ARTIST WAFFE

This topic contains 2 replies, has 3 voices, and was last updated by  Kulabako 8 years, 6 months ago.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18635

    Kulabako
    Participant

    Olunaku nfuna 50,000/- mu kusiiga ebifaananyi | Print | E-mail
    Monday, 01 June 2009 15:32
    [Mpambe ng’asiiga ekifaananyi ky’omuyimbi Geoffrey Lutaaya.]

    Mpambe ng’asiiga ekifaananyi ky’omuyimbi Geoffrey Lutaaya.
    Sam Mpambe omutuuze w’e Kansanga ku lw’e Gaba yenyumiriza mu mulimu gw’okusiiga ebifaananyi wadde ng’abamu bagunyooma. Yayogedde ne Phillip Kaggwa.
    Omulimu guno nagutandika mu 1978 oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo gyange mu ttendekero erya Lira Techinical College gye nakugukira mu byokusiiga ebifaananyi.

    Ngwenyumirizaamu kuba ngufuniddemu ebirungi bingi omuli okuweerera abaana bange, okuzimba ennyumba n’okukola ku byetaago byange ebirala.

    Amakampuni mangi ge nkolera emirimu omuli eya Picfare, Sheraton Hotel n’amalala.
    Ebifo ebisanyukirwaamu nabyo mbisiigira ebifaananyi omuli; amabaala n’ebirala. Mu bifo bino mwe muli Joyous Bar (Kawempe),Tickles and Giggles (Kansanga) n’awalala.

    Sikoma ku bano bokka wabula nkolera n’abantu bassekinnoomu.
    Okusiiga ekifaananyi ntandikira ku 50,000/- ne 200,000/- n’okweyongerayo okusinziira ku bunene bwakyo wamu n’ebintu byenkozesa omuli engoye n’obubaawo.

    Olunaku nsobola okusiiga ekifaananyi kimu ne nkimaliriza bulungi.
    Wabula obuzibu bwe nsanga kwe kuba nti ebintu bye nkozesa byongera okulinnya bbeeyi buli kiseera ekivaako nange okwongeza bye ntunda.

    Nkubiriza abantu okwagala emirimu gyabwe. 000000000000000000000jkkll.jpg

    #23770

    Musajjalumbwa
    Participant

    Oyo Omuntu ssi Muganda, ssi waffe. Ba Mpambe beddira ki? Ssi Muganda!

    #28118

    Omumbejja
    Participant

    [attachment=2659]Baby.jpg[/attachment]

    Ssenyonjo Raymond

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed