ABANGEREZA BALAGIDDE OMUKULEMBEZE WA FORUM FOR DEM

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Omuko Ogusooka / Frontpage News ABANGEREZA BALAGIDDE OMUKULEMBEZE WA FORUM FOR DEM

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18532
    Mirembemirembe
    Participant
    Quote:
    Ettu ly’Abangereza eri Besigye
    MUSASI WAFFE

    BUNGEREZA

    Abangereza balagidde omukulembeze wa Forum for Democratic Change, Col. Kiiza Besigye ateekewo obukodyo obunaasobozesa okuwangula Pulezidenti Yoweri Museveni mu kulonda kwa 2011.

    Abangereza abali mu kibiina kya Conservative Party bino bye bimu ku biri mu ttu eryaweereddwa eyali Katikkiro, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere okuleetera Col. Dr. Kiiza Besigye.

    Ekibiina kya CP, kiragidde Besigye yeegatte ne banne abali ku ludda oluvuganya gavumenti basobole okuwangula Museveni.

    “Mwegatte musobole okusiguukulula Museveni eyeeremezza mu buyinza okumala emyaka 25.” Andrew Boff, omukungu wa Conservative Party bwe yagambye.

    Obubaka buno Boff yabwanjulidde mu lukuŋŋaana lw’ensi yonna olwatuuziddwa ku ssomero lya Ursuille High School erisangibwa e Ilford- Essex mu Bungereza.

    Boff agamba nti ekibiina kye tekironzalonza kuyingira mu nsonga z’ensi yonna gye kiraba nti abakulembeze baayo banyigiriza bannansi.

    “Bwe tulaba ekibiina kyonna ekirina ebigendererwa ebifaanagana n’ebyaffe, kitukakatako okuwagira abakulembeze baakyo okusobola okutuukiriza ebigendererwa ebyo,” Boff bwe yategeezezza.

    Yagasseeko nti “Ffe kye twettanira ky’ekyokulaba nti abakulembeze bateeka mu nkola ebyo amateeka bye galagira, ate ne bannansi bye babasuubiramu. Tuwulira bubi omukulembeze yenna bw’agamba nti alumirwa bannansi naye bw’atuuka mu ntebe buli kimu n’akyerabira, olwo abo b’akulembera ne badda mu kukaaba.”

    “Ekizibu ekisinga obunene mu Uganda kya bakulembeze kweremeza mu buyinza.
    Pulezidenti Museveni yajja mu buyinza ng’ebula emyaka ena eyali Ssaabaminisita wa Bungereza Margaret Thatcher atwale obuyinza, n’amulekawo, John Major naye bw’atyo, ne kuddako Tonny Blair naye n’agenda, Gordon Brown n’ajja naye n’agenda kati David Cameron y’aliko ate nga naye ajja kumulekawo.

    Lwaki?” Boff.
    Boff agattako nti abakulembeze bano bonna bazze basakirira embalirira ya Uganda naye tewaliiwo nnyo kya njawulo mu by’enfuna.

    Boff agamba nti Africa yandibadde ssemazinga asinga obugagga mu nsi yonna, naye nti kiswaza okulaba nti abakulembeze mu mawanga ag’enjawulo bakotoggedde enkulaakulana yaayo, olwokulowooleza mu kwekkusa bokka.

    Yasabye bannayuganda okukuba ttooki mu ebyo bye baasuubira mu Pulezidenti Museveni nga yaakajja mu buyinza balabe oba bikyali byebyo.

    “Mmwe nga bannayuganda musaanye mwebuuze nti Uganda gye mwasuubira y’eyo gye mulaba kati. Ffenna tulowooza nti buli munnayuganda okuba omugagga era nga yeesobola mu buli mbeera, kisingako obugagga bw’omuntu omu alina obutitimbe bw’ensimbi ku akawunti ye ate nga zonna tazifunye na mu makubo matuufu. Bwe muba nga nammwe bwemutyo bwe mulowooza, gavumenti yaffe ejja kubawagira. Mmwe muteekeddwa okuba abasaale mu kulaba nti bannayuganda bagenda mu kulonda okwamazima n’obwenkanya kubanga mmwe ddoboozi lyabwe,” Boff bwe yategeezezza ab’oludda oluvuganya abeetabye mu lukuŋŋaana luno.

    Boff yasabye bannayuganda abali mu Bungereza ne Bulaaya yonna okutwalira awamu, nga bayita ku masimu, bakalaatire ab’eŋŋanda zaabwe abali e Uganda okwegatta okulaba nga bakunkumula Yoweri Kaguta Museveni omukono mu kibya.

    “Ffe nga Bungereza, twagala tulabe Uganda eyakaayakana mu Africa yonna, nga kino kijja kuva mu kwegatta kwa bannayuganda mu kiseera ky’akalulu.

    Ssemwogerere, omu ku baakola ennyo mu lutalo olwaleeta gavumenti ya Pulezidenti Museveni mu buyinza yannyonnyodde era n’alaga obwennyamivu olwengeri Ssaabasajja gye yakugirwamu okugenda mu ssaza lye erye Bugerere, wamu n’okwetaayiza mu nsi ye nga bw’ateekeddwa.

    Bo ab’omukago gwa IPC baasazeewo okutemaatema mu Buganda ebitundu by’okunoonyezaamu obululu.

    Bino byabaddewo mu lukiiko olwatudde ku Bativa Hotel e Wandegeya.
    Ensonda zitegeezezza nti kino kyakoleddwa okulaba nga bateeka mu nkola ebirowoozo okuva mu bawagizi ba Conservative Party.

    “Twagala okulaba nga bannaffe ettu lye batuwadde n’ebirowoozo byabwe tubiteeka mu nkola. Kaweefube waffe gwe tuliko kati yenna wa kulaba nga Mw. Museveni awangulwa mu kalulu ka 2011.” Ensonda bwe zaagambye.

    Olukiiko lwakubiriziddwa Owek. Mulwanyammuli Ssemwogerere era nga lwetabiddwako aba Ssuubi abalina obuvunaanyizibwa okunoonya akalulu mu Buganda.
    Ensonda zaagasseeko nti bataddewo akakiiko akaliko; Imam Kasozi, J.B. Kakooza, Dr. Kizito, Kalundi Sserumaga ne Midilikati Mukasa, akagenda okwongera okukwanaganya abantu abeesimbyewo ku bubaka bwa palamenti kyokka nga basukka mu omu ku kifo kye kimu nga bali ku ludda oluvuganya gavumenti mu Buganda.

    Ensonda zongedde okutegeeza nti aba IPC baasazeewo bakyuseemu ebirango ebiri ku leediyo ne mu mawulire nga kati essira bagenda kusinga kulissa ku bintu ebiruma omuntu wa bulijjo ng’emiwendo gy’ebintu egyekanamye ng’amafuta g’ettaala n’emmotoka, omuwendo gwa ssabbuuni, ssukaali n’emmere.
    Ebirala bikuŋŋaanyiziddwa ALEX NSUBUGA NE
    SSERUGGA SSENSAMBA

    Ntenvu 10, 201 EDDOBOOZI

    #27333
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Bino babikola kutiisa, kubanga batidde. Kale mwewagale nga naffe twewagala. Tunalaba Katonda gwasiga okwagala, ku mubbi ne nyinimu.

    Army recruits thrill at Singo pass out drills

    [attachment=2441]news003pix.jpg[/attachment]

    COMBAT BRIDGE: New UPDF recruits demonstrate how to cross on ropes at Singo Training camp during their pass out on Tuesday. PHOTO BY STEPHEN WANDERA

    By Risdel Kasasira
    Thursday, December 23 2010

    The Commander-in-Chief of the armed forces, Gen. Museveni, on Tuesday passed out a total 5,500 soldiers at Singo Training School.

    The new recruits include 1,800 soldiers trained in special urban combant to enhance their ability to engage in urban warfare, starting with Somalia where they are headed in January. The peacekeepers also trained in anti-terrorism tactics for 90 days, while 3,700 recruits completed nine months of basic military training.

    Gen. Museveni thanked the British forces who helped the UPDF to build 28 houses as a training camp for simulation in urban combat.
    Explaining the need for training in urban combat, Land Forces commander, Lt. Gen. Katumba Wamala, said UPDF’s war drills for the last 20 years has focused on terrain, bushes and forests, not urban.

    “In Somalia, we fight in urban places and this kind of training gives us the edge,” he said. He said the first batch of the peacekeepers, under Uganda Battle Group Seven (Ugabag7) will leave for Somalia in the first week of January to replace Ugabag Six, which is coming home early next year.
    The recruits exhibited some of the tactics in martial arts, obstacle crossing and marksmanship that they have been trained in.

    Army chief Aronda Nyakairima said the opposition had wrongly accused the UPDF of recruiting militias. “Are these militias, like some have said?” he asked.
    The Inter-Party Cooperation a fortnight ago alleged that the UPDF were training militias in Singo and Kaweweta

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.