ABE MENGO MULITANDIKA DDI OKUTAASA

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Agafa e Mengo / News from Mengo ABE MENGO MULITANDIKA DDI OKUTAASA

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18169
    KulabakoKulabako
    Participant

    ABE MENGO MULITANDIKA DDI OKUTAASA

    OLUBIRI BULAMU OLWA BASSEKABAKA LUZIMBIDDWAMU EKKANISA
    BULAMU – KASANGATI

    Olubiri Bulamu olwa Bassekabaka olusangibwa ku luguudo lw’e Gayaza ng’okyamidde e Kasangati okuliraana ekitebe ky’essaza ku kyalo Bulamu, lwatandikibwawo Ssekabaka Ssuuna I mu biseera we yalwanira olutalo n’Abatamanya??anda okuva e Tanganyika.

    Omumbejja Nakayenga Asia nga ye yalondebwa okukuuma ekifo kino okuva mu 1995 agamba nti Ssekabaka Ssuuna okutandikawo olubiri luno bwe yava mu lutabaalo e Tanganyika oluvannyuma lw’okuwangula Abatamanya??anda baamulabira eddogo eryamuzibya omubiri gwonna okwagala okumutta.

    Bwe yakomawo ng’ekirwadde kimunyiikiridde waliwo emmunyeenye eyava mu bbanga n’evaamu eddoboozi nga ligamba nti, “Muzzukulu wange mumuleete asobole okujjanjabibwa. Mungoberere wenaayimirira we muba mu muteeka.” Bwe batyo beeyambisa bunnyo okutambuza Ssuuna kubanga yali tasobola kutambula era emmunyeenye we yasibira we baamuteeka.

    Mu kifo kino Ssuuna yamalawo mbale n’atandika okutambula era bw’atyo n’akubira ddala ku matu. Bwe yamala okuwona n’agamba nti ekifo kino kya bulamu era okuva olwo ekyalo ne kituumibwa Bulamu naye nga mu kusooka kyayitibwanga Bukasa.

    Nakayenga agamba nti Ssuuna buli lwe yalwalanga ng’addukira mu kifo kino kwe kusalawo n’akifuulira ddala olubiri okuva olwo Bassekabaka bonna buli eyakwatibwanga ku kirwadde ng’addukira eno okugeza; Ssekabaka Muteesa I bwe yakubwa eggulu yaddukira eno, Mwanga II bwe yazimba amagulu naye yawonera eno n’abalala bangi.

    Muteesa II naye yayagalanga nnyo olubiri luno okuviira ddala oluberyeberye mwalimu ennyumba ya ssubi naye bwe yalaba ng’eri mu mbeera mbi kwe kusalawo ku mulembe gwe okwezimbiramu ey’ebbaati etuukana n’omutindo n’okutuusa kati y’ekyalimu.

    Yategeezezza nti olubiri luno lukulu nnyo mu byafaayo bya Buganda kubanga Omulangira anaalya Obwakabaka eno gy’asookera n’asaba obulamu, obuyinza n’okufuga mu mirembe. Bw’ava eno n’agenda e Bulondoganyi n’atuula ku Namulondo olwo n’alyoka agenda e Naggalabi okukolwako emikolo egimufuula Kabaka.

    Yadde ng’olubiri luno lukulu mu Bwakabaka naye abasenze balumazeewo nga lwonna baluzimbyemu amayumba n’okulwetooloola kw’ossa ekkanisa y’abalokole ezimbiddwa mu lubiri ng’ekifo ekyali kiweza yiika 33 kati kisigazza yiika bbiri zokka.

    Nakayenga alumiriza abakulembeze b’ekyalo nti be beekobaanye n’abakungu ba Ssaabasajja ku ssaza e Kasangati ne batunda olubiri luno era bwe yatandika okwogerako ne bamuggulako olutalo nga kati akuumwa ba mmundu okwewala okutuusibwako obuzibu.

    Ayongerako nti atuukiridde be kikwatako e Mengo naye tewali afaayo kumuyamba nga kati ali mu bweraliikirivu obwamaanyi kubanga olubiri balwegezaamu n’okulukumako omuliro lusaanewo.

    KIVUMBI KENETH

    Comment:

    ? 17 – Jun – 2013 23:42 kino kyennyini kyebagenderera okusanyaawo embiri okuzimbamu amakanisa okwookya okutatadde kyokka nga abali emengo tebalina kyebakolawo oba kyebanyega kubanga nabo mwebali ku nkwe zokumalawo buli kalambe akalaga omuganda ne nnonno ze
    naye nga banaffe aba makanisa oyinza okugenda ewaabwe nomenyawo ebyobuwangwa byaabwe nebwooba ekkanisa ogenda kuzimba yaabwe nebakukkiriza . lino ejoogo lyebakola ku buganda lyerijja okugoba abantu mu madiini ago agatyoboola obuwangwa bwa bantu nokubalowozesa nti ekyo katonda kyeyabatonderamu kya sitani. lwaaki katonda mu kifo kyokutonda amawanga teyatondamu madiini kwegamba abantu abanyigiriza amadiini kubantu olwakabi bebasinga katonda amagezi? 17 – Jun – 2013 23:49

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.