa.

    Ssentebe w’abasuubuzi bano Hajj Magidu Ssentu-mbwe yategeezezza nti bam-aze kkampuni emno omuli-mu egukutte kasoobo ng’ate tebamanyi gye bate-ekwa kugenda okuyambibwa kye baavudde beekalakaasa.

    Baatandise ku ssaawa 3:00 ez’oku makya ne baggala oluguudo oluva ku Lubiri n’oluva e Katwe ne zigatta mu bitaala by’essaawa ya kwiini, olwo ne

    Bakung’anya emiti, amayinja n’ebipiira bya mmotoka, wabula baabadde bategeka okukuma omuliro poliisi y’amagye n’etuuka.
    Yabalagidde okuvaawo, era abeesisiggirizza amagye ne gabakuba emiggo egyabagumbuludde.

    Oluvannyuma omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Edward Ochom yabakkakkanyizza n’abategeeza nti ensonga zaabwe zaabadde zikolwako bayinginiya ba KCC ne kkampuni eyakwasibwa omulimu ogwo.

    Wabula omubaka Erias Lukwago (Kampala Central) bwe yatuuse n’ategeeza nti olulimi Gavumenti lw’ewulira lwa kukozesa maanyi.

    Kyokka omukungu wa Do-tts Services, Godfrey Ssentumbwe yasuubizza nti bagenda kuddamu omulimu guno.

    Kansala w’ekitundu Bossa Sserunkuma yagambye nti pulojekiti eno ekolebwa ekitongole ky’amazzi okugatta amayumba gonna agali mu kisenyi ku muddumu okutambuza kazambi.

    #22460
    KulabakoKulabako
    Participant

    KINO EKIFANANYI TEKYETAAGA NAKUNNYONNYOLA KATI EKKUBO BWEBALISIMAMU ENNYANJA KIKI KYEBABA BASUBIRA KANO BWEKATABA KAGENDERE KIKI EKIRALA OMUNTU OKUTANDIKA OKUKOLA BYOTOMALILIZE ATE NEBATAKWATIBWA NSONYI NEBAKAKKANA KUBAAANA BABA NAABWE NEBABAKUBA NGA BALI KUNTE ZAABWE .
    kATI NNO NAMMWE GYEBAGENDA OKUBALIGITA EGIFIKKAWO BAGENDA KUGIKUBA TTAKA

    news2_10.jpg

    Vendors riot over bad road
    Tuesday, 3rd March, 2009

    Demonstrators pass beside a deep trench filled with water in the middle of Kafumbe Mukasa Road

    Demonstrators pass beside a deep trench filled with water in the middle of Kafumbe Mukasa Road

    By Jeff Lule

    Rioting vendors at the Veterans market on Kafumbe Mukasa Road in Kampala brought business to a standstill yesterday when they protested the six-month delay to complete the road repair.

    The vendors blocked the road, creating a jam. The protest, which was peaceful in the morning, turned violent in the afternoon prompting the Police to intervene.

    A construction company, Dott Services, was contracted by Kampala City Council to open up the drainage. In the process of repairs, the company dug up a section of the road, rendering it only partially passable.

    The vendors, most of whom are army veterans, said the company had done nothing for the past three days and there was no sign the work, which kicked off in September, would be completed soon.

    The angry veterans carried placards reading ‘let the contract be given to another competent company’.

    Area councilor Hajji Bossa Sserunkuma said the vendors supported the project but were unhappy about the slow progress.

    This, they said, angered the vendors who responded with barricading the road. They also wanted to set ablaze the contractor’s bulldozers but the Military Police, backed by regular Police, stopped them.

    Market chairman Hajji Majid Mayanja defended the vendors, whom he said had nowhere to work since heaps of soil were sitting on the roadside where their stalls stand.

    “The issue is simple, let the contractors remove their heaps of soil from our road so that we can operate our businesses,” he said.

    The Regional Police Commander, Edward Ochom, said the vendors had a genuine grievance. “The contractors are putting these people’s lives at risk,” he said. “There are two deep and uncovered valleys full of water. It is really risky.”

    Dott Services administrator Godfrey Sentumbwe apologised for the delay and promised to complete the work within three weeks.

    “We ask for your forgiveness. We also promise to remove the soil for you to operate your businesses as we do our work,” Sentumbwe said.

    The resident district commissioner for Kampala Central, Alice Muwanguzi, urged the veterans to be calm and to allow the company to complete the work.

    “Thank you for being peaceful in your protest, which I think was necessary. But let us be patient and wait for the three weeks to elapse so that we find another solution to the matter,” said Muwanguzi.

    #23379
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Aguma kyooba omanya nti bano abantu bowolereza batwaaza bo kifuba ate tebatwaala katono basitukira mu mafamile 300 nokweyongera waggulu some thing has to be done, gwe ewammwe mukkiriza okukibakola oba olyaawo naawe okuba ndeka mwooyo ngokimanyi nti biba kuba wammwe singa obusaale bwavuddeyo dda kino kyekigenda okubaawo Mu Buganda wonna mwe mulinde .
    Bano bawulikikako nti baali ba luganda abako nabemikwaano ba M7 abeddiza ettaka lwe dwaliro lye butabika wano omuntu wababuliza nti ekizimba mulowooza kinamala bbanga ki nga tekinayabika? oyinza okuba nemundu naye bwojooga nokola buli kyambyoone kyonna kikuddira

    Bakoonye enju z’abagagga

    asoldier.jpg

    Written by MARTIN NDIJJO
    Sunday, 10 May 2009 17:37

    Ennyumba ya Mubiru eyakooneddwa.

    ENKAAYANA ku ttaka ly’e Butabika wakati w’abagagga n’abebibanja zisajjuse! Poliisi yayitiddwa bukubirire okugu-mbulula abatuuze abaabadde bookya n’okukoonakoona ennyumba z’abaggagga nga babalanga okubatulugunya n’okubagobaganya.

    Eno y’entikko y’enkaayana zino ezimaze ebbanga wakati w’abatuuze abasoba mu 1,000 n’abagagga abagabimbwa okugula n’abalala okuweebwa ettundutundu ku ttaka eryali ery’eddwaaliro y’e Butabika n’eddala erisangibwa mu Zooni 4 e Mutungo.

    Mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ekibinja, ky’abatuuze kyakoonye ennyumba y’omugagga eyategeerekeseeko erya Mubiru ne bagikoona olwavudde awo ne balumba ne y’omuggagga Brian Kabayiza gye baateekedde omuliro.

    Poliisi y’e Butabika eyaatuuse mu kifo kino mu bwangu ye yazikizza ne gutasaanyaawo nnyumba yonna ne bagumbulula n’abantu abaabadde bataamye.

    Abaserikale baayiiridde mu kifo kino okwongera okuzza embeera mu nteeko nga bakulirwa aduumira poliisi ya Jinja Road, Joel Aguma. Baakoze ekikwekweto ne bakwata abantu bana okuli ne ssentebe w’ekitundu, Faizal Kibirige bagiyambe mu kunoonyereza abaakoze effujjo lino.

    Bbo abantu babiri ababadde bakuuma ennyumba zino baakubiddwa abatuuze ne babba n’ebizimbisibwa bye baasanze mu bifo byombi.

    Aguma yalabudde abatuuze ku ky’okutwalira amateeka mu ngalo n’abasaba okubeera abakkakkamu balindirire aboobuyinza gye baatwala okwemulugunya kwabwe okugonjoola ensonga zino.

    #23389
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Mwe ababuziika okumpi mwe mubululumya lwaaki muba mubesembereza anti kati bino byebivaamu , bano abalaalo baava wa okugenda mu lukoola bano bonna bali illegal immigrants

    Basengudde Abalaalo ku ttaka
    bitwire102_cmyk.jpg

    Written by hannington nkalubo
    Monday, 11 May 2009 18:55
    [Bitwire (ku ddyo n’omuggo) ng’alambula ettaka kwe yagobye abalaalo.]

    Bitwire (ku ddyo n’omuggo) ng’alambula ettaka kwe yagobye abalaalo.

    ABATUUZE baakutte emiggo ne balumba Abalaalo abaasenze mu kitundu ne babakuba n’obusiisira bwabwe ne babwokya.
    Olutalo lwakkakkanye oluvannyuma lwa Maj. Gen. Kale Kayihura okutwalayo abaserikale.

    Bino byabadde ku kyalo Nfuka mu ggombolola y’e Kitumbi okumpi ne Kasanda mu Mubende.

    Omuduumizi wa poliisi atwala Buganda, Alfred Bitwire yakubye olukung’aana mu kitundu kino ku Ssande.

    Mu lukung’aana luno, akulira Abalaalo, Godfrey Kabagambe yategeezezza nti baasenga mu kitundu mu 1990, nga bava mu lukoola lw’e Kiboga.

    “Twasanga ensiko ne tutandika okuliisizaawo ente zaffe. Mu 2007, twagenda ku Disitulikiti ne tusanga ng’ettaka teririiko nnyini lyo wabula nga lya Gavumenti, era ne tulisaba. Twafuna ekyapa mu 2008,” Kabagambe bwe yagambye.
    [Kabagambe.]

    Kabagambe.

    Ettaka eririko embiramnye lya Charles Lwanga Masengere nga liweza obunene bwa yiika 1,600, era yalisikira okuva ku kitaawe omugenzi Lwanga Lubega.

    Wabula ebyayogeddwa Kabagambe abatuuze baabiwakanyizza ne balumiriza nti Kabagambe ne banne baasenga mu kitundu kino mu 2007 nga bakkiriziddwa eyali maneja w’omugenzi Masengere, ayitibwa Joseph Kasozi, era baali bakkaanyizza balundire mu kifo kino okumala omwaka gumu n’ekitundu ng’abakozesezza n’endagaano.

    Masengere agamba nti endagaano maneja we Kasozi gye yakola n’Abalaalo olwaggwaako ne beewang’amya ne baleeta n’ebyapa ebijingirire nga bagezaako okunyaga ettaka lye.

    “Nnakizuula omwaka oguwedde nti baali bajingiridde ekyapa kya yiika 500 ne batandika n’okweyita bannanyini ttaka lyange,” Masengere bw’agattako.

    Awaavudde embeteza ye Kabagambe okuleeta abaserrikale ne bakwata abatuuze ku kyalo ng’agamba nti balemedde ku ttaka lye, era wano abatuuze we beekoleddemu eggye ne balumba Abalaalo ne bookya obuyumba bwabwe n’okukubagana emiggo.

    Enjuyi zombi zeekozeemu ebibinja by’abalwanyi, era baabadde beewera okulwana olutalo kafungulankete, wabula omuduumizi wa poliisi atwala Buganda, Alfred Bitwire ne bamuloopera mangu n’agenda kipayoppayo okuyingira mu nsonga.

    Yasanze enjuyi zombi zeetegekera lutalo n’abayita mu lukung’ana mwe yaweeredde ebiragiro okukkakkanya embeera.
    Bino by’ebiragiro poliisi bye yawadde:

    -Tewali mujaasi wa UPDF akkirizibwa kutwala mmundu ku ttaka lino.

    – Tewali muserikale wa poliisi akkirizibwa okuddamu okukwata omutuuze yenna .

    – Abalaalo bonna baagaaniddwa okulundira mu nnimiro z’abatuuze wadde okulinnya ekigere mu bibanja byabwe .

    Abalaalo balundire ku ttaka eryesudde ebibanja by’abantu okusobola okwewala okulwana.

    Bino byasanyusizza bannannyini bibanja ne bakubira Bitwire emizira ne nnannyini ttaka Masengere nti bakkakkanyizza olutalo olwabadde lubindabinda.

    Wabula Bitwire yagambye nti kkooti y’egenda okusalawo ekisembayo ku nsonga y’obwannanyini ku ttaka eryo.

    #23532
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Banywedde amazzi agalimu ‘obutwa’ | Print | E-mail
    Written by BEN SSENTONGO
    Wednesday, 20 May 2009 19:27
    [Oluzzi olugambibwa okuyiibwamu obutwa.]

    Oluzzi olugambibwa okuyiibwamu obutwa.

    ABATUUZE abasoba mu 100 bapooca wamu n’oku-yubuka ensusu oluvannyuma lw’okunaaba n’okunywa amazzi ge baasenye mu luzzi olugambibwa okuyiibwaamu obutwa.

    Bino biri ku byalo bibiri okuli; Kawungeezi ne Makukuulu mu ggombolola y’e Maddu e Gomba mu Mpigi nga kiddiridde abantu okusena amazzi ku luzzi oluyitibwa Kirokitwala omunaku oluli mu faamu y’omugagga eri ku ttaka eririko enkaayana.

    Abatuuze basoose kulowooza nti waliwo obulwadde obubazinze nga basesema, baddukana omusaayi n’abalala okuyubuka omubiri.

    Ssentebe w’ekyalo Makukuulu, Zefaniya Nagaba Mafuta era nga y’omu ku baakoseddwa yategeezezza nti baamaze kulaba mazzi ku luzzi lwe baabadde bakimyeko nga gafuuse kiragala ne batandika okuteebereza nti gandiba nga gayiiriddwamu obutwa nga bwe bubalwaza.

    Yakwataganye ne ssentebe w’ekyalo Kawungeezi ekiriranyeewo, David Mugwe ne batandika okutegeeza abantu okugenda mu ddwaaliro e Maddu bafune obujjanjabi kubanga wandibwaawo omuntu ow’ettima eyayiye obutwa mu luzzi.

    Abatuuze beeyiye ku ddwaaliro kyokka ng’abamu baabadde tebakyalina maanyi.

    Bino byonna we bijjidde nga waliwo enkaayana wakati w’omugagga Joseph Gahiiji n’eyaliko Town Clerk wa Kampala, Wiliam Tumwine nga Tumwine agamba nti ettaka okuli faamu ya Gahiiji lirye.

    Wabula Gahiiji yantegeezezza nti ensonga z’enkaayana ku ttaka lino ziri mu kkooti ya byabusuubuzi era omusango guno gunaatera okusalwa. Gahiiji alinako ente nga 200.

    Abamu ku baakoseddwa amazzi gano baasangiddwa mu maka gaabwe nga bagamba nti tebalina ssente zaakusasula mu bulwaliro kubanga eddwaaliro lya Gavumenti e Maddu temuli ddagala ate obulwaliro omu-li eddagala liri ku buseere.

    Nyansiyo Yiga Kamulali 68 n’ab’omu makaage 12 bonna baakoseddwa amazzi gano kyokka ng’omwana ow’emyezi esatu Martin Mawanda y’asinga okubeera obubi. Bajjanjabiddwaako e Maddu kyokka ne babawa ebbaluwa ebongerayo mu ddwaaliro e Gombe kyokka bakyanoonya ssente.

    Abalala abalwadde kuliko Henry Lubuuka, Annet Nalubega, Peter Muwonge, Matthias Kyagya, Sharon Namuyiga, Fulugencio Yiga, Wilson Nyanzi, Mulindwa ne Vincent Mawaya nga bano bonna banju ya Nyansiyo ku kyalo Kawungeezi.
    Ate abalwadde abalala nga bano basangiddwa nga beezingidde ku kifugi ky’enju yaabwe ye namukadde Tereeza Nanyanzi 65, bawalabe n’abazzukulu.

    Omuduumizi wa poliisi mu Mpigi, Ivan Nuwamanya yagambye amazzi baagatutte mu bakugu okukakasa oba ddala butwa. nga bwe banoonyereza n’eyabuyiyeeko.

    Bano bagajiri lwaaki tebagenda nebatta abewaabwe gyebava kuba era bakimanye nti kuttaka lya buganda amateeka agafuga obuganda gajja kuddayo nga luli, ewaabwe wa bagajiri eliyo abaganda bameka abalinayo amataka mbadde bebasooka okutta , kati batuttira byaalo biramba ago amazzi getaaga nokuwa enteeze netulaba ate naye nebwqebakikayanira bombi nebaganya , kale abasajja bano batemu, Buno bwonna bukodyo bwa M7

    #23534
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Kino Ndibassa kye kifananyi kyoyogerako abo bennyini abakayanira ettaka egganda bebaba bakwaata nente zaabwe babasse mu mazzi anti kati gafuuse gaabwe bokka nente zaabwe.
    Waliwo wewebuuza nti ddala omuntu talowooza oyinza okukola buli kya butemu kyonna nodda ewammwe newebaka ngosse ebyaalo nebyaalo ngokayanira ettaka elitali nagwanga lyo naye eyo Mukama gya kusanga nakugamba nti kyokoze nkirabye kati linda empeera yo , kale tulina abantu abatemu awater.jpg

    #23544
    BusagwaBusagwa
    Participant

    Obuganda ssenga tebwakolamu jje lyakulwanyisa bikolwa bya kigwe
    nyuufu nga bino, bujja kusanaawo!!kubanga bano ba Kabagambe bali
    na Protection okuva mu State House nolweekyo abo bonna abatulugu
    nyizibwa balina okweyamba bokka..ne Poliisi yenyini ekulirwa mu
    Nyamulenge Munnaabwe!!Atakulekera tomulekera..Ekiseera kyeekyo!!

    #23586
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ate wewuunye kino ekiseera omuntu wasaana okukumakuma abantu be kuba ebintu byononese sosi kwongera kubalaga butemu bwakika ekyo wali olabye omuntu akola ekintu nga sabaekintu kimu kumubonereza , Naye oluusi oyinza okulowooza nti mpozzi ffe ekintu abakiri ewala ffe tusinga okukiraba nga kizito nga bo abantu abakirimu bagamba nti sikyamaanyi tebereza bebaziika enkya neggulo naye ate bosanga ku mwanjo nga bantu ababattira abantu baabwe bazze okubalimbalimba.
    Ekiro nebaleeta omuliro, lwaaki buli wakalimu ke abeera ku bunkeenke oba enkeera anakasangawo .Mukama bwanabavaamu mujja kwevuma ababaleeta kunsi kuba kino kiyitiridde muyinza okussa abantu enjala kati ate mubateera obutwa mu mazzi naye tomanya bintu bwebyetoloora kubaddira mu full force.

Viewing 8 posts - 31 through 38 (of 38 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.