ABANYANKOLE BAGAANYI KATIKKIRO OKUGENDA E MBARARA

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Baliranwa / Neighbours ABANYANKOLE BAGAANYI KATIKKIRO OKUGENDA E MBARARA

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Alex Kigongo Alex Kigongo 5 years, 6 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17850
    Alex Kigongo
    Alex Kigongo
    Keymaster

    http://www.bukedde.co.ug/news/76463-mzee-zedde-munyiivu-lwa-bantu-kuyingiza-byabufuzi-mu-kukyala-kwa-katikkiro-mu-ankole.html

    TOLABA ensi okufa empeke, naye kyali tekiwulirwangako Omunyankole okugobaganya Omuganda nti ‘Toddanga ewaffe’.

    Weewaawo Abanyoro baali bawalagganyeeko n’Abaganda naye Abanyankole n’Abaganda babadde bamukwano.

    Awo nno, kye kivudde kyanaamiriza n’amatu Abaganda n’abemikwano abali mu Ankole bwe bayise Katikkiro Mayigaagende abakyalireko mu Ankole bamukwase n’etoffaali ly’okuzimba Amasiro g’e Kasubi ate ne wabaawo Abanyankole abafuguma n’okuwera enkolokooto obugenyi obwo okubulinnyamu eggere.

    Sso nno nga n’ekya Buganda okubeera abangi batyo mu Ankole kyava ku mukwano n’enkolagana eyaliwo wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’Obugabe bwa Ankole.

    Mbagute eyali Katikkiro wa Ankole ng’asinziira mu nkolagana eyo ennungi yeeyasaba Kabaka wa Buganda abaweereze Abaganda batendeke Ankole mu nfuga ya Federo ey’emiruka, amagombolola, n’amasaza eyayatuukiriza ennyo Obwakabaka bwa Buganda.

    Okuva olwo Abaganda baasigalira ddala mu Ankole era eyo gye bazaalidde abaana na ba Mutaasa Kafeero kati abakoze entegeka ez’okukwasiza ku Katikkiro wa Buganda ayongere okunyweeza omukwano n’enkolagana ya Ankole ne Buganda.

    Ensi yafa empeke ne kituuka nti buli kintu kiyingizibwamu ebyobufuzi kifuuke eky’ennyombo n’okusika omugwa.

    Kale lwaki ab’ettima bayingizza ebyobufuzi mu nkolagana y’Abanyankole n’Abaganda eri ku by’ennono n’ebyobuwangwa olwo nayo efaafaagane nabo badde mu kuwalaggana?

    Ye Mzee Zedde, nga alabye ennaku! Kale Katikkiro Mayiga omusimbira otya ekkuuli omwonoonere obugenyi bw’e Mbarara sso nga n’Abalangira n’Abambejja Kabaka be yazaala mu Ankole mu nkolagana ey’omukwano bali awo batunula?

    Nedda bagundi mulimba okukyala kwa Mayiga mukuggya mu ebyobufuzi byammwe eby’okuneneng’ana n’okusiigang’ana ebitoomi. Leka abava mu Ankole nabo beetabe mu bujjuvu mu kuwaayo ettoffaali ery’okuzimba n’okuzzaawo ekkula ly’Amasiro g’e Kasubi liweese Buganda yonna ettuttumu.

    Ekyo kibi ki? Ye “ttabu gaani’, Katikkiro Mayiga okwanirizibwa e Mbarara? Vva ku bigambo!

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.