Abavubuka Kyembasaba Temugwaamu Maanyi

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo Abavubuka Kyembasaba Temugwaamu Maanyi

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17462
    KulabakoKulabako
    Participant

    Okwogera kwa Kabaka ku lunaku lw’abavubuka e Buddu

    Nsanyuse nnyo nate okubeera ku mikolo gino nga tukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda.

    Twebaza abo abakoze enteekateeka n’okutulambuza. Njagala era okwebaza abo bonna abatulaze essanyu eringi mu kulambula kuno, mwebale nnyo.

    Abavubuka mulina okusoomoozebwa kungi ddala okusingira ddala ku nsonga y’emirimu naye kye mbasaba temuggwaamu maanyi. Ky’ekiseera ekyokuteekawo enkulaakulana mu Buganda ng’okusinga tuyita mu bavubuka nga mmwe.

    Mpulidde enteekateeka ezimu bweziba ziteekeddwa mu nkola n’enteekateeka endala B, Uganda ejja kuba ekulaakulana. Tumaze ekiseera nga tusaba embuga z’amasaza n’amagombolola n’abeemiruka webatuula kubanga byandiyambye ebitongole ebyenyigidde mu kukola emirimu gy’abavubuka n’okuyamba abavubuka bennyini mu mirimu gyabwe.

    Naye nga mukyagaanidde ebifo byaffe, twabagamba nti batuddize embuga zaffe ne batuwa obweyamu nti bagenda kuzituddiza ne bafulumya n’ebiwandiiko naye wa! Tewaliiwo kantu konna kavaayo.

    Kiba kirungi abavubuka okuteeka amaanyi mu ntegeka zaabwe mu by’obulimi n’obulunzi kubanga ettaka lyaffe n’embeera y’obudde bikyali birungi ddala. Ekitongole kya Buganda Youth Resource and Job Centre tuteekwa okukiwagira kiteekebwewo mu bwangu ddala kubanga kirabise bulungi nti ly’ekkubo eryomu maaso eryokuggya abantu ba Buganda mu bwavu n’embeera ey’obutaba na mirimu. Tukubiriza abavubuka abalina omukisa okusoma ennyo kubanga omulembe gwe tulimu gwetaaga nnyo abantu abayivu.

    Ng’abavubuka, muteekwa okufuba okuyiiya emirimu egyammwe nga mweyambisa emikisa egiriwo ate era mulina okwewala okunyooma emirimu. Mu kulambula kuno, tusobodde okulaba ebintu ebisanyusa ebikoleddwa mu ssaza lino era njagala okwebaza abo abeenyigidde mu kuddukanya Masaka Town

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.