Akayimba Eri Mwana Munnange Omuganda

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio Akayimba Eri Mwana Munnange Omuganda

 • This topic has 11 voices and 31 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 32 total)
 • Author
  Posts
 • #19138
  MulongoMulongo
  Participant

  Nja kumuwereza nak’Oluganda. Naye ajira awuliriza kano ka Everitaimu akali mu lufuuti fuuti.

  #19390
  KulabakoKulabako
  Participant

  Banange Mulongo oyagala tukola ki nze akange kakano

  #19391
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Nze akange kaako

  #19400
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Ssebo Mumbejja ebibyo birungi ddala. Ffe eno tuli mu kulumagana. Jjo mukama wange yankubye oluggi mu face! I think we are disfunctional.

  #19401
  Alex KigongoAlex Kigongo
  Keymaster

  Bannaffe mwebale kujjumbira! Nange ndeese akange eri mwana munnange.

  #19409
  OmumbejjaOmumbejja
  Participant

  Kalibattanya oba wabadde oyagala kuwereza kano atleast olina wotandikira nga kyuuse akutunudde mu maaso ngokamuyimbira

  #19412
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Mwanyinaze ono ka yaba ababulira bwennamugamba bwennyiiridde ne mwaana munnange.

  #19632
  MugerekaMugereka
  Participant

  Nange kano kemperezza mwana munnange omuganda. Mukwano kawulire okamatire, bwomala ojje onkwekule, ku weekend eno.

  #19696
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Kale mukwano nsonyiwa, sikyakiddamu.:(

  #19697
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Nkuleteddeyo nakamuli bambi. Nsubidde nti oli bulungi. Atleast omu ku ffembi abeere bulungi.
  77_images.jpg

  #19704
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Mukulu wange omugenzi yagambanga nti Abaganda ffenna tuli balamuzi, kubanga tulaba tuwuliriza, netusala amazima. Netusobola okuyambagana mu buzibu. Kale nga munnaffe wano Kalibattanya ne munne – wewaawo bagamba nti mu bya babiri owokusatu asattulula – naye bano abaana basattulukufu, kati owokusatu ayingirawo kugatta. Nange kyenvudde nyingirawo nakayimba kano:

  #19874
  MugerekaMugereka
  Participant

  Kano ke kayimba ka Muganda munnange kannyimbira. Omukwano butiko nebwojja tovubiriza.

  #19985
  EfulansiEfulansi
  Participant

  Tuteekwa okufuba okufa ku maka gaffe gabere amateefu, tusobole okuzimba eggwanga lyaffe namanyi agasigadde, okusinga okumala ebiseera mu nyombo mu nju nga ebyaffe babiganira. Taata waffe nkutumidde.

  http://uk.youtube.com/watch?v=PYqvgf5DC-8

  #20054
  SengoobaSengooba
  Participant

  Alina ebyange ali Buganda, yoyo alizaala abana bange. Mbadde njagala kumuweereza kayimba ka Elli Wamala, nekambula. Kamuwerezemu kano aka Jazz akakadde. Don’t you just love jazz?

  #20187
  Justus ZaguduJustus Zagudu
  Participant

  Wish me a quick recovery.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 32 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.