ABAGULA ennyama n’enkoko enjokye

  • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17098
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abagula emicomo ku makubo mulya bye mutamanyi

    ABAGULA ennyama n’enkoko enjokye ku makubo oluusi mulya byemutamanyi.

    Jjuuzi baakutte abasajja babiri ku Kalerwe nga basse embwa era nga kiteeberezebwa nti baabadde bagenda kugitunda nga omucomo.

    Ate n’abayokya enkoko ku makubo abamu batta mbaata, ebinyonyi n’ebirala oluusi n’enkoko endwadde n’ezifudde.

    Ennaku zino abantu abamu tebakyalina mazima era tulina okwegendereza ennyo.

    Okutunda emicomo gino ku makubo kwandiwereddwa. Oba basseewo ebifo eby’enkalakkalira ebitunda ennyama enjokye ng’ate okukkirizibwa okukola bisooka kwekebejjebwa bulungi.

    Fred Kayondo,
    Nateete.

    Published on: Wednesday, 6th August, 2008

    #19308
    KulabakoKulabako
    Participant

    Ngojeeko ebyenfuna ebyenyooza buli omu ebikya , ndowooza kyandibadde abeeka bagamba nti Mukama yabitukuza nolweekyo buli kyokwaasaako engalo sala oyokye ogabule , bongerako nakano nti bwetebatte ,ekitono kyejja okubakola kubalwaaza.Ebisigadde munaffe agirejjesa aba tayagala kumanya ye kasita bamukwaasa ekikye nga yeyongerayo.
    Bino byetuyita ebikweeno kuba ddala nokeera kumakya nogamba nti olwareelo nsaze magezi ki agokweyimirizaawo nosoberera maguja no gikinjaga nogyooka omukalo ,noguliisa banno, nebakwebaza ngeeno bwebakusasula , ensi egudde eddalu lyennyini ekankada.

    #19329
    MulongoMulongo
    Participant

    Omululu engeri gyeguli mu nobubbi nabuli bbala lya bubi bwonna, tewakyali ngeri gyoyinza kumanya mu kyonna, kyoolya, kyoonywa, omukka gwossa, abakuliranye nebirala. Ensonga eri nti ekifo kino temuli mukwano, temuli Katonda, temuli kwesigangana, temuli buntu, temuli bulamu. Kyetaaga buli omu kati kugenda kwekuma waabwe nebibye, anoonye Katonda we, omukwano gwe, eddembe lye, nobulamu bwe. Tewakyali ngeri ndala yonna.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.