Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Masangaanzira / Crossroads › Abazira Abaganda abaalwana tubakolere ekijjukizo
- This topic has 1 voice and 0 replies.
-
AuthorPosts
-
June 21, 2012 at 12:33 pm #18279
Machati
ParticipantEkiteeso tekitandise bubi naye gyekiggweeredde nga kya bulyaake nnyo. Abamu ku abo abogerebwaako wano benoonyeza byaabwe, abala ababbye Obuganda nebabuleka nga bufujja musaayi. Abazira baffe tubamanyi. Atakakasibwa tasaana ku lukalala olwo. Mbu Kasirye Ggwanga!
Abazira Abaganda abaalwana tubakolere ekijjukizo e Mmengo
Jun 12, 2012Pulezidenti Museveni ng’assa ekimuli ku ntaana ya Musaazi e Kololo.
Kampala
ABAMU ku ffe Abaganda abaali mu kulwana kw’e Luweero okuva mu 1981 okutuuka 1986, ne tuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda, tusaba Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiime atuwe ettaka e Mmengo wali edda awaabeeranga ennyumba za baminista, tuzimbewo ebijjukizo by’abantu abaakulembera okulwana okwo.Nkimanyi Pulezidenti Yoweri Museveni yakola ekijjukizo kya bamwoyo gwa ggwanga 36 abaalina emmundu 27 zokka ne bamira omwoyo ne balumba ettendekero ly’amagye e Kabamba nga February 27.
Eno ye yali emmanduso y’olutalo lw’okwenunula olwamala emyaka etaano mu nsiko y’e Luweero. Naye olw’okuba essuubi ly’okuzzaawo Obwakabaka lyali ttono singa NRM/NRA teyawangula, kye kiva kyetaagisa Ssaabasajja Kabaka asiime ajjukire abalwanyi.
Tuwulira nti omumyuka asooka owa ssentebe wa NRM Al Haji Moses Kigongo yali atuukiridde ku Kabaka n’amusaba okutegeka omukolo gw’okusiima abalwanyi nti kyokka kino abali ku lusegere ne Kabaka tebaakyagala nga bagamba nti ne Kabaka yennyini yali mulwanyi.
Mu nnaku ntono ezijja tujja kutwala okusaba kwaffe okwo eri Katikiro wa Buganda, Ying. J B Walusimbi akutuuse eri Ssaabasajja.
Ssaabasajja Kabaka bw’alisiima okusaba kwaffe, tugenda kuteekawo akakiiko k’abantu bataano akalivunaanyizibwa ku mulimu guno era kagenda kuggulawo akawunti mu bbanka kwe tuliteeka ensimbi ezirisoloozebwa mu bantu okukola omulimu ogwo.
Akakiiko kano kagenda kuteekawo enkolagana ennungi wakati waako ne Gavumenti ya Ssaabasajja era ne Gavumenti eya wakati ku nsonga zonna ezikwata ku mulimu guno. Ebijjukizo bino bigenda kubeeramu eby’abantu bano:-
1. Polof. Y.K Lule, eyali Ssentebe wa NRM eyasooka
2. Pulezidenti Yoweri Museveni eyali omumyuka asooka owa ssentebe wa NRM era nga ye ssentebe wa NRA High Command
3. Al Haji Moses Kigongo, eyali omumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM era ssentebe wa NRC
4. Dr. Samson Kisekka eyali omukwanaganya mu nsi ez’ebweru
5. Capt. Ahmed Sseeguya, omuduumizi wa NRA eyasooka
6.Owek. Paul Kavuma eyatondawo eggye eryasooka
7.Omulangira Badru Kakungulu eyatondawo eggye eryasooka
8. Bishop Yokaana Mukasa eyali ow’e Mityana eyali n’abakulu abo waggulu ne bateekawo eggye eryasooka
9. Edward Mugalu, eyawaayo ssente ennyingi mu lutalo
10. Sam Mutyaba, naye eyawaayo ssente ennyingi mu lutalo
11. Sam Ssebagereka, eyali owa UFM n’oluvannyuma NRM/NRA
12. Dr. Andrew Lutaakome Kayiira eyakulira UFM
13. Brig.Gen. Kasirye Gwanga eyali owa FEDEMU n’oluvannyuma NRA
14. Maj. Roland Kakooza Mutale owa NRA
15. Col. George Nkwanga eyali owa FEDEMU
16.Omugenzi Luttamaguzi, omu ku bazira abattibwa
17. Robert Serumaga eyali owa UFM
18. Fred Guweddeko eyali owa UFF n’oluvannyuma NRM/NRA
19. Al Haji Capt. Abbey Mukwaya owa NRM/NRA
20. Col. Livingstone . Kateregga eyali owa UFM/NRA
21. Gen. David Ssejjusa abangik gwe bamanyi nga Tinyefuuza
22. Brig.Matayo Kyaligonza eyali owa NRA
23. Lt. Col. Serwanga Lwanga eyali owa NRA
24.Capt. Gertrude Njuba eyali owa NRA
25. Brig. Proscovia Nalweyiso eyali owa NRA
26. Capt. Olive Zizinga eyali owa NRA
27. Hajjati Janati Balunzi Mukwaya eyali owa NRA
28. Jack Sabiiti owa NRA
21.Haji Abdul Nadduli owa NRM
22.Haji Kasozi eyali owa NRA
23. Haji Ediriisa Seddunga eyali owa NRA
24. Lt. Col. Jacob Asiimwe eyali owa NRA
22. Kalule Kagodo eyali owa UFM
22. Rev. Bazira ayattibwa basajja ba Obote ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.
23. Brig. Lutaaya
24. John Naggenda
25. Besweri Mulondo
Ate bano wammanga baali mpagi luwaga mu kukola pulaani ez’okutegeka olutalo n’okuluwagira mu ngeri ezitali zimu: Sam Njuba, Polof. Kanyerezi, Joyce Mpanga, Kaaya Kavuma, Polof.Senteza Kajubi ne Ying. Kigozi. N’abalala bangi nnyo, kubanga baali nkumi na nkumi, siyinza kuboogera kubamalayo wano, naye nnina akatabo amannya agasinga obungi mwe gali.
Ekifo kino tugenda kukiteekamu ebifaananyi eby’abantu ab’amawanga amalala abeetaba mu kulwana okwo. Akakiiko ke kalikola pulaani ey’ekifo nga bwe kirifaanana n’okufuna ebyafaayo Kavuma Kaggwa Abazira Abaganda abaalwana tubakolere
ekijjukizo e Mmengo by’abalwanyi. Akakiiko kagenda kusaba buli alina ky’amanyi ku kulwaana -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.