Home › Forums › Meeting Greeting & News Reports › Agafa e Mengo / News from Mengo › Abakungu b’e Mmengo bagenze mu Amerika
- This topic has 2 voices and 1 reply.
-
AuthorPosts
-
September 3, 2009 at 7:02 am #17067
Machati
ParticipantAbakungu b’e Mmengo bagenze mu Amerika
Bya Lilian Nalubega
Bukedde Wednesday, 02 September 2009
ABAKUNGU munaana okuva mu kitongole ky’ebyobulambuzi e Mmengo bagenze mu Amerika okwetaba mu lukung’aana lwa Bannayuganda ababeerayo oluvannyuma beetabe mu mwoleso gw’eby’obuwangwa bw’Abaganda ogw’okumala wiiki bbiri mu kibuga Boston.Minisita w’eby’obulambuzi e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi bwe yabadde ayogera eri Bannamawulire nga basimbula okuva ku Bulange ku Ssande yagambye nti bakulembeddwaamu Minisita w’olukiiko n’amawulire e Mmengo, Peter Mayiga.
Baakutongoza n’obukiiko munaana obugenda okulondoola emirimu gy’eby’obulambuzi bw’Abaganda mu Bungereza nga bukulemberwamu mutabani w’eyali Katikkiro wa Buganda, Denis Paul Kavuma.“Mu lugendo luno tugenderera okwongera okunnyikiza ebyafaayo bya Baganda ennono, obulombolombo n’obuwangwa mu baana ba Buganda abazaaliddwa mu mawanga gano abatafunye mukisa kumanya bikwata ku bika byabwe n’eggwanga lyabwe,” Nakiwala bwe yagambye.
Awangaale Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II
September 3, 2009 at 8:51 am #24998Kulabako
ParticipantAwo Mengo mweekyo okoze bulungi ddala nabaana okumanya nti baliko ababagala gyebava abafaayo okulaba nti nabo bayiga ensibuko yaabwe , kuba ddala emiti emito gyegiggumiza ekibira ngojeeko nti ebweeru baliko obuwerero obutalaba nsi yaabwe bwebajonoonye naye bo abakomawo eka okuwummula, kintu kimu kye basokerako nti its a village , or big-o slum, or a jungle era singa sikuba nti bwebagenda okukyaal bababetoloddwa enganda nyingi ngaate bawulira lulimi lwaabwe lwokka , kyandibadde kizibu okubasikiriza okujja.
Naye olwokuba bakadde baabwe babanyumiza Buganda eri eyeyagaza, elimu abaami nabakyaala abenyumiriza munsi yaabwe , obwa Kabaka nobuwangwa bwaabwe eteriimu kuttingana, nabusosoze awo abaana basigala bakyayagala ensi yaabwe naddala bwetukibaggumiza nti bagwiira bebonoonye ensi yaffe , olwobutemu, neffutwa wamu nobukyaayi bwebatulinako, nebagimamira yonna ensi yaffe amakula.
WANGAALA NNYO MAGULUNNYONDO SSENKOMA NANTAWETWA -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.