Abayimbi abayimba ennyimba ezirya mu Buganda enkwe

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio Abayimbi abayimba ennyimba ezirya mu Buganda enkwe

 • This topic has 5 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
 • Author
  Posts
 • #18494
  EfulansiEfulansi
  Participant

  Waliwo abayimbi bangi abeyita Abaganda abayimba ennyimba ezirya mu Buganda enkwe. Kansokere ku Kafeero eyafa, eyayimba mbu yye ayagala muzungu obagala bette. Kyokka nga abiyimbira mu Buganda, eri Abaganda. Mu ggwanga lya beeru wano wendi, nomala oyimba oluyimba oluwaana omukazi oba omusajja owe ggwanga eddala, newankubadde nga oyimba muzungu, toyinza kumanya nakikukubye gyekivudde. Ye ate nga lutuuse lutya ku radio? Tewali ayinza kuluzanya, tewali ayinza kulugula, ate empalana abantu gyebakussako ekugoba mu ggwanga, bwebaba tebannakutta.

  Kirungi nnyo nti ekiggunda kya Ababaka.com tekirimu nnyimba bwezityo. Era tubegayiridde ne Radio yaffe nga etandise, ennyimba ezo temuzizannya, kubanga ziwabya abaana baffe.

  #20011
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Efulansi ekintu kyoyogerako kituufu tulina abaana baffe okubagazisa ekyaabwe mu kusooka nokusembayo , wano ba jjajja ffe nga bwanayagala okugaana omwana ekintu nga kibizza nti temulya swiiti wabayindi kuba bamukola mu bintu bijama ate ngedda nga Baganda tebetaaga kukwatira muntu muggo nga bekunganye nebakivumirira odduka emisinde okukasuka kyebakuvumirirako

  Kati nno waliwo bano nga yimba Chandiru omwana wo mulugwaala yanzita awooyo abakuluyimba ku mulembe gwobote nti omwana womulugwaala anzita yandibadde zezino embutyaga ezikunta kuba buli eyagamba nga nti omulugwaala ,omululu, oba omulango nabalala nti anzita gwaaliga mulanga ogu mutwaala okwabizibwa olumbe

  #20018
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Ne Geoffrey Lutaaya yayimba Oluwala Olunyarwanga. “Wadde tebakwagala nze bambi nkwagala.” Simanyi yagenda e Rwanda? Ye olunyarwanda lwe lu Hutu oba lu Tutsi? Okwelinda si buti.

  #20024
  EfulansiEfulansi
  Participant

  Waliwo eyayimba Naigaga manya biki, nnaluwulira kuno ku internet radio ezizannya enyimba eza BannaUganda. Simanyi wadde aluyimba wadde oluyimba bwebaluyita. Nyinza nokuba nga musajja wattu muteera bwerere mu list yabalyaamu ensi olukwe, nga tabangako Muganda.

  #20033
  KulabakoKulabako
  Participant

  Omanyi ssente bwekulembeddemu amazima buli omu nalowooza nti bwanatabika anatega wanjinaye ekyo butaslawo ku luwala yali yewala wa wanasangibwa nga atunda oluyimba lwe bwabeela mu bahutu silowooza nti ayinza okuwanirayo omutsi nafuna akatale .
  Era ebyo obisanga eno waffe naye abantu abakulembeza eggwanga lyaabwe awo tebakuganya era ebyo kyoova olaba nti bikyaase kumulembe guno kyokka nga bo abafuzi bagamba abaana baabwe nti teri kufumbirwa atali wa gwanga lyo naye muleke abalala bajabulule emisaayi gyaabwe ate olaba nabaana bebazaala mubatali bamisaayi gyaabwebwebatuuka okugenda babasulawo nebataddayo wadde kutunula mabega bagamba temutuletera nnyini…………

  #20043
  MulongoMulongo
  Participant

  Omusajja atamanyi bukko, alya chocolate na sweetie

  http://www.youtube.com/watch?v=a5-qDd_POSk

  Atannalulaba yerolere!!

  Wano waliwo nobuzibu bwomuntu okuyimba byatamanyi. Omuntu okulya chocolate ne sweet wa kati yekka eyo ebeera diet ya ki, ya kwonoona mannyo? Alowooza abazungu bwebatyo bwebali? Yye oyo omweeru omuyaaye bamujja wa?

  Kyaava avvunula Julie nti : Mum & dad forgive him. The Man I got doesn’t know in-law stuffs.

  Ekyo tuyinza okukivaako netugamba nti omusajja ssi English speaking native. Ate nga mu butuufu abantu aba langi yensusu enjeru balimu amawanga mangi nga buli limu lilina ebyaalyo. Naye yadde nga ebyo buko byaabwe birala, nze bemmanyiko abawera, balina ebyaabwe. Ate ssirowooza nti waliwo family, okujjako erina ebizibu ffulula biswa, abayinza okukukyaawa kubanga omuko omugwiira agudde nyazalawe mu kifuba. Abaganda, oba katugambe nti abayimba Oluganda bateekwa okutegeera nti tulina obuzibu obutumala okutandika okwelimba limba nga kirowoozebwa nti bisanyusa, bwekiba nga kino kyekyaali ekigendereerwa. Nyazala mbu nazirika!! Ne video ssi nnungi nakamu.

  Nze nno ndowooza, nti singa abantu abagala okuyimba ebikwata ku bazungu, basooka nebebuuza nnyo, kyagala research ya atleast emyaaka kkumi, nga osiiba n’osula nabo, nebatayimba bintu biswaaza ggwanga. Kubanga bwoyimba ebintu ebitalina kekwaaso ku nsonga enkulu mu reality, ate nebibeera promoted ne ggwanga eddamba, waliwo abayinza okukitwala nti ggwanga lyonna lya ba donzie. Ensonga enkulu eyawula abeeru nabaddugavu ssi kulya nabutalya bintu bya njawulo, infact obwo bwonna bulimba. Waliwo ebizibu ebya namaddala, nga okukutwala ku buko bwa beeru abantu nebenyinyala newolinnye. Mukyala wattu oyo, ayimba byeyeyagaliza, byalowoza nti bya waggulu. Tannakwata mikutu, nti kati omulembe omupya gwa buli muntu nowe ggwanga lye, abazungu badiba ddaaa!!! Buli muddugavu wa Africa ategera nti naba Africa abazungu baali babalina mu kidibo, naye nga ababadibya right back. Ne munaffe Kafeero ekyo teyakimanya nga ayimba Nnafuna omwana Womuzungu. Ate ekibi bwebabiyimba ba affecting-a endowooza za abantu, wano walwio abawala abakava e Uganda abalayira nti bbo balina kufuna bazungu. Okwo kukopiwaza ggwanga lyonna, nelibeera nga ki kikonyogo team. Waliwo gyennakyaala ne Mukwano gwange African American mu ba nna Uganda, nebateekako olwa Kafeero ku video, ate newabaawo omuzira kisa najja alumuvvunulira. Yatunula nga banna Uganda be enjoying-a bazina, wabula nga sitegera expression eri ku face ye. Kyennava mugamba nti ebintu bikyaali bizibu. Kko yye, nti nkiraba.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.