Bannaffe abeeru abakazi nabasajja abasinga bakifubako nnyo okukola kyonna kyebasobola okulaba nga balwaawo okukaddiwa. Bbo oluusi bamanyi nokwelimba nti bayinza okubaako kyebakola “To stay forever young”!!. Naye nga ani ayinza okukyagala ekyo? Omuganda yakyogera obulungi bwakiyita okukula bulungi, kubanga okukula kulungi, kuleeta amagezi nebirala ebilungi bingi ebijja nokuwangaala, naye okukaddiwa oluusi kuleeta mu obuzibu.
Abeeru batandikira ku myaaka 18- 20 okulwanyisa obukadde.Kale bwobeera osukka emyaaka egyo, kyokka nga tolina bukodyo bwakwongerayo bukadde, tandika okubufuna. Ate mmwe abalina obukodyo, muyambeeko wano ku bakiise.
Nze kyemmanyiyo ekiyamba kwekubeera nabantu boyagala era abakunyumira okubeera nabo atenga nabo bakwagala era nga bakunyumirwa. Okwewulira obulungi munda kufuluma nekwelaga nebweeru.