Ab’e Kisekka batongoza ekibiina ekinaakuuma ennono

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Baliranwa / Neighbours Ab’e Kisekka batongoza ekibiina ekinaakuuma ennono

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #17662
    Mirembemirembe
    Participant
    Quote:
    Ab’e Kisekka batongoza ekibiina ekinaakuuma ennono za Buganda

    aaaafr.jpg

    w’abavubuuka mu gavumenti ya Buganda, Florence Bagunywa Nkalubo akuutidde abasuubuzi b’omu katale k’ewa Kisekka obutaleeta byabufuzi mu kibiina kya Buganda Ngabo Workers Association Kisekka Market.
    Yabyogedde atongoza ekibiina kino ku mukolo ogwabadde mu katale k’ewa Kisekka ku Lwokubiri.

    Nkalubo yagambye nti singa ebyobufuzi bireetebwa mu kibiina kino olwo kiba kituuse okusaanawo,wabula kirina okusigala ku mulamwa gwakyo ogw’okukuuma namulondo n’ennono za Buganda.

    Yagambye nti ekibiina kino kya kubeera nga kigwa mu ofiisi ye n’asuubiza okutwala abakulembeze baakyo ewa Katikiro wa Buganda.

    Omuwandiisi w’ekibiina kino, Steven Ntulume Yiga yategeezezza nti ekibiina kino kya wukana ne kya Nkoba zambogo students Association kubanga kyo kikwata ku basuubuzi era kitandikidde mu katale k’ewa Kisekka.

    bukedde

    #27657
    MachatiMachati
    Participant

    Tubagaliza okutesa okulungi. Awangale Kabaka waffe.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.