Abakubirizza okugula satifikeeti

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Okulanga / Announcements Abakubirizza okugula satifikeeti

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #16648
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Abakubirizza okugula satifikeeti

    Bya Lilian Nalubega

    AVUNAANYIZIBWA ku kutunda n’okubunyisa satifikeeti za Buganda e Mmengo, Muky. Joy Mukalazi asabye Abaganda okwenyigira mu kutunda satifikeeti kisoboze-se eggwanika okufuna ensimbi ezimala okuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka.

    Mu kiseera kye kimu Katikkiro Ying. J. B. Walusimbi awadde olwa September 12, okutongolezaako ebbaluwa entongole eziweebwa abasika mu kwabya ennyimbe n’okusiimirako abaguzi n’abatunzi ba satifikeeti za Buganda abasukkulumye ku bannaabwe.

    Mukalazi eyasangiddwa mu ofiisi ye ku Bulange yagambye nti ebika, amasaza n’abantu ab’enjawulo abasukkulumye ku bannaabwe mu kutunda n’okugula satifikeeti baakuweebwa ebirabo omuli amagaali, engabo, satifikeeti n’ebirala okubazzaamu amaanyi.
    Bukedde
    Published on: Thursday, 28th August, 2008

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.