AMAKULU GA MUJAGUZO MU BUGANDA

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 4 years, 4 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17548
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Kampala | Mar 17, 2014
    Bya KIZITO MUSOKE
    ABAKULU abakwatibwako ensonga mu Buganda bali mu kusattira oluvannyuma lwa Mujaguzo okwetuga, ekintu ekiranga obuzibu mu Buganda.

    Mu kiseera kino batuula bufoofofo okulaba nga bakola emikolo gyonna egyetaagisa okuddamu okuleega eng’oma.

    AMAKULU GA MUJAGUZO MU BUGANDA

    Mujaguzo zibeera ng’oma z’Obwakabaka era nga zikubirwa Kabaka yekka abeera ali ku Nnamulondo mu kiseera ekyo. Kyokka wadde eng’oma zino zibeera nnyingi, mulimu eng’oma enkulu okuli eya Kawulugumo. Eno ye ng’oma ensajja ng’ekuumibwa Kawuula ow’Olugave.

    Eng’oma eyookubiri enkulu y’eya Namanyonyi, ekuumibwa Kimoomera ow’Obutiko. Eno y’eng’oma enkazi. Bw’ogatta eng’oma ya Kawulugumo ne Namanyonyi obeera omaze okufuna Mujaguzo ne bw’obeera tonnaba kugattako ng’oma ndala yonna.

    Kimoomera Daniel Wagaba Daniel Sebiyembe, akuuma eng’oma ya Namanyonyi agamba nti bw’ogatta eng’oma ezo ebbiri, kye bayita Kabaka atayogera mu Buganda.

    Mujaguzo y’awa Kabaka aliko obuyinza n’asobola okufuga obulungi Obuganda. Eng’oma zino buli emu erina embuga yaayo e Kabowa.

    Kimoomera agamba nti tewali muntu asobola kutuula ku Nnamulondo nga tomaze kujja n’okola emikolo ku ng’oma zino. Era eno y’ensonga eyitisa Kabaka omwana w’eng’oma.

    Era amala kuva wa Mujaguzo e Kabowa alwo n’alyoka agenda e Naggalabi ne bamutikkira.

    Ebyafaayo bya Mujaguzo bimaze emyaka 640

    Muzeeyi Matia Migadde Mugandawaasula, akuuma olubiri lwa Mujaguzo e Ttamu mu Ssingo agamba nti Kabaka Kimera bw’amala okulya Nnamulondo ya Buganda, Abaganda baagenda e Bunyoro okumukimayo kuba mu kiseera ekyo gye yali.

    Kyokka bali mu lugendo lwabwe olubakomyawo bwe baatuuka e Budimbo , ekiri ku luguudo lwe Hoima, okuliraana e Busunju, wano we baasanga omusajja Budimbo ng’akuba engalabi eriko ekifaananyi kya ttimba. Yagikubanga bw’azinirako.

    Kabaka, eyali akyali omuto mu kiseera ekyo, eng’oma eno yamusanyusa nnyo era n’agyegomba. Kidimbo yagamba basajja ba Kabaka nti bwe babeera bagyagala bamuweemu amaliba g’engalabi agibawe, era nabo kye baakola ne bagimuwa. Mu kiseera ekyo ekitundu kino kyali kikyali kitundu kya Bunyoro.

    Era wano Kabaka we yagambira omu ku basajja be Sekajolo okugikubanga.

    Kyokka bwe baatuuka e Buganda Kabaka n’agamba Ssekajjolo nti engalabi tojja kugikuba wekka. Baamulagirira e Makukuulu e Bukuya awali emirukwa (gye bakolamu eng’oma) emirungi.

    Kyokka babeera bakomawo n’emirukwa gino, ne bawummulirako e Ttamu, era nga wano we baakola obutandaalo ne gitalinnya ku ttaka.

    Oluvannyuma ennyo ekikondo ne kiroka omuti gw’omuvule era nga ne mu kiseera kino omuvule guno weeguli era nga gugambibwa okusussa emyaka 640.

    MUJAGUZO OKWETUGA KYE KI?
    Kimoomera agamba nti Mujaguzo okwetuga kibeera kitegeeza nti eyabise. Agamba nti okuva edda mu Buganda, Mujaguzo yasobolanga okwetuga, naddala bwe yalinga eranga nti wanaabeerawo obuzibu. Era engeri endala gye yalangangamu nti wandigwawo obuzibu kwe kwekuba n’evuga yokka.

    Mujaguzo okwetuga kyavanga ku bintu ebiwerako, kyokka ng’ekikulu byonna byetooloolera ku kya kubeera nga babadde bagisobezza, nga bamenye obulombolombo obugifuga.

    Ensonda zaategeezezza nti mu kiseera kino eng’oma ya Kawulugumo ye yayabika, era ng’abataka abakwatibwako ensonga bali mu kusala ntotto, okukola emikolo egyetaagisa okuddamu okuleega eng’oma eno.

    Mu kiseera kino Kabaka takyasobola kukuba ku Mujaguzo, okutuusa nga bamaze okukola emikolo ne bagireega, era kigambibwa nti y’ensonga lwaki eng’oma Buganda Bumu, gy’asinga okukuba ensangi zino.

    Kabaka bw’asisinkana Mujaguzo, abeera alina okukuba ku ng’oma Kawulugumo. Omutaka Kasujju Lubinga bwe yamala okusumikira Kabaka eddiba ly’engo mu 1993, baamutwala ku Mujaguzo n’akuba ku kawulugumo omulundi gumu.

    Obulombolombo bwa Mujaguzo
    1. Mujaguzo temala gafulumizibwa, era ng’okufuluma ebeera egenda kuvugira Kabaka yennyini, era nga kino okusinga kikolebwa ku mikolo gya nsonga ng’amazaalibwa oba amatikkira ge n’okuggulawo olukiiko lwa Buganda.

    2 Eng’oma ya Mujaguzo ya bwerende, era ng’onaagikuba tokkirizibwa kusula na mukazi. Kino bwe wakikolanga ng’osobola okugisobya ate naawe n’ofuna obuzibu.

    3 Mu kifo kyonna awabeera Mujaguzo mu mbuga yaayo temuyingiramu mukazi yenna.

    4 Mujaguzo tesula mu Lubiri muli Kabaka, kuba mu Lubiri temubeera bakabaka babiri. (Mujaguzo jjukira kabaka atali wa mubiri.)

    Kimoomera agamba nti olwokuba mu kiseera kino ettaka lino litundiddwa nnyo, kireetedde okubeera nga waliwo emikolo egitali myangu kukolera mu bantu.

    Ebifo ebimu ebyandibadde bikolerwamu emikolo byatundibwa dda. Ennyumba ya Kimoomera nayo yanunula nnunule okuva ku bantu abaali baagala okugyezza.

    5 Mujaguzo teteekeddwa kubuuka mugga Mayanja, kyokka kigambibwa nti gye buvuddeko eng’oma eno yatwalibwa e Masaka ng’emaze okubuuka omugga gw’eterina kubuuka guno.

    6 Eng’oma za Mujaguzo zino nga zibadde zitambuzibwa, tezirina kutambuzibwako zimu, wabula zirina kutambuzibwa zonna wamu, nga zikulembeddwaamu eng’oma enkulu okuli eya Mujaguzo Kawulugumo eya Namanyonyi, n’eng’oma endala.

    7 Buli Mujaguzo lw’evaayo Ssaabasajja Kabaka awaayo ente era eddiba likwasibwa kireega. Amaliba ago ge gakozesebwa mu kuleega eng’oma za Mujaguzo.

    TEBASEMBA KUSENGULA LUBIRI
    Omusigire wa Kiwoomera, Muwanga Kawere, abakuuma eng’oma ya Mujaguzo-Namanyonyi e Kabowa , agamba nti enteekateeka ze bawulira ez’okujjulula olubiri luno, zigendereddwamu kufuna luwenda lwa kutunda ttaka lino liggweewo. Agamba nti waliwo abantu abazze batunda ettaka lino nga be bali mu nteekateeka eno.

    Kimoomera Wagaba agamba nti waliwo ensonga lwaki Olubiri luno lwakubibwa Kabowa, era nga tewali muntu bye baafugika wansi nga batandika okukuba olubiri luno.

    Alina okutya nti abaliwo tebamanyi bulombolombo obugobererwa. Kawuula Magala Frank Magala teyafunyise kubaako kyayogera ku nsonga eno.

    KATIKKIRO ABIYINGIDDEMU
    Gye buvuddeko Katikkiro yawandiise ebbaluwa eri omukulu w’ekika ky’Olugave omutaka Ndugwa Grace Semakula Musoke ku nsonga ya Mujaguzo okwetuga n’asaba bamutegeeze ebyetaagisa okuddamu okugireega abyanjulire Ssaabasajja.

    Katikkiro era ayagala eng’oma eziwerekera Mujaguzo ezitaliiwo okuli Entenga, Abalere, Abakondeere n’Abadinda zizzibwewo.
    http://www.bukedde.co.ug/…/77192-eng-oma-mujaguzo…

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.