Abatali Bagisu babasaze embalu ku mpaka e Mbale

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Baliranwa / Neighbours Abatali Bagisu babasaze embalu ku mpaka e Mbale

  • This topic has 1 voice and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18987
    MachatiMachati
    Participant

    Abatali Bagisu babasaze embalu ku mpaka e Mbale
    Jun 21, 2012
    Mbale
    Bya PAUL WATALA
    [attachment=2564]embalu 1.jpg[/attachment]

    Omusajja atali Mugisu nga bamusala embalu. Ekif: Paul Watala

    ABAVUBUKA Abagisu bakoze effujjo bwe batandise okuteega abantu nga babasala embalu ne batuuka n’okutwaliramu abatali Bagisu omuli n’owebyokwerinda ku lukiiko lwa LC I e Mbale gwe baafumbiikirizza ekiro ne bamusala ate nga Mudaama.

    Kino kiwalirizza poliisi okukuba omukka ogubalagala mu kibinja ky’abavubuka ababadde bakunukkiriza mu 2000 ne babuna emiwabo.

    Poliisi okusindika abaserikale baayo kiddiridde abavubuka 5 abavuga bodaboda e Mbale okusalibwa embalu ku mpaka kyokka nga si Bagisu era ensonga zaabwe ne bazitwala ku poliisi y’e Mbale nga bakulemberwa Silver Odoi ow’eggwanga ly’Abadaama eyagambye nti mugandawe Ochom y’omu ku baasaliddwa embalu ku mpaka era n’ayisibwa bubi nnyo.

    Abamu ku be baasaze embalu mu buwaze kuliko Abanyole, Abateeso, Abagwere n’Abadaama era muno baatwaliddemu n’ow’ebyokwerinda ku lukiiko lwa LC I mu Zooni ya Mbale Main Garage amanyiddwa ennyo nga Kisangala nga Mudaama era ono baamufumbiikirizza kiro ng’ateekateeka kwebaka.

    Abavubuka bano abaabadde bakuba akadodi baasoose kukozesa ddembe nga balondobamu Abamasaaba (Abagisu) abaludde nga beepena embalu, kyokka oluvannyuma baatabuse ne batandika okutwaliramu n’abatali Bagisu nga bagamba nti omwaka gw’embalu bwe gutuuka, Abamasaaba abamu abatya ‘akaso’ balina omuze ogw’okwerimbika mu mawanga amalala naddala ery’Abadaama, Abateeso, Abanyole, n’ery’Abagwere baleme kusalibwa mbalu.
    [attachment=2565]embalu 2.jpg[/attachment]

    Gwe baasaze embalu ku mpaka nga takyategeera olw’obulumi.Ekif: Paul Watala

    Kyokka omuduumizi wa poliisi mu Disitulikiti y’e Mbale, Michael Angucia yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu batali Bagisu abaasaliddwa embalu baabadde balina okugumbulula ekibinja ky’abavubuka kubanga kyabadde kiyinza okuvaako entalo z’Amawanga mu Mbale anti abamu ku batali Bagisu baabadde batandise okuggalawo amaduuka gaabwe ne beekweka nga batya okusalibwa embalu ey’obuwaze.

    Poliisi yakubye omukka ogubalagala eggulo wamu n’okutulisa amasasi mu bbanga, olwo abavubuka omwabadde n’abakuba akadodi ne babuna emiwabo.

    Okuva omwaka guno lwe gwatandika, abantu 220 be baakasalibwa embalu e Mbale wabula Dr. Jaffer Balyejjusa akola ku by’okulongoosa abantu mu ddwaaliro lya Gavumenti e Mbale yavumiridde ekikolwa ky’okusala abantu embalu nga tebeesiimidde ate nga si Bagisu, so nga n’olumu akambe akaba kakozeseddwa ku muntu omu ate ke bakozesa ne ku mulala ekiteeka obulamu bw’abasaliddwa embalu mu katyabaga.

    Ssentebe w’ekibiina ekigatta Abagisu ekya Bamasaba Cultural Board Augustine Wandende naye yavumiridde eky’okusala embalu abantu abatali Bagisu nga tebeesiimidde n’ategeeza nti kino kibeera kityoboola eddembe lyabwe n’awa abavubuka

    Abagisu amagezi okussa essira ku kuyigga Bagisu bannaabwe abeebalama embalu mu kifo ky’okulumbagana ab’amawanga amalala.

    #27962
    MachatiMachati
    Participant

    Ekisaana kati buli bantu ebyobuwangwa byaabwe babikuumire mu bitundu byaabwe. Kino kituwadde amagezi agagaana abantu bano okukola ebintu byaabwe mu Buganda. Bajja kukwaata ne ba kitaffe nabaana baffe babasale embalu ku mpaka!

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.