AMASIRO AGASIGADDEWO

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 4 years, 6 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #16655
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Kajubi James Omuseenene
    AMASIRO AGASIGADDEWO
    Mu Buganda mulimu amasiro ga Bassekabaka ab’olulyo lwa Kintu amatongole agawerera ddala amakumi abiri
    mu mukaaga era nga buli gamu galina Nnaalinnya waago, ng’oggyeko amasiro ge e Kasubi,Nabulagala agaateekeddwa omuliro amasiro amalala ge gano ;

    Ag’e Wamala mu Kyaddondo – Gano Masiro makulu nnyo mu Bugandaera ge gaagalamizibwamu Ssekabaka Kalema Kyetutumula Ssuuna II.

    Ag’e e Nnono mu Busujju – Ssekabaka Kato Kintu ,Ssekabaka eyasooka.Wabula abamu bagamba nti yabula bubuzi.

    Ag’e Bumera mu Busiro – Ssekabaka Kimera Wakyama.

    Ag’e Bujuuko mu Busiro – Ssekabaka Ttembo ne Ssekabaka Jjuuko.

    Ag’e Ddambwe – Ssekabaka Mukaabya Kkungubu Kiggala.

    Ag’e Sentema mu Busiro – Ssekabaka Kiyimba agambibwa okukaddiyira ennyo ku bwakabaka.

    Ag’e Nabulagala mu Busiro – Ssekabaka Kayima ne Ssekabaka Kayemba Nnantabuulirirwa.

    Ag’e Kkongojje mu Busiro – Ssekabaka Nnakibinge omulwanyammuli,Ssekabaka Ssekamaanya ne Ssekabaka
    Mutebi I .

    Ag’e Bulundo mu Busiro – Mwe muli Ssekabaka Mulondo eya tuula ku Nnamulondo nga tannaweza na myaka etaano.

    Ag’e Mubango mu Busiro – Ssekabaka JJemba.

    Ag’e Gimbo mu Busiro – Ssekabaka Ssuuna I olumu eyameggebwa akasibe akatono ennume y’ekigwo.

    Ag’e Bugwanya mu Busiro – Ssekabaka Kimbugwe.

    Ag’e Buteregga mu Busiro – Ssekabaka Kateregga.

    Ag’e Bundeke mu Busiro – Ssekabaka Tebandeke.

    Ag’e Musaba mu Busiro – Ssekabaka Ndawula .

    Ag’omu Bbuga mu Busiro – Ssekabaka Kagulu Teebuuchwereke eyali omukambwe nnamige!

    Ag’e Kaaliiti mu Busiro – Ssekabaka Kikulwe.

    Ag’e Sserinnya mu Busiro Ssekabaka Mawanda.

    Ag’e Kavumba – Ssekabaka Mwanga I eyalamula Obuganda okumala ennaku mwenda zokka!

    Ag’e Muyomba mu Busiro – Ssekabaka Namugala eyava ku Nnamulondo n’agirekera muganda we Kyabaggu.

    Ag’e Kyebando mu Busiro – ssekabaka Kyabaggu eyagaziya ennyo Obuganda ndowooza ne munne Ssekabaka Namugala yamutiirawo kwekumuteera Nnamulondo.

    Ag’e Luwunga mu Busiro – Ssekabaka Jjunju.

    Ag’e Kisimbiri mu Busiro – Ssekabaka Ssemakookiro.

    Ag’e Kasengejje – Ssekabaka Kamaanya.

    Ag’e Masanafu Kyaddondo – Ssekabaka Kiweewa.

    Ag’e Mmende mu Busiro – Ssekabaka Kalema ono bamubbulamu essomero eriyitibwa Mmende Kalema Senior Secondary School

    Ssekabaka Ccwa I Nabaka ye talina masiro kuba yabula bubuzi.

    Amasiro agasinga obungi gali mu Ssaza Busiro ndowooza kwe lyajja n’erinnya eryo “Busiro” nga kiva mu linnya “Masiro”

    bikung’anyiziddwa Kajubi James

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.