Alonze Katikkiro We Kkobe

 • This topic has 2 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • Author
  Posts
 • #17469
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Alonze Katikkiro

  Bya Robert Masengere

  ALUUBIRIRA okutwala entebe y’Obwanamwama mu kika ky’Ekkobe, omutaka Augustin Mutumba Ssalongo alonze Katikkiro omuggya oluvannyuma lw’abaddeko okufa.

  Yalonze omukiise mu lukiiko lwa Buganda, Musoke Ssevvume okubeera Katikkiro we.

  Ssevvume amanyiddwa nga ‘Namwatulira’ mu lukiiko lwa Buganda yalangiriddwa ku bukulu buno gye buvuddeko era omuggo oguyitibwa omulamula gwamukwasiddwa ku dduwa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi Kasim Male Mabiriizi abadde Katikkiro.

  Bino byabaddewo oluvannyuma lw’okufa kw’omutaka Ronard Kiragga ng’ono ab’ekiwayi kya Mutumba babadde bamulumiriza nti yalya ensowole ne yeekakaatiika ku bukulu bw’ekika ky’Ekkobe ensonga ne bazitwala mu kkooti ya Kisekwa
  bukedde
  Published on: Thursday, 11th September, 2008

  #23540
  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
  Participant

  Eby’Ekkobe bibatabudde Nsambu n’akulira Abataka
  Written by Robert Masengere
  Bukedde Wednesday, 20 May 2009
  WABALUSEEWO okusika omugwa wakati wa minisita wa Kabaka n’omukubiriza w’olukiiko lw’abataka abakulu b’ebika ng’entabwe eva ku minisita kulangirira omutaka Augustin Mutumba nti ye Namwama omukulu w’ekika ky’Ekkobe omutuufu.

  Kino kiddiridde Omumyuka wa Katikkiro owookubiri era Minisita w’obuwangwa, ennono, obulambuzi n’amasiro, Haji Yusuf Nsubuga Nsambu okuyisa ekiwandiiko ekitegeeza nti omutaka Mutumba ye Namwama oluvannyuma lwa kkooti ya Kisekwa okusalawo eggoye ku nsonga eno mu 2001.

  Wabula kyategeezeddwa nti Katikkiro bwe yatutte ekiwa-ndiiko kino kisomwe ku mpewo za Laadiyo CBS mu Bulange wiiki ewedde, ate omukubiriza w’abataka, omutaka Nakire-mbeka Allen Waliggo n’akiggyayo ng’agamba nti ensonga eno Kabaka tannagimanya.

  Ekiwandiiko ekyassiddwako omukono gwa Katikkiro Nsam-bu nga May 14, 2009 Bukedde n’akifunako kkopi, kigamba nti “ Ofiisi ya Katikiro ne minisitule y’obuwangwa n’ennono etegeeza Obuganda nti Namwama ye mutaka Augustin Kizito Mutumba ne Katikkiro we ye Owek. Ssevume Musoke”.

  Bino bibaddewo ng’okusika omugwa wakati w’oludda oluwagira omutaka Augustin Mutumba n’olw’omugenzi Leonard Kiragga agambibwa okulya ensowole kukyagenda mu maaso.

  Aba Mutumba bagamba nti kkooti ya Kisekwa yasalawo eggoye ku nsonga eno ate aba Kiragga ne bategeeza nti Kabaka gye baajulira tannassalawo kya nkomerero.

  #23675
  MulongoMulongo
  Participant

  Bawakanya okutuuza Namwama
  Written by Fred Mutyaba
  Bukedde Thursday, 28 May 2009
  AB’EKIWAYI ekikulirwa Omutaka Namwama Augustine Mutumba ow’e Kyengera mu kika ky’Ekkobe bagambye nti ekyakoleddwa okutuuza Joseph Nsereko ku bukulu bw’ekika e Buwama kkobaane erigenderera okusaanyaawo ettaka ly’ekika erisigaddewo.

  “Waliwo akabinja k’abantu abeebunguludde omusika wa Kiragga ono Nsereko abenyigidde mu nteekateeka eno ng’omulamwa kwe kunyaga n’okusaanyaawo ettaka ly’ekika,” Abekkobe abawagira Namwama Mutumba bwe baagambye mu lukiiko olwatudde ku ofiisi y’ekika e Nakulabye wiiki ewedde okuteesa ku nsonga eno.

  Lwakubiriziddwa jjajja w’ekika avaamu Namwama, Omutaka Kyana Muteeweta eyagambye nti ebyakoleddwa e Buwama kyabadde kiwaani na kukuba mbekuulo ey’okwesanyusa olw’okutunda n’okusaanyaawo ettaka ly’ekika kye batagenda kukkiriza.

  Mu kiwandiiko ekyasomeddwa Omutaka Namwama Augustin Mutumba mu lukiiko luno, yagambye nti obukulembeze bw’ekika bwagguddewo omusango mu kkooti nga buvunaana ab’oludda lwa Nsereko okutunda ettaka

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.