Amabaluwa ga bukedde

  • This topic has 6 voices and 9 replies.
Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • Author
    Posts
  • #18946
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Buli radio station, buli ggulire libera lirina ebigendererwa byaalyo. Era bwosoma obulungi eggulire oba nogobereera omukutu gwonna ogufululumya amawulire nebyafaayo eri abantu ojja kuvumbula ddala kiki kyeguliko. Ebbaluwa nga zino ezifulumira mu bukedde toyinza kuzisanga nga abamawulire ga Bangereza mu Bungereza bazifulumizza, yadde BBC okuzisoma nga ziwandikiddwa Bangereza, mu Bungereza eri Abangereza. Kinoonyerezeko ne munsi endala mwooli ggwe ali mu Diaspora. Abaganda mufune amawulire agammwe agabazimba agajjayo negalaga amagezi nokulowooza byemulina Mukama byeyabawa mu bungi.

    Abaganda muve mu byobufuzi

    NSABA Abaganda beemalire mu kukola ennyo okusinga okudda mu byobufuzi.

    Okusinziira ku kunoonyereza kwenkoze nkizudde ng’ebyobufuzi tetubisobola. Kati laba Beti Kamya yagenze kutabula na banne. Ate n’aba DP tebakkaanya.

    Nsaba mudde mu kukola mwegobeko obwavu.

    Harriet Nakidde,
    Makindye.

    Published on: Monday, 25th August, 2008

    #19456
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Tukooye bannabyabufuzi okutubuzaabuza

    NKIZUDDE nti abantu beegatta ku bibiina byobufuzi lwa busungu. Abalala babiyingira olw’okwagala okwefunira ensimbi.

    Muky. Betty Kamya mu kulonda okwakaggwa, yakunga Bannayuganda okulonda Dr. Besigye asobole okutwala eggwanga mu maaso. Kyewuunyisa nti ate ye muntu y’omu atandise okutugamba nti mu bantu abakyamu be yaalabye, abaafa n’abaliwo Besigye tewali amwenkana!

    Mbuuza tunaatwala tutya eggwanga mu maaso nga buli lunaku abantu tubalaga muntu mupya, era bw’oba tosobola kwetegereza bigendererwa bya kibiina n’omukulembeze waakyo lwaki okigendamu? Tukooye bannabyabufuzi ab’ekika ekyo olw’okubuzaabuzanga bannansi nga mwenoonyeza ebyammwe.

    Matovu Emmanuel
    lemmato@yahoo.com

    Published on: Monday, 25th August, 2008

    #19460
    MulongoMulongo
    Participant

    Wano nze wendi buli bantu basoma amawulire agelanga nti ffe tuwagira kino oba kiri. Waliwo aga ba nnakalyako ani(communist), aga ba sita kange (Capitalist) aga government eliko, era gano buli lwekyuuka abagalimu bakyuuka, agaba kalikawo kadda, (traditionalists) etc… Kale buli mawulire gawandiikira audience yaago emanyiddwa. Ensonga teri ku lulimi ki lwegawandikiddwaamu, wabula biki byebakkiririzaamu abawandiika. Bano abantu ba Bukedde bawandiika mu Luganda naye nga bakkiriza mu kusaanyawo Buganda. Yye mmese ekuluma nga efuyirira. Laba bwewalinga awaliwo okujaguza buli lwewafa omuntu. Galinga amawulire ga ba Vampires abalina ennyonta ku musaayi gwa bantu. Buli lunaku bateekwa okubeera nomulambo wakiri gumu mu mawulire. Otandika nokutya nti bwewataba mulambo bbo bagwekolera basobole okutambuza omulimu gwaabwe. Nange nsaba Abaganda mu mazima mutunule ku mawulire ge bweeru naddala mmwe abali ku mawanga! Nebalyooka bakuba ebifaananyi bya abaana abasobezebbwako, oba mu kadaakika nga bosobezebwaako, ekyo tekirina mulala akikola mu nsi ya Katonda yonna. Obwo bubi bwennyini obwa banna mawulire nababatwaala, omutali kirungo kirala kyonna. Abafudde mu bubenje babakuleetera bakyayokya mu ntebe zaabwe!!! Abakazi abambuddwa, onogamba otya nti kibi nga banna mawulire bakikolamu sente? Buno obuyaaye bwava mu gwanga ki ddala? Abaganda tetuli bwetutyo, tetubangako bwetutyo. Abantu abali mu Buganda bwebalifuuka bwebatyo nga tebakyayitibwa Baganda ba Katonda!!! Abaganda mukyenoonye, mukyebuuze!!

    #19463
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Simanyi mawulire ga mawanga malala oba nago gaba gamirambo gyebasitudde

    nagalaale nga magulu gagweeri nemikono gigudde eno, ekitaali mu Buganda.

    Newabaawo eyabuzizza nti ddala egwanga elyaffe telisobola kufuna ssente

    zigula strecher kwebatwalira bantu mukifo ,kyokubatwaala nga babagayudde

    nebabakasuka ku kabangali nga batwaala amatooke,

    Buno sibujoozi , gano bagayita ga kuyiisa mu ga ngege.,

    Kwe kugamba banaffe batulaga nti basobola okukola buli kityobola eddembe lya

    buli muntu.

    Nga tetwalaba Natasa bwebamussa ku bubangali kumutwaala Mulago kuseminti kuzalira eyo ?

    Bo bemukasuka ku bubangali tebaali baana zaali ntula?

    Olwokubanga ye yava lwa kitengotengo ye, ye ntula?

    Nemulyooka mukwaata olulimi lwaffe nemukuba amawulire gammwe nemutandika

    okutujogeramu lwaaki temugawandiika mululimi lwammwe ffe netujja tubabuuza

    byemutegeeza nemukwaata nemirambo gyammwe nemugaala nga bwemwagala.

    Kati ffe abafaayo enyo okwagala ebibakwatako netujja tubegayirila mutubulire

    tumanye.

    Kati ayagal okumanya elinnya Bukedde yabanaffe bweligwaayo oyinza okwelondera

    oba noyongereza kugano

    BUKEDDE:
    mbanyagulule ettaka lyaabwe

    nfutyanke Abaganda

    ndye omutulumbi gwange gwenayigga nga balala bekweese wansi we bitanda

    twonone kyonna kyetwasangawo; ebirara byonna tubyetunze

    tuwalane Abaganda abatulwanirira okutureeta mu buyinza

    tulageyo emirambo gyaffe gyetwayizeeyo ekiro

    mbatabulire mu lulimi lwaabwe

    ntunze Abaganda obulyaake

    tugende tugule satifiketi za Buganda emmengo tufune wetunayita

    okukeketa Namulondo

    tuyiwe abalaalo mu Buganda , tubawe nemmundu zebaba balundisa ente

    zaabwe.

    ABAGANDA KATI MBAWA GABWEREERE SSENTE ZAMMWE MUZIRYEEMU NAMUNGODYA

    , ABATALINA NYINGI MULYEEMU KABALAGALA, NAYE NGA TEMUZIGUZEEMU BUKEDDE

    #19466
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Hahahahahahah nnamungodya!!! Kaakati nno abali eka batubuliire ggulire ki erifulumizibwa Abaganda era erissa ekitiibwa mu nnono n’obulombolombo byaffe lyetubanga tusoma. Era obanga tebali ku line abakuba eggulire eryo, tukolere wamu baleere online, betuberanga tu quoting-a nga mu articles, posts zaffe. Kubanga bwewetegereza ku gano amawulire tomanyi matuufu naga bulimba. Kakaati nga ebyo ebya Omulangira Simbwa okukuba Kabaka mu mbuga, ate nga ali ku kitanda mu ddwaliiro kati emyeezi ebiri, nze ndabanga ebitasoboka!! Mpozzi! Naye sirowooza nti yandikoze ekintu bwekityo nga Obuganda buli mu buzibu nga bwebulimu. Kubanga akimanyi nti Obuganda bwebutereera buli kimu kyonna kya kutunulwamu tukitereze nga tukolera wamu nga bajja fffe abasooka bwebazimba okusooka. Mbu nagamba nti buli eyeyita Kabaka!!! Ahaaaaaaaaaa leero ebyo bukidde, simanyi buzibye tebiyise!!

    #19469
    KulabakoKulabako
    Participant

    Teri gwanga likkiriza kulikozesa ngeri eno gye bakozesezza Baganda tugambye nti ebbula lye nnyama terikuliisa biwojjolo naye nnyabao banno nobabuzaako obwekyusizo.
    Wano oba nga avooola Mukama eyakeera natonda nabawa ebyaabwe ebikusikiriza.

    Bwosika ekitajja omala daaki nokibukako bu kungu , naye Abantu kyebatamanyi nti Omuganda muzibu okufugika , kuba Katonda yamutonda ne ngeri ze zanjawulo okusinziira kubwe ndaba amawanga amalala bwe geyisa .

    Ajja kusembeza era tajja kusosola singa oba okola ebintu byo ,mu buntu bulamu.
    Ajja kukuwa ekitiibwa bwonooba osoose okukyeewa , bwojja nobukodyo bwekibbibi, obukumpanya , omululu okulengezza abakusinga ,obutassa kitiibwa mu kya kiririzaamu , na munnono ze, okweyingiza mu nsonga ze nga takusabye.

    okumujogera ewuwe , kya yita akanyoomo nyoomo , akakwaasa embwa ya mukamaawo mukamwa , era kebayimbako nti wonyomera asula mu nju ye akanyoomo nyoomo.
    Abaganda bakuzibwa nga tebasoosa kuvuma era watukira okukuvuma ngomutuuse ku
    nuuni, kuba bo ebiseera ebisinga baba babulirira.

    Naye ddala emirundi egisinga baba omuntu bagamba ko mugambe kati bwatamanya koomo lye nebalyooka bamuyiira omuliro naye bewala nnyo okuvuma
    Mpozzi nga bakusozezza , nokuzimuula then awo omanya nti ebilala biddirira sibirungi ko

    #19603
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Ebibiina ebyakoze omukago byamaze biseera bya mu bulago

    OMUKULEMBEZE wa FDC yakunze abakulembeze b’ebibiina ebirala nga UPC, CP ne Jeema okukola omukago naye nze ndaba baatawanidde bwereere.

    Ekibiina kya NRM kikyali kya maanyi nga ne bwe baneegatta bajja kuwangulwa. Buli kibiina kisaana kwerwanako.

    Joseph Mutaasa,
    Ndejje.
    Bukedde
    Published on: Tuesday, 9th September, 2008

    #19674
    MulongoMulongo
    Participant

    Ono ssenga wa kicupuli bulala. Byawandiika amala kubirowoozako? Oba malya nsimbi nga bwagezaako kyonna okwoonoona Obuganda? Nga asinziira ku maka ge waabwe, oba? Kubanga bwagamba nti mwegendereze balamu bammwe, abeera agamba baani? Anti nabakazi abafumbo abalina ba mulamu, nabo abakazi bano ate balina ne bannyinaabwe, era nabo bamulamu. Olwo eno ebbaluwa eringa eva mu ggeyena kiki kyetegeeza? Nti abakazi bonna okuva Obuganda gyebuva negyebugenda balina kuwalaggana? Yye yye yenyini, eyeyita senga abeera mulamu womukyala waabo bayita bawala be, bamwagala batya nebesiga namagezi gabawa, nga nkwe zokka na bya bukyaayi byalina ku mutima ku nnyaabwe? Nga yye yenyini bwabyoogera.

    Mwegendereze balamu bammwe
    MBALAMUSIZZA nnyo bawala bange mwenna gye muli. Mwebale emirimu gye mukola . Mmwe abafaayo okuteekawo enkolagana ennungi n’abantu b’oludda lw’abaami bammwe mbebazaamu ak’ensuso. Kirungi okukolagana n’abantu naddala ab’ekika.

    Wabula nzize okubalabula ku bantu abayitibwa bamulamu. Ggwe muwala wange asoma bino nkugamba nti si kibi okukolagana ne mulamu wo omukyala naye olina okubeerako w’okoma.

    Abasajja tebatera kubeera na buzibu okuggyako abamu abayinza okwagala okukusaba omukwano naye mulamu wo omukyala gy’akoma okubeera omulungi ennyo gy’ayinza okukoma okubeera omubi.

    Bamanyi okukola akatinko naddala nga baakakulaba ne bakubiita gy’obeera nti oli bbebi naddala nga waakayingira amaka ga muganda waabwe. Ebiseera bwe bigenda biyitawo tebabulwa kye bakwerondako.

    Okuggyako abatono ennyo naye mulamu wo omukyala ne bw’omukolera ebirungi ebiringa obugulu bwe ggongolo, ekibi kiba kimu ekimujja mu mbeera n’atandika okukusojja n’okukwogerera amafukuule.

    Bawala bange abamu mwogera bingi ne balamu bammwe nga mwakabalaba omuli gye muzaalibwa n’ebizibu bye muzze muyitamu okutuuka okufuna obufumbo.

    Ebyo bye wamunyumizza kwasinzira okuzimba ebivumo n’ebigambo ebiraga nti mwanyina okukuwasa yakuyamba buyambi wandibadde olya nfuufu. Ate bwe kisanga nga mwanyina alina ku mmaali era ng’akuwa buli kirungi gubula asala. Ayinza okukujerega nga bwogejjedde ku bintu bya mwannyina nga tolina ky’omugasa.

    Takoma kuwalampa ggwe wabula atwaliramu abaana bo ne bakadde bo. Kati nnyabo nkulabula okwegendereza abantu abo kubanga tebalina ddiini. Ate buli mukazi muganda waabwe gw’aleeta gwe batinka naye.

    Bukedde
    Published on: Monday, 15th September, 2008

    #19680
    MubiruMubiru
    Participant

    Tujjukire nti Bukedde mawulire ga NRM. Emiramwa nga Ssenga, Ebbaluwa, Emboozi babireeta kuwagira NRM, kumenya Buganda, oba kusiriwaza baana ba Buganda. Bukedde ali mu lulimi luganda. Nze sitawaana kusoma miramwa egyo.

    Naddala senga asavuwaza nnyo emboozi zawandiika ezikwata kubyokwegatta kw’omwami n’omukyala. Emirundi egimu emboozi ezo senga yaba azifumbyefumbe. Nze ngamba nti ekyo bakikola abaana abato mu Buganda abasobola okusoma oluganda, bagwenyuuke. Emiramwa nga obwamalaya oba okwetunda babiwandiika nga ekintu ekyabulijjo. Ate bwosiriwaza abaana abato eggwanga (Buganda) oba omaze okulitta.

    Waliwo omuntu omu eyawandiika nabuuza nti emboozi zino (nga mwotwalidde nozokuyigiriza abana abato ebyokwegatta…, omukwazi wasinga okuwomerwa, etc) lwaki temuzikubako mu mpapula endala nga Orumuri, Rupiny, oba Etop? Abasoma empapula zino bagamba nti ezo emboozi mu mpapula zaabwe tezirimu.

    #19687
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyoova olabira ddala obubi bwabantu, Amawulire agali munnimi endala togalabamu mirambo nabantu batemaganye ngoono kazambi ajjudde mu Bukedde.
    Balowooza nti bwebanabissa mululimi oluganda abantu nebakyuusa obulombolombo bwaabwe .
    Lwaaki oli bwaaba talina byamagezi byakuwandiika ekiwulire takissa mu lulimi lwe, naye bagala nyo okutulaga nti bo banyumirwa nnyo omusaayi nokubona bona kwabalala kyebava bakunganya buli kyesittaza kyonna nebakikuba omwo.
    Nebaggala nokulemesa abogera ebyamagezi kuba bakozi babyambyoone balina okubyolesa mu bantu .
    Bwebatuula eyo mubibbe nebewaana nti kyokka tukola , mulyeemu byemulidde kuba ebintu bikyuuse nabaali babawaga ekiseera kisembedde okubegaana ate bebajja okulagira okukwatibwa kwammwe era bemujja okusanga mu Kooti yensi yonna era bebagenda nokubasomera olukakala lwemisango gyemuzizza negyemwerabira edda .
    Kuba mujjukire nga nammwe bwemwaali eager okubasanyusa nabo bwebajja okuba eager okubesambajja nokubegaana some people don’t associate with losers

Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.