Amakula Ga Kulabako

  • This topic has 4 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #18912
    MulongoMulongo
    Participant

    Waliwo abangamba nti eno ye film ya Baganda eyasooka. Nnagirabako edda, nga olutambi lusiiwufu naye nga abazannyi balungi nnyo. Amannya nzijukira Kawalya yekka. Ennyimba zzo zikyaliwo nabuli kati. Tujejjukanye — yali egenda etya? Omwana w’omukopi yayagala Omumbejja nebigenda bitya?

    #19472
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nange nzijukira ngirina awantu naye yali nnyumunguze bulungi naye nga maloboozi gavaayo bulungi yanyuma nnyo ninanamu abantu bange abagirimu naye ye kawalya yali amalilidde okutwaala omumbejja neyesiba ngo mukyaala eya mukebera amabeere yeyebuuza nti yiiyi buno bwo bunaba bwa nambalala
    Naye mu byasinga okunnyumira ngo mumbejja asaze ediiro , eyajja okukatema eyali amwogereza naye nga tayamba nakatono munywaanyi we nga laba atema emiranga nga naye ayongera kusakiriza nja kuginoonya nzije mbatuseeko ebigifaako …………..okutuura okuwuliriza mulina kunsasula

    #19483
    TontoTonto
    Participant

    Makula ga Kulabako.
    (Omuzanyo gwomwaka)

    Omuzanyo guno gwasomboola bannauganda banji okujja okugulaba. Gwali gunyuma nnyo. Gwazanyibwanga buli mwaka, era nga buli lwetuguzanya etikiti zonna bazigula. Gwegwabanga omuzannyo gwomwaka. Olwokuba abantu batambulanga abamu nga basoma, abalala nga bakozi, kumpi buli mwaka mwabangamu bantu balala.

    Nze nali omu kubavubi. Abazanyi bonna awamu (cast) twali bangi. Abavubi twali nga 10, ate abasese nabo nga 10. Kati okwo kwogatta abalala nga bano:

    Jack Sekajugo (RIP) yeyali Semuvubi, era yeyali ayagala okuwasa omumbejja
    Ecras Kawalya (RIP) nga ye Nyonyintono, yeyali omuzinyi mulubiri lwa beene. Era yeyawasa omumbejja
    Dick Semulima Sempaka nga ye Magwiri, yeyali omukuumi wa wankaaki
    Senga yakyuukanga kumpi buli mwaka. Nze lwenalimu ono yeyali Naluggya, a playwrite.
    Era neyazanyanga ng’omumbejja naye yakyuukanga nnyo, kumpi buli mwaka nga mulala yazanya.
    Luboyera yeyali omuwereza wa Semuvubi. Ono gweyatumanga ew’omumbejja okumutwalira obubaka n’obulabo bwomukwano.
    Enyimba zayiyizibwa Wassaanyi Sserukenya.
    Kawalya yeyayimba oluyimba “Kulabako” era nga band ye eya Suzana band yeyakuba.
    Omuzanyo gwayiyizibwa neguwandikibwa Byron Kawadwa (RIP). Omuzanyo gwali “musical”
    Ba Kampala City Players bebaguzanya.

    Mubimpimpi ennyo, omuzanyo gutandika nga Semuvubi alengedde omumbejja neyegomba okumuwasa. Omumbejja engeri jebamukuumiranga ennyo mulubiri, nga talaba basajja kino yakisanyukira, wabula neyekanga kuba Semuvubi yali ayitiridde mumyaka. Omukwano gwabwe gwalwaawo nga bagutwala mumaaso, naye nga Semuvubi tebamukkiriza kugenda mulubiri kulaba mumbejja.

    Lwali lumu newabaawo ekibinja ekyagenda okusanyusaamu omumbejja nga kikuba engoma n’okuzina amazina. Mubazinyi mwemwali Nyonyintono. Nyonyintono yali akyali mulenzi muto. Mwana mulenzi yatinkuula amazina, wabula ng’agazinira mumutima gwa mumbejja.

    Omumbejja yegomba nnyo Nyonyintono. Kwekuyita sengawe, namugamba nti awulira aseyeeya ng’eryato kunyanja. Nti omulenzi omututte emeeme. Kati nno sengawe kwekumusalira amagezi bayingize omulenzi mulubiri. Amagezi geyasala gakumwambaza ng’abawala abaleeta amakula g’omumbejja – “Amakula ga Kulabako”, bwebatyo bamuyingize mu lubiri basobole okulabagana n’omumbejja. Era bwegwaali. Magwiri akuuma wankaaki aba ali awo ng’abawala bano abetisse amakula g’embuga. Nabakkiriza nebayingira olubiri. Abayingira abawala abataano, wakomawo bana. Kyokka kino Magwiri teyakiraba. Yali alowooza nti bonna baweddeyo. Yali tamanyi bulungi kubala.

    Omumbejja kwekuyita Magwiri amukalatire obutakkiriza muntu yenna kuyingira mulubiri. Awo weyazuulira nti eriyo “omuwala” eyali asigadde ew’omumbejja. Bweyamubuuza lwaki ye asigadde, yaddamu nti asigaddeyo ng’alinda addeyo n’ebibbo omwali amakula. Omumbejja kwekukalaatira Magwiri nti akuume nnyo wankaaki. Tewabaawo omuntu yenna ayingira mulubiri. Kwolwo Nyonyintono yasula mulubiri wamumbejja.

    Enkeera Semuvubi yekeera kutuma musajjawe agende alabe omumbejja ngabweyasuze, nga bweyateranga okukola. Wabula omutume nebamugaana okuyingira. Hha, neyechwachwana, era awo kwekuyingira olwempaka. Yasanga Nyonyintono bali muddiiro ewomumbejja bakwataganye. Nyonyintono yanyonyola nti yemuwala eyali aleese amakula, era alinda bibbo. Omubaka wa Semuvubi kwekumugamba nti olimuwala nabaki? Amabeere kukifuba nga tekuli, ganaaba ga nambalaala? Omusajja wa Semuvubi kwekuduka zambwa agende abifuuwe Semuvubi.

    Omumbejja yafuna panic, kwekutumya sengawe omwebuuzeko ekyokukola. Sengawe yamugamba nti Magwiri abenga ayokya wankaaki, akube enduulu nti olubiri lukutte omuliro. Nti abantu bwebanajja okuddukirira ne Nyonyintono naye atolokere mwabadukirize.

    Ekitundu ekyaddako kyali kyakutegeka mbaga. Era honeymoon yali kukizinga Ffunve.

    Omuzanyo guno nze gwanyumira nnyo yadde nga nali muzanyi, wabula ndowooza abaali balaba obulabi banyumirwa nnyo okusinga abaguzanya.

    #19487
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Nga guwulikika gwawandiikibwa bulungi nnyo? Ate kati njagadde okugulabako! Wakyaliwo engeri yokugufuna? Mumbejja tugabanyizemu kweeyo gyolinawo naffe tumale galaba kweeyo yade nyumunguze!

    Nnasanyuka okulaba ku Tonto nga avuba! Wesiima okubeera part of such a good thing!

    #19493
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Teri kyasinga kunyumira nga ssemuvubi abikabiramu ate nga bwayagala ddala oku kimukakasa mu details kyeyagambye ate buli kyebamugamba ngakubira ddala omulanga guli gwennyini ogwomwanguka oba ddala omumbejja asaze ediiro , nalinamu cousin wange yeyali agenda okuzannya ekitundu kyomumbejja naye nebakyuusa era wegwagweera nge nyimba zonna tumaze okuziyiga kuba yakomangawo eka nga yegezaamu nandibadde twaali bato naye nakati nkyazijjukira

    njakufuba ndabe ekyokkola.

    #19517
    MulongoMulongo
    Participant

    Eeh bannange Tonto tweyanzege okutuddira mu plot yomuzannyo guno. Sisomangako ku katabo ka Kawadwa konna, nga yaali muwandiisi mulungi!!! Nze ekinnakuwaza mu Buganda be bantu ba pooteri abatalina kya magezi kibavaamu okujja neboonoona, nebajja mu bulamu abantu abo mugaso eri eggwanga. Awo wotegereera nti ddala tuli mu matigga ga Sitani. Mukama atusaasire.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.