Amannya ga Balangira

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Basajjamivule Anonymous 4 years, 10 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17123
    Basajjamivule
    Anonymous

    Sikituuffu nti amannya Amalangira agasooka oba goona gavaanga mu gabanyaabwa. Amannya Amalangira agasinga, go’kufananako na’mannya ga Baganda abalala boona, galina ennono ya’go mu lulyo Olulangira no’bwakabaka.

    Naye nga olimutuufu waliwo amannya mu Balangira nga’bagajja mu gabanyaabwa. Abalangira baano, naddala abo abalya Obwakabaka bakikolanga olwakwagala ennyo banyaabwe. Naye bagenderera nnyo okukyusa amannya ago gereme kufanana oba kuwulikika nga age’bika bya banyaabwe okugeza;

    * Ssekabaka Ttembo Kiridde, Ssekabaka wa Buganda owo’kuuna, mutabani wo Mulangira Lumansi. nyiina ye Namasole Nattembo owe’mamba. Ab’emamba batuuma Ssettembo. Ye obutafananako nabakojja be, erinnya lye kwe kulifunza ne liba Ttembo.

    Nabala abatwala amannya okuva mu ga’banyaabwe bwe bakola nga Ssekabaka Nakibinge Kagali Mulwanyamuli, Ssekabaka wa Buganda owo’ munaana, mutabani wa Ssekabaka Kayima, nyiina ye Namasole Nababinge (Mamba).

    Mu mannya go’menye wagulu kuliko Mutebi ne Ssuuna agava mu mannya ga Banyiina ba ba Ssekabaka abagagata ku ga Balangira. Amalala agasigadde galina ennono mu lulyo Olulangira.
    Chwa teriva mu Nakachwa ( Ngabi) oba Nabacwa (Ngonge). Nga bwe tumanyi, Ssekabaka Chwa Nabakka oba Chwa I, Ssekabaka wa Buganda owo’kubiri era asooka okuyitibwa Chwa, nyiina amuzaala ye Nambi Nantululu wa Ngeye. So si Ngabi oba Ngonge.

    Ne muzukuluwe, Kimera tazaalibwa Nakimera nga bwogambye. Erinnya lino nalyo lya nnono mu Balangira. Jjukira Omulangira eno yaziribwa Namasole Wanyana e’Bunyoro. Ssekabaka eno ya yitibwanga Wakyama oba Walusembe. Erinnya Kimera yalifuna olwokuba “yamera” mu Buganda nalya Obwakabaka bwa bajjajjawo nga weyise ebanga ddene nnyo.

    Erinnya Kalema teriva mu Nakalema. Lino erinnya liva ku muti oguyitibwa “Kalemanjovu”, omuti guno si munene oba muwanvu nnyo, ngera gugonda nnyo, wabula muzibu nnyo okuula oba ogumenya -ne Njovu gugirema, kyebava baguyita Kalemanjovu. Omulangira atuumwa erinnya eryo okumufanaganya no ‘muti ogwo. Asobola okuba nga simunene oba muwanvu nnyo wabula obuvumu bwe bulinga obwo’muti ogwo.

    Amannya mangi agali mutuluba eryo nga, Mbogo, Wango, Wasajja, agalaga obuzira bwa Abalangira. Namalala nga Kagere, Namaalwa, Nabaloga, Nasiwa, Golooba, Ssibwa, Kimbugwe etc agalina ennono ya’go mu kika kino.
    P.s. Namannya agajjibwa mu gabakyaala abazaala Abalangira, gasobola okuba nga,gategeza kirala nnyo kwago a ga’banyaabwe gyegajibwa, okugeze:
    Erinnya Mutebi, litegeza Kabaka “kutebuuka bizibu”, ekitegeza amagezi amangi nobumalirivu, okuvunuka ebizibu obumwolekedde ne Buganda. Bwaba wali owuliriza ku luyimba “Eddaame lya Chwa”, Christopher Ssebaduuka, ojjakutegera kye’ngamba!!

    Byawandikiddwa Omulangira Patric K Walugembe

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.