Alex Kigongo K. kati ye ssekiboobo e Kyaggwe

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Emmunyenye za Ababaka / Ababaka stars Alex Kigongo K. kati ye ssekiboobo e Kyaggwe

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #18312
  MachatiMachati
  Participant

  Amawulire ga leero gatukutteko bulungi wano ku ababaka.com

  Tujja kubanja ebyaffe okutuusa bwe birituweebwa-Katikkiro
  Bya Alex Lubwama

  Katikkiro Eng. John Baptist Walusimbi ku mukolo gw’okutuuza Ssekiboobo omuggya, Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo, yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okubanja ebintu bya Buganda ebiri mu mikono gya gavumenti, okutuusa lwe birizzibwa

  Yagambye nti eky’okuzza CBS kyalaze nti singa abantu bonna beegatta ne babanja Ebyaffe, bijja kuddizibwa. Yakunze Bannakyaggwe okukuuma ebyobugagga bya Buganda n’obuwangwa ebiri mu kitundu.

  Yeebazizza Ssekiboobo omuggya olw’okugatta abantu mu ssaza, wamu n’okussaawo akakiiko k’ebyenkulaakulana ke yatongozza akagenda okutetenkanyiza essaza n’okutema empenda ez’okukulaakulanya abatuuze.

  Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo ye yatuuziddwa ku

  Bwassekiboobo mu butongole, ku mukolo ogwabadde ku mbuga y’essaza mu Ggulu mu disitulikiti y’e Mukono.

  Sylvester Bitokote ye mumyuka wa Ssekiboobo asooka ate Lutaaya Habib ye w’okubiri.

  Kyaggwe yaakabeera ne Bassekiboobo 29, nga Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo ye Ssekiboobo ow’okuna mu mulembe guno Omutebi II.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.