Ate Kati Batandise Kutemula Abasubuzi Abaganda?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads Ate Kati Batandise Kutemula Abasubuzi Abaganda?

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18780
    MulongoMulongo
    Participant

    Omusuubuzi omulala akolera ewa Kisekka akubiddwa amasasi
    [attachment=2578]sali.jpg[/attachment]

    Jul 14, 2012 Matia Ssali ng’ali ku kitanda nga tannafa. Ekif: Prossie Kalule

    Kampala
    Bya Basasi Baffe

    OMUSUUBUZI omulala akolera okumpi n’akatale k’ewa Kisekka akubiddwa amasasi n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

    Eyatemuddwa ye Matiya Ssali, ng’abadde mutuuze e Nabweru mu Kampala kyokka ng’akolera wa Kisekka mu galagi eyitibwa Najja. Ssali yannyuse nga bulijjo n’adda eka ku ssaawa nnya ez’ekiro ku Lwokusatu.

    Alina w’asuza mmotoka ye era yabadde agitwala mu kifo kino, kwe kugwa ku babbi nga baliko omuntu gwe batuga n’ayagala amuyambeko. Yabuuse mu yiye n’agenda okutaasa n’akwatako omubbi omu ne beenyoola naye.

    Mu kavuvvungano kano, omu ku babbi abaabadde bayimiridde ku mabbali yasiseeyo basitoola n’akuba Ssali amasasi mu kifuba n’agwa wansi olwo ababbi ne badduka ne mmotoka gye baabadde bagezaako okunyaga ne bagireka awo.

    Ssali yakubye enduulu abadduukirize ne bajja ne basanga ng’avaamu omusaayi mungi kwe kuumuyoolayoola ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago. Amasasi gaamukutte mu mawuggwe ne gagayuzaayuza era we yatuusiriziddwa mu ddwaaliro nga takyasobola kussa bulungi.

    Abasawo baamutadde ku kyuma ekiyambako okussa ne bagezaako okumussaako omusaayi kyokka yamazeewo akaseera katono n’afa. Dokita yategeezezza nti yavuddemu omusaayi mungi ate nga n’amawuggwe gaabadde gasensebuddwa amasasi ekyamuviiriddeko okufa amangu.

    Ssali abadde akola ntegeka edda mu Iraq okukola ng’eno yali yagendayoko n’amalayo emyaka ebiri kyokka abaali bamukozesa ne bamukubira essimu addeyo obutasukka mwezi guno addemu okukola nga pasipooti yagifunye wiiki ewedde.

    Omugenzi alese nnamwandu n’abaana basatu nga yaziikiddwa ku Lwakutaano mu Kiganda e Mubende. Abatuuze mu kitundu beemulugunyirizza poliisi y’e Nabweru nga bagamba nti omugenzi we yakubiriddwa amasasi kumpi nnyo ne weri nti kyokka baatuutte ekiseera kiwanvu okujja nga bamaze okubategeeza.

    Abatuuze baayongeddeko nti mu kifo we battidde omugenzi wabi babbirawo nnyo abantu nti kyokka tewali kyali kikoleddwa kusalirawo magezi kutereezaawo wadde nga kibadde kyogerwako buli kiseera wabeewo ekikolebwa okutereeza ebyokwerinda mu kitundu.

    Abakubiddwa amasasi

    1• July 10, 2012 – Omusuubuzi Henry Kayiira yakubiddwa amasasi ng’ava mu mmotoka ye nga yaakatuuka mu makaage e Kiboga mu Kabakanjagala Zooni.

    2• July 3, 2012 – Omusuubuzi William Lubega Musisi eyakazibwako erya Kitengo era nnyini dduuka lya Kamulu Traders e Kyebando ku lw’e Gayaaza yakubiddwa amasasi ng’adda ewuwe

    3• July 2, 2012 – Ab’emmundu baalumbye edduuka lya Mobile Money e Bweyogerere ku makya ne bakuba amasasi n’okunyaga ensimbi 400,000/-

    4• June 25, 2012 – Abazugu bazinda amaka nga Maj. Charles Ddamulira akolera mu kitongole kya ISO ne babba piisito ye.

    5• June 24, 2012 – Omuntu omu yattiddwa e Kirinnya bwe yakubiddwa amasasi.

    6• June 22, 2012 – Haji Kiweewa Kigejjogejjo owa Prime Shoppers Supermarket e Kyanja ne bamutta.

    8• Abazigu bazinze ekibanda kya Spot Cash ku Arua Park ne banyaga era omukazi Margaret Bilavu n’afiiramu olw’okukubwa amasasi.

    #28022
    NdibassaNdibassa
    Participant

    M7 EYABALETERA OTULO NOBUTEMU ABWABULI NGERI BWAJJIRA WAMU NOKWEYOREKA GYEBWAALI
    BWEKWEESE

    Gavumenti yeeri emabega wo butemu kino kyeraga mu lwaatu lwaaki abali mugavumenti bo tebabattira bantu baabwe oba bo kenyini okukubwa obutayimbwa oba enganda zaabwe wano bwewabaawo gavumenti kyeyagala ekikolerawo ngokukuba abantu amasasi babe nga bali mukukungubaga nga kyebakola e Kasubi.
    singa abaali batta abantu gavumenti siyebatuma bandibadde basitukiramu dda okubakwaata naye buli lweyagala okwongera okujjuza amakomera nga betutteyo abasooka bajjudde nge yoola omuntu wabulijjo anoonya emirimu kubanga munsi ye ye talina mukisa kufuna mulimu nga banakunkunyedda tebanagyegabanya babeere nga nokugisobola tebagisobola
    buno obutemu tebwakatandika kati kuba ababukola babadde babukola mu gavumenti zobote 1 ,2ne mu ya amin ekyobutakendeeza kutemula kubanga abaganda tebasitukanga kwerwanano era abatemu bagukola kubanga tebatta baabwe era tebatemulira waabwe .
    Mirundi emeka nga bakwaata abatemu nebabawereza mubifo ebirala bongere omulimu gwaabwe nga bavuddewo mukitundu webabadde nga Alinaitwe , nooyo eyattanga abantu nabanyagako emotoka zaabwe ate nga bakugamba nti nabeyita abanene mu gavumenti mwebali Mukama lwalibikkuka ekisanikira muliraba ekivundu , okujjako wabeewo okuwonga singa abaganda banazibuka amaaso nebadda e wa Mukama nokusobola okwerwananko.
    Lwaaki obutemu buli mu Buganda wokka lwaaki tebuli mu west nti mbadde bebabbye ssente zonna nga namayumba gaabwe bagazimbamu obusenge mwebazitereka atali omu naye nebabajjayo kinoomu kyokka bebabbako sente beerya nkuta , kale mubbe naye mubalekere eddembe bekolere naye nabulikalimu ne mukookya kemutatutte Mukama ajja kubakuba ebbalayi mulyevuma ekyabaleeta eBuganda

    Ani ali emabega w‘ettemu

    Okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde, kigambibwa nti abantu abasoba mu 40 be baakatemulwa mu ngeri etategeerekeka, ng’abasinga ku bano basuubuzi b’omu Kampala, ekitadde ennyo abantu ku bunkenke era nga beemulugunya nti ensonga eno poliisi egikutte mu ngeri yaakubalaata.

    Ani mutemu?

    Abantu abamu bagamba nti ebibinja by’ebyokwerinda ebizze bisaanyizibwawo ng’ekya Rapid Response Unit (RRU) n’abantu abagobwa mu magye ne poliisi be bali emabega w’ebikolwa bino olwensonga nti abamu tebaggyibwako mmundu ate nga baba tebakyalina mirimu gye bakola.

    Wabula omwogezi wa poliisi, Asuman Mugyenyi agamba nti, “Ebyo byabulimba, RRU bwe yaliiwo abantu baali tebatemulwa? Abantu kye balina okumanya nti kati amakubo mangi abatemula mwe basobola okuggya emmundu. Bafuna emmundu okuva mu Rwanda, Congo, Sudan ey’amaserengeta, Somalia ne mu Karamoja kubanga ebitundu ebyo mubaddemu entalo,” Mugyenyi bwe yagambye.

    Frank Baine, omwogezi w’amakomera yategeezezza Eddoboozi nti obwavu obuli mu ggwanga bwe businze okuleetawo okutemulwa kw’abantu. Yagambye nti akaseera kano abantu bangi tebalina mirimu era ng’engeri yonna gye balina okufunamu ensimbi kwe kubba n’okutta okusobola okubeezaawo obulamu.

    Ettemu likyase nnyo omwaka guno, nga gye buvuddeko abasiraamu abawerako bazze batemulwa nga ne poliisi tennabaako kirambulukufu kye yaazudde ku batemu.

    Kino kyaleeseewo endowooza mu basiraamu abamu nti wandibaawo ababalinako ekkonda sinakindi babalemesa okusaasaanya eddiini yaabwe kyokka tekyakoma ku bo bokka, n’abantu ab’eddiini endala ne batandika okuttibwa.

    Waliwo abasonze olunwe mu bantu abaali baasibibwa mu makomera ku misango gy’obutemu ate ne bayimbulwa.

    Wabula Baine akiwakanya bw’annyonnyola nti, “Ekyo sisobola kukkiriziganya nakyo kubanga ne poliisi tennafulumya alipoota ku kunoonyereza kw’obutemu obukolebwa mu Kampala. Singa poliisi evaayo n’eraga ng’abantu abateebwa bwe beenyigira mu butemu buno, awo nja kukikkiriza era tunoonye ekyokukola,” Baine bwe yategeezezza.

    Poliisi ky’egamba

    Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asuman Mugyenyi, balina webatuuse mu kunoonyereza ku butemu buno era nga bakizudde nti obutemu obusinga buzze oluvannyuma lw’abasuubuzi okufuna obutakkaanya ne bannaabwe mu ngeri y’okufunamu ensimbi.

    “Tukutte emmundu eziwerako abatemu bano ze bakozesa okutemula n’okubbako abasuubuzi ensimbi zaabwe era okunoonyereza bwe kunaggwa byonna tujja kubitegeeza bannansi.”

    Yagasseeko nti okunoonyereza ku nsonga eno si kwangu kubanga abakozi b’ebikolobero bano tebabeera mu kifo kimu era akaseera kano bali mu kutalaaga mu bitundu ebyesudde Kampala okulemesa enteekateeka zaabwe.

    Obutemu bukyase nnyo mu Kampala n’ebitundu ebigyetoolodde omuli; Kawempe, Masajja, Nateete, oluguudo lw’e Gayaza n’e Jinja, Nakawa, Kyanja n’ebitundu ebirala.

    Abakulembeze boogedde

    Ameria Kyambadde, minisita w’ebyobusuubuzi ategeezezza nti, “Nina ennyiike ku mutima olwengeri abasuubuzi gye battibwamu naye sijja kwogera biwanvu kubanga ensonga ezo zivunaanyizibwa ku minisitule y’omunda mu ggwanga.”

    Ibrahim Ssemujju Nganda, omubaka wa Kyaddondo East agamba nti, “Nneewuunya okulaba nga wayise akaseera katono ng’ebikolwa by’okuttisa abantu obutayimbwa bikendedde, kati waleeteddwawo obutemu obupya nga bakozesa mmundu. Gavumenti erina okuvaayo okutubuulira ebiri emabega w’ettemu lino,” Ssemuju bwe yagambye n’agattako obwavu obweyongedde olwebbula ly’emirimu nti nabwo tebusaana kubuusibwa maaso.

    Wabula James Kakooza, omubaka wa Kabula mu palamenti ensonga eno agitunuulizza bantu abalemeddwa okubuulira poliisi amawulire amatuufu agakwata ku beenyigira mu bikolwa by’obutemu.

    “Ekikwekweto ekya Wembley ekyali kikulirwa Afande Kayanja okulwanyisa obufere kyasaanyaawo abaali bakola omulimu guno olwomuntu wa wansi okumuwanga amawulire agakwata ku nfo z’abazigu bano. Ne ku nsonga eno, abantu bandifubye nnyo okulaba nga bakwatagana ne poliisi okulaba nga balwanyisa ettemu eriri mu kibuga Kampala,” Kakooza bwe yagambye.

    Abantu abazze batemulwa

    – 10, July 2012. Peter Badokwaya omuvuzi wa sipensulo e Mengo yabuziibwawo n’attibwa mu bukambwe era omulabo gwe ne guzuulwa mu kibira.

    – 3,July,2012. William Lubega Musisi yakubbwa amasasi ng’ayigira ku geeti ye na menyeka amagulu nakati akyali mu Mulago.

    – 25,June,2012. Maj. Charles Ddamulira akola mu kitongole kya ISO yaalumbibwa mu maka ge n’abibbwako pasitoola ye wabula teyatusiibwako bulabe.

    – 22,June,2012. Haji Kiweewa Kigejjogejjo, nnyini wa Prime Shoppers e Kyanja yakubwa amasasi agaamutta.

    – Ku lunnaku lwe lumu omuwala Gimuminyiri Anatrida yakubwa amasasi e Ddundu- Nakasajja oluvannyuma lw’abajambula okutayiza takisi mweyali.

    – 23,May,2012. Sulaiman Wabbi naye yagwa ku kyokya kye kimu.

    – Mu Gatonnya, Noah Wamala owe Mutungo naye yattibwa

    – 5,July,2011. Omubazi w’ensimbi mu kitongole ky’ebyokulonda Ben Mawanda yatemulwa mu maka ge e Kyengera.

    – Ntenvu,2011. Munnamawulire omunyarwanda, Charles Ngabire yattibwa wakati mu kibuga.

    Abantu bye bogera

    Richard Semujju. Abantu baavu tebalina mirimu kibi nnyo nti basazzewo kutta banabwe okusoboola okwebezawo.

    John Mulemi. Abantu tebakyalina mutima gwagaliza bannabwe alina gwebagala okusanyawo ate ne pOliisi ensonga zino ezibalatiddemu nnyo.

    Recheal Nansikombi. Poliisi yeevako obutemu olw’okulemwa okufulumya alipota ku butemu obubadde bugya nga bukolebwa.

    Margaret Kambugu. Abantu twewala okutambula ekiro ate poliisi nayo esitukiremu okwongera okutondawo obukuumi obwamanyi mu bitundu byaffe.

    SOLOMON KAWEESA NE IVANIE MUKASA MALE

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.