Addwadwalikanye lwa bekalakaasa kufula ekitibwa ky

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Emboozi Ezenjawulo / General Discussions Addwadwalikanye lwa bekalakaasa kufula ekitibwa ky

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Mirembe mirembe 7 years, 6 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17922
    Mirembe
    mirembe
    Participant

    POLIISI bw’ebakubyemu ttiyaggaasi n’ebakuba n’emiggo, baggyanukudde nga bayimba oluyimba lwa Buganda olwa “Ekitiibwa kya Buganda kyava dda.

    ” Bw’obawulidde, osanga naawe olowoozezza nti Buganda y’ebakubisa nti era olutalo lwe baliko lwa Buganda yokka. Weewawo ne Buganda erina ebyayo ebigiruma, naye ebyekalakaasisa abantu kati era ebibakubisa ttiyaggaasi n’amasasi bikwata ku abo bonna abali mu kwekalakaasa, ab’amawanga ag’enjawulo.

    Bwe kityo Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Luwalira yabadde mutuufu okwemulugunya ng’oluyimba, “Kitiibwa kya Buganda” bwe lujaajaamiziddwa ennyo ne luyingizibwa ne mu ntalo gye lutaalibadde.

    Bwe kiba ng’entalo ezigenda mu maaso zaakulwanirira ddembe lya Bannayuganda ennyimba ezaaliyimbiddwa zeezo ezikwata ku Bannayuganda bonna awamu sso si okuddira oluyimba olw’ekitundu ky’eggwanga ekimu ne lufuulibwa enkata ey’okwetikka ebizibu by’eggwanga lyonna.

    Abayimbira “Ekitiibwa kya Buganda” mu ttiyaggaasi balina n’ekigendererwa eky’okufuula Buganda okuba nnalukalala nga buli omu gy’alina okweyambisa okulwanirira ebituufu n’ebikyamu. Weewaawo abayeekera ba Museveni abeeyambisa Luweero (mu Buganda) okulwana n’okuggyawo ba Obote ne ba Okello baalina ebigendererwa ebituufu.

    Naye obutuufu obwo ate we bwonoonekera kwe kuba nti newankubadde olutalo lw’ekiyeekera olwalwanirwa e Luweero ne lutta n’Abaganda bangi era ne luboonoonera n’ebintu byabwe bingi kyokka n’okutuusa kati Buganda ewooba buwoobi ng’ekyabanja ebintu byayo!

    Singa olutalo lw’ekiyeekera olwalwanirwa e Luweero, lwaggwa nga n’abalulwanye baviiriddemu awo ng’ayokya omusota twaligambye nti oyo yali “ppoteya” wabula ekiruma kiri nti bangi baagwa mu bintu naye eb’e Luweero be bakyawooba! Omulabirizi Luwalira yagambye nti “kitiibwa kya Buganda” bwe kiyimbirwa mu ttiyaggaasi kiggwaamu ekitiibwa.

    Naye nno si kukumalamu kitiibwa kyokka naye era ekyo kirufuula oluyimba lw’Abaganda olw’olujeejeemo olweyambisibwa mu ntalo ezinaasobozesa abalala okugwa mu bintu kyokka bo bannannyini lwo ne basigala nga bawooba.

    Era Ddwaddwaddwa Mumansa njagala okukikinala mbuuze nti abakubiddwa ttiyaggaasi n’amasasi lwaki tebadwadwalikana nga bwe bayimba nti “ Ekyalya bannange ekirebeza empina” ne bakungubagira abo ababonyaabonyezeddwa? Kitiibwa kya Buganda mumwagaza ki?
    bukedde

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.