Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna e Wamala mu 2008

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18061
    MulongoMulongo
    Participant

    Basonze ez’okuddaabiriza amasiro

    [attachment=2538]1209911875zulu.jpg[/attachment]

    Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna e Wamala nga bwe gafaanana.

    Bya Lilian Nalubega ne Rogers Kibirige

    MINISITA omubeezi ow’ebyobulambuzi e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi anenyezza Abaganda abatafaayo kumanya bigenda mu maaso mu bwakabaka bwabwe n’agamba nti be babulemesezza okukulaakulana

    Yalumbye n’abeefunyiridde okuwamba ebintu bya Buganda n’okwogerera Mme-ngo ebisongovu.

    Yabadde ku mukolo ogw’okusonda ensimbi ez’okuddaabiriza amasiro ga Ssekabaka Suuna II e Wamala ogwategekeddwa minisitule y’abakyala ne Bulungibwansi e Mmengo eya minisita Apolonia Mugumbya. Minisita yawaddeyo 3,000,000/- ku lwa minisitule ye.

    Omukolo gwetabiddwako Minisita w’ebyobutonde n’amazzi mu gavumenti eya wakati, Maria Mutagamba eyawaddeyo 1,000,000/- n’akubiriza Abaganda okukolagana ne gavumenti eya wakati gye yagambye nti ejja kubayamba nnyo mu by’ensimbi.

    Obukadde 900 ze zeetaagibwa mu mulimu guno. Bagguddewo akawunti nnamba Oil 2507403100 mu bbanka ya DFCU okusonderako ssente zino.

    Ku mukolo baasondeddeko 7,162,000/.

    Nnaalinnya w’amasiro gano, Sarah Nattu Bitabira yasiimye ebitongole ebivuddeyo okuyamba ku mulimu guno okuli n’ekya Nabugabo Updeal Joint Venture, emikutu gy’empuliziganya n’abantu ba ssekinnomu.

    Published on: Sunday in Bukedde, 4th May, 2008

    Ensonga zokuddabiriza ebiggwa tekwata nnyo ku sente nga bwekwata ku bavunanyizibwa okukuba ggwanga mujje era nebateesa olunaku olwokukola emirimu gino egya bulungi bwa nsi. Kyewaava wabeerawo abalabirira embiri zino namasiro, gwe mulimu gwaabwe guno. Ebiggwa bwebitunula bwebityo kizibu ensi obutabonabona. Kano kenyini kabonero kaabutemanya. Kitalo.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.