AMATOOKE

This topic contains 1 reply, has 1 voice, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 10 years, 2 months ago.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18459
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Enjoy the flavor of steamed matooke

    The Baganda are renown for steaming food in banana leaves. Food steamed in leaves, retains most of its nutrients and natural flavor, the banana leaves also impart a delicate aroma to the food. To steam matooke you need banana stalks and mature leaves.

    Cut off the stalks and wash off any dirt. Trim the stalks into pieces long enough to fit snugly into the bottom of the sauce pan. Put two long strips of banana fiber on top of the stalks, in a criss-cross fashion, so that the ends hang out over the sides of the saucepan. Pour in water making sure it does not rise above the stalks.

    Turn the leaf upside-down and carefully slice off the midrib. Fold the leaf in half backwards. Repeat the process for six or more leaves. Put the largest leaf on top of the stalks. Peel and wash the matooke and neatly pile it on to the leaf. Fold the sides of the leaf over the food, so that the food is wrapped in it. Tie with the banana fibers hanging at the sides of the pan. The food should fit snugly in the pan. Cover with the remaining five folded leaves, by tucking them over each other, in a criss-cross manner.

    Place on a hot fire and continue cooking until you see a steady stream of steam coming through the leaves. Reduce the heat, cover with another saucepan and cook for about an hour. To add water to the pan, push a wooden spoon along the inside of the pan and pour some water in space created.

    Remove pan from heat and carefully uncover the matooke, putting the leaves covering it on a clean tray. Use folded banana leaves to mash the matooke, on the bottom leaf, by pressing with the palms of your hands.

    #21820
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Okufumba eddigobe kuliko obulombolombo nkumu

    Bya Dr. Michael Nsimbi, Keefa Ssentoogo, Polof. Livingstone Walusimbi

    NG’OMAZE okuyunja ettooke, osala endagala bbiri n’ozifunyaamu n’oteeka ku ttooke ne weetikka ng’emisa gye gitunudde emabega era ng’oryetisse mu ngeri nti ekitundu eky’engabo kye kitunudde emabega, ng’eky’ensubi kye kitunudde gy’olaga.

    Eggwaatiro liteekwa kubeera mu lusuku mu kifo ekiriraanye awaka oba effumbiro. Eggwaatiro kifo kya nkalakkalira awateekwa okuwaatirwa emmere era kye kyavaako olugero nti, ‘ekitaataaganya eggwaatiro, eba nkuba kuyinga’, anti enkuba bw’eba ennyingi omuwaasi w’emmere aba talina bw’awaatira mu ggwaatiro.

    Okumanya eggwaatiro kifo kya nkalakkalira, lituuka n’okumeramu obutiko obuyitibwa Nnaggwaatiro.

    Omukyala Omuganda yeebikkako endagala atangire amasanda.

    Enkota giwaate ku ky’ensubi ne ku kyengabo so si kugiva ku ky’engabo yokka.

    Bw’ebeerako amatooke agakutte awamu nga nnabansasaana togawaata wekka

    Amatooke ago bw’ogalaba nga bukyali ofunayo munno ne muwaata babiri era bwe mugatuukako, mugabejjulamu buli omu n’awaatako limu.
    Ekyo bwe kitasoboka olwo ogateeka ku mmere nga ga mpogola. Okulya bwe kutuuka, amatooke gano gasusibwa ne gaweebwa abali ku lujjuliro.

    Ettooke erisooka okuwaatibwa limenyebwamu, emmere esobole okwala.

    Singa awagula ettooke afuna ettooke eryeyuzaamu wakati, alisiba n’ekyayi n’aliteeka enkoto nga bw’agamba nti, ‘Nkuterese bwe ndifuna kasadde (ennyama) ndikuggya enkoto.

    Ettooke eryesimba mu gannaago mu lwaliiro mu kiseera ky’okuwaata liba litegeeza mugenyi ku mmere, bwe gaba abiri gaba gategeeza mugenyi n’omwana we oba abagenyi babiri.
    Gaba gakulabula kwongera mpaguka ku mmere.

    Waliwo obunwe obutono ennyo obubeera ku ttooke.
    Obunwe obwo buyitibwa kiremya.
    Olw’obutamanya, obutooke obwo butera kusuulirwa ku nfikkira ya kikolokomba kyokka nabwo buwaatibwa ne busalaasalirwa mu muwumbo mu matooke amalala kubanga omufumbi bumuyamba okufumba emmere emala obulungi.

    Nazzikuno ng’omufumbi bw’afumba emmere omuwumbo ne guggwaawo ne watasigalawo wadde akatono, ayinza okulowooza nti oba abantu bange be nfumbidde tebakkuse? Kale nno obutooke bukiremya bukola omulimu gw’okukkusa abantu emmere n’eremerawo, kye kibuyisa bukiremya.

    Omuwumbo gw’emmere gubikkibwako obuwuuwo obukazi n’obusajja.
    Obusajja bw’ebwo obubeera obunene obusooka waggulu w’olulagala ate obukazi bwe butono obukomerera ku lulagala.
    Ebyayi ebisiba emmere tebiba bya nsobi.
    Bibeera bibiri, bina, mukaaga oba okusingawo okusinziira ku bunene bw’omuwumbo gw’emmere.

    Laga enneeyisa y’Omuganda bwe yeetooloolera ku mmere ye enkulu.

    Published on: Saturday, 17th January, 2009

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.