Awasizza munyankole

  • This topic has 15 voices and 39 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 40 total)
  • Author
    Posts
  • #19174
    MubiruMubiru
    Participant

    Mutabani wa Polof. Bukenya awasizza

    Bya Angel Lubowa

    MUTABANI wa Polof. Gilbert Bukenya akubye omwana w’Abanyankole empeta n’ebyenda ne bimwetokota ku mukolo ogwetabiddwako ne Pulezidenti Museveni.

    Pulezidenti yagambye nti mu 1986 Uganda yalimu abantu obukadde 13 nti kati bawera obukadde 30 olw’emirembe egibasobozesezza okuzaala ”.

    Bino Museveni yabyogeredde ku Sheraton Hotel ku Lwomukaga ewabadde okugabula oluvannyuma lwa Dr. Roy Bukenya Kamoga okugattibwa ne munne Dr. Doreen Kataaha.

    Museveni abagole yaba-wadde ente enzungu ssatu.

    Published on: Sunday, 26th October, 2008

    #20103
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    How does the saying go? Birds of the same feathers, fly together.

    Abatulabira. He won’t be missed really.

    #20105
    MulongoMulongo
    Participant

    Kasita tajja kubabalabira yekka. Noono omusubuzi naggagga wuuno afunye wo akadde akokwegaata mu saawa eno Buganda mweeri, kyokka nga taswaala nakweyita Muganda. Kubanga bano abasinga mwogerako ba bweerere, si Baganda. Amannya balina gakuyita buyisi nga Abaganda, banguyirwe obulamu mu Buganda. Kirungi kkwo okuba, bakoze bulungi, buli omu awase ewaabwe kijja kuyamba ebintu gyebigendera.

    Lwanga alaze ab’e Ntungamo amaanyi
    1224849763head_gear.jpg
    Lwanga ng’aloola n’owuwe Nyaturiza.

    BYA KIGONGO SSEBALAMU
    OMUSUUBUZI w’omu Kampala yalaze amaanyi e Ntungamo nga bagenze okumwanjula.

    Charles Lwanga alina kkampuni ya Charz Car Dealers ereeta mmotoka okuva e Dubai era nga ye nnannyini dduuka lya Elegant Designs.

    Yayanjuddwa kabiite we Ruth Nyaturiza omuyizi mu Makerere yunivasite.
    Omukolo guno gwabaddewo wiiki ewedde mu maka ng’omugenzi Turyamugenyi e Kataraka mu disitulikiti y’e Ntungamo.

    Mu birabo Lwanga bye yatutte mwabaddemu emmotoka y’ekika kya Corolla 101 gye yaguze obukadde 12. Yatutte n’ente ezisoba mu 10. Mu birala mwabaddemu jjeneereta gye yaguze 1,000,000/-, kabada eyamazeewo obukadde obubiri, entebe za mitwalo 50, amasuuti mukaaga, amakanzu 10, ebyambalo by’Ekinyankole (omushana) 20 n’ebirala.

    Yawerekeddwaako abasuubuzi b’omu Kampala bangi omwabadde ne nnannyini Select Garments, Robert Ahimbisibwe.
    bukedde
    Published on: Friday, 24th October, 2008

    #20117
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Emeeme ghatare kyesiima kyegura

    #20144
    JonaJona
    Participant

    Omuntu bwaba nga omu kubazadde be ssi muganda, nomushubira okukola ki? Yeyita muganda, naye nga ali mu olusuubo olumutwaala muliri eggwanga eddala. Obwo bwebuzibu ba musaayi-mutabule bwebasanga.

    Abakyala abaganda, mulekere awo okuzaala mubannamawanga oba mu beeru. Mwe muleetawo embeera eno. Awo muba mutunda Federal State ya Buganda. Kati abo abaana ba musaayi-mutabule banalumirirwa batya Buganda? Yye obabalira mu nsi ki? Buganda oba eri endala…? Nyina muganda ate kitaawe wa musaayi gwa 3+3+1. Omwana yeyita muganda, n’amalinya alina maganda. Onomunenya okuwagira ekishanja ekye 10? Ye awulira mumusaayi gwe ng’awagira kitaawe, munsi ya nyina.

    Kati obuzibu gwe omuzadde omuganda bwolina bubuno: Singa Federal State of Buganda yerwanako neyejjako “occupation” jerimu kati, oyo omwana gwolina nga kitaawe wa musaayi gwa (2x+1) omusuubira kulwanira kuludda lwaani? Omusuubira kulwanira ku ludda lwa Buganda, oba kuludda lwa Rwanda?

    Banaffe mulowooze ku Federal State ya Buganda wamu n’abaana bammwe, nga temunnewangulira mufumbi wa tooke, oba nga temunafuna abajja kumudaala. Emisaayi egimu tegiri compatible.

    #20156
    SengoobaSengooba
    Participant

    Mulongo wrote:
    [quote

    Mu birabo Lwanga bye yatutte mwabaddemu emmotoka y’ekika kya Corolla 101 gye yaguze obukadde 12. Yatutte n’ente ezisoba mu 10. Mu birala mwabaddemu jjeneereta gye yaguze 1,000,000/-, kabada eyamazeewo obukadde obubiri, entebe za mitwalo 50, amasuuti mukaaga, amakanzu 10, ebyambalo by’Ekinyankole (omushana) 20 n’ebirala.

    Yawerekeddwaako abasuubuzi b’omu Kampala bangi omwabadde ne nnannyini Select Garments, Robert Ahimbisibwe.
    bukedde
    Published on: Friday, 24th October, 2008[/quote]

    Bwonononyereza ojja kusanga nga Lwanga oyo alina mwanyinafe Omuganda gweyazaalamu edda abaana gwalese awo. Ate takoma awo, nga nabaana yabamuzaalamu nga ewaabwe tatutteyo yadde omunwe gwettoke ne kilo yenyama. Nga Abaganda bebamusomesa, bebamwambaza, bebamujanjaba, nga bebalimuvumula nebiteega. Agenda nakuleeta eno abaana baabwe era Abaganda basasule. Kyokka ebyo ebirabo byonna, teyandibiwadde bazadde Baganda, singa abadde awasa omukazi muganda. Eno ggwangamujje avuga, batukowoola basajja ba Kabaka mukungane. Bano ba kitawe bali mu kulya nkwe.

    #20224
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abange emboozi ngiguddemu nga sisoose kugiraba bulungi akakwaate Lwanga kalina kali kunnyina yekka eee kati wano tunyumyaaki azeeyo kubutaka singa nelinnya azaayo liri elyewaabwe ffe wano tetulina mutawaana akoze bulungi alengedde omusana, naye Buganda yo esomesezza era nejjanjaba naye Mukama yeyekka agenda okutusasula byetukoledde abalala kuba buli kibaawo teri aligamba nti bantu balungi banjagala ngoowabwe bu;i omu agamba nti bwaaba omulabe alina kansulirayo abo Abaganda funtura.

    #20227
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Tosobola kutambulako na munnoowo nga teri akusongamu mimwa, era teri kyongera stress nga bulikiseera kuba nga mulina kwewozaako oba nga buli omu alina kuba ngalwanirira oba okuvumagana side emusososla era mumaliriza mwawukanye nga kati olutalo mulurekedde baana bo basalewo gyebalowooza gyebasinga okwagalibwa
    teri kisinga kabi nga kintu kyakusulibwaamu nga tewesalideewo oli aleme nakulimba nti mukwaano gwokka gwegubaawo wabaawo nobutaloworeza munno atesimidde kuyingira ntalo zagenda kulwaana obulamu bwe bwonna.

    #20241
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Nga oleeta abagenyi abempisa embi jjukira, akaalo si kako wekka, akaalo kaliko nabalala banyiniko.

    #20248
    MubiruMubiru
    Participant

    Kyewunyisa, omuganda okuwasa omunyankole ng’abaganda babulidde wa? Oba olyawo byanfuna bino…

    #20272
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abaana baleke bagende bakube ku kaawa kazzi banywe nekubushera , bayige nokukola long spit you know like long jump ate basitame nako wano babadde bekweeka okusitama era bagenda ku ndaba kuki bayige nokugaaya ku bikoola bya taba oba bamubatika nakaliro simanyi naye ,ennamusa wenetukira ku nyooge nga mu maka goono Omuganda asazeewo okugendera ddala eri, ngo buwangwa bukomyeewo nga batandise okusimba effumu mumulyango .

    Bayinza okutandika okulisimba nga geenze okukola and of coarse teri ajja kumugamba kuba kiri normal eri naye lwaliyingira neyekanga abegadangira mu sowani ye lwalibisiba okudda ewa boobwe .

    Ekiraala ebintu bwebinakyuuka waliwo okusalawo bwamuwasa namuleka eBuganda nga nga bagala okwemala ekiruyi ababonyabonyezebwa okuttibwa abaabwe okusibwa obwemage abagyidwaako hope nga ye number esinga obungi awo wajja kubaawo omulimu omuntu wo ngolina kumutambulira kulujegere nakumuwolereza nti ye mubakola ebyambyoone si waayo kale ogwo omulimu si mwaangu ,kuba nawulirako ku mabira omusajja gwebaali batandise okukuba nga bagamba nti babebatunda mabira nebintu byaffe okubimalawo yamala kwewozaako nti yali Musoga naluyitako.

    #20295
    KulabakoKulabako
    Participant

    SSEMUJJU NGANDA: Let’s not marry from corrupt families Print E-mail
    Ssemujju Ibrahim Nganda
    Written by Ssemujju Ibrahim Nganda
    Wednesday, 05 November 2008 21:41

    Villagers have their own practical way of punishing wrong-doers. They collectively boycott their social gatherings, like weddings and funerals. This could be a punishment for something as trifle as dodging communal work. It may seem a simple punishment but I once saw a rich man wailing in Masaka town when the community helped him bury his wife but refused his food. Societal rejection brings quick results.

    Recommending village solutions to well educated urban people is the reason I have been made to forcefully tour the Police’s dilapidated CID headquarters four times in 12 days (October 17th, 22nd, 28th and 29th). My lawyer, Ssalongo Erias Lukwago and I have successfully complained; so I will not make a fifth trip on November 6 as earlier decreed by Charles Kataratambi who heads CID’s Media Offences Department.

    Inviting Baganda to begin administering collective punishments to those who are humiliating their Kabaka and belittling their culture, is what those in power have construed to mean inciting violence.
    I have never told any Muganda to pick a gun. I have never asked any Muganda to pick a panga. I have never urged any Muganda to pick any kind of weapon.

    All I have asked of them is, if a minister or the President for that matter, is belittling, insulting or undermining your culture and identity, stop inviting him or her to your funerals or weddings. They may even boycott his gatherings. The Police have a problem with this suggestion. On this one I am guilty as charged and will welcome any sentence because am not about to stop.

    If you are Kahinda Otafiire and your mouth cannot shut even on obvious emotional and sentimental issues relating to our culture, you better not come to our social gatherings. If you humiliate my father, you don’t come to my residence for drinking water except if you have come for forgiveness!

    I have qualified all my remarks on radio. If someone does this, this is how you should respond. But since the guilty ones run before they are chased, some people in leadership must be plotting unpleasant things against Buganda.
    My call to Baganda has been consistent; anybody who insults the Kabaka must be declared persona non grata.

    If you are my guest, you have no right to abuse my courtesy by entering my or my children’s bedroom except on a special invitation. If I have slaughtered a chicken for you during past visits, you don’t go running to my garden chasing my birds.
    And that is what Ugandans should be doing.
    We have given too much liberty to our leaders to abuse the public trust. If President Museveni goes around distributing money, vehicles and land, we must call him to order. Where is he getting the money from?

    By allowing the President turn the national treasury into a personal wallet, it means health facilities will continue to decline, road potholes will multiply, and schools will lack basic facilities.
    I am surprised that bishops accept President Museveni’s vehicle handouts, even waving the keys with a broad smile. If the national budget doesn’t provide for such gifts, where is the money coming from? Are the religious leaders supposed to condemn corruption only when they are not beneficiaries?

    The most terrible thing is that we are allowing other leaders to learn and embrace this corrupt culture.
    Doesn’t it annoy you to learn that the Mayor of Kampala is changing cars, and very expensive ones at that, like underwear these days? What business is he doing? Please, let us not sell our country this cheaply. When you become a head of state, it doesn’t mean that the country has become your garden.

    Imagine a friend you requested to be a storekeeper at your wedding only to find that he decided to appropriate everything you entrusted him with! That is what our leaders are doing and we should blame ourselves for allowing this to happen.

    My solution to corruption and all forms of violations is total rejection. Let us reject (tuboole) such people. Don’t invite them to our social gatherings. If they come by themselves, don’t allow them to speak. If they insist, let the audience withdraw. We must shame them, we must shun them.
    Let us go even further and refuse to marry their children and close relatives. Families of corrupt fellows must become endangered species. We must make them feel insecure even when they drive vehicles bought from stolen public funds.
    Bwana Kataratambi, you can now send my summons to the e-mail below:
    ssemujju@observer.ug

    #20299
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Wonderful article. Way to go Mr. Ssemujju. That’s exactly what we need to do. Alienate them, shun them, shut them out. Afterall they’ve been doing it to us since they came in power. Payback time.

    #20306
    MugerekaMugereka
    Participant

    Nze abo nabakowa dda, abasajja nabakazi omunyago gwa ankole ne Rwanda. Ate bagala okwekukutiriza eno ewafe. HA kale, kubanga bubuno buja Obuganda bugenda kuterera, mumanyanga ekyokukola mangu. Kubanga omuntu okubeera ku kilombe kya Abaganda, nalondawo okuwasa abalabe baabwe, eyo statement nkulu nyo. Tewali aganza musota guyingidde mu nju ye, okujako nga naye musota. Mulongo akntu ako wakogera mu Luganda lutufu ddala, Nti bwoba tolye tonia mu kibya. Kale babalaba.

    #20486
    KasibanteKasibante
    Participant

    Abasajja boogedde ekibaagaza abakazi Abanyankole
    1226923199lift.jpg

    ‘W’osabira ebintu waakuweera’

    BW’OBA onoonya mukazi ategeera omukwano, Omunyankole tomubuusa maaso.

    Bwatyo J.K eyeewaanye nga bw’atabadde mu bawala abawerako bwe yagambye.

    Yawagiddwa omuvubuka omu Omunyankole eyategeezezza nti kino kiva ku kubeera nti mu buwangwa bw’Abanyankole, omukazi ava buto nga bamutendeka mu by’omukwano.

    Omukyala Omunyankole nga yakuzibwa mu buwangwa, ne bw’aba mu nnimiro omwami ‘ekitambo’ ky’okusinda omukwano ne kimutembera ku ttale, ente azirekawo n’akwata enkoni ye (omuggo) n’alumba omukyala mu nnimrio ne bakikolerako eyo.

    Ky’ova olaba ng’abasajja bangi bafiira ku bawala Abanyankole mbu kubanga bo tebalina ‘nedda’ ng’omwagalwa waabwe abasabye akaboozi.

    Bakimanyi nti obwo bwe bumu ku buvunaanyizibwa bw’omukyala, kale bw’atabutuukiriza, abeera asindise bba mu bwenzi!

    Omukyala oba omuwala Omunyankole omutendeke obulungi buli kiseera abeera yeetegese.

    Alina okuyita n’ekibya bbo kye bayita ‘olwabya’. Muno mwe bateeka obuwoowo bwe beenogera ku ttale ne babwanika ne buwotoka. Bw’alaba bba afunye ekimubanja, ng’addako wabbali nga yeeyoteza obuwoowo buno.

    Ateeka amanda ku lwabya luno n’assaamu obuwoowo bwe n’asitama kuli ng’ali bukunya nga bwe yazaalibwa olwo akawoowo ne kafuumuuka nga kagenda mu mbugo.

    Bba agenda okumutuukako, nga alinga emmere enkoomere obulungi ate ng’ewunya n’akawoowo.

    Batendekebwa okuyita n’akaliba ke baalirira wansi awagenda okuba omuzannyo olwo ne batandika okwerinza’, ekitegeeza okunywegeragana. Kino kikolebwa ku bali abasindira omukwano ku ttale ne mu nnimiro.

    Omulimu omunene mu buwangwa bw’Abanyankole nga bali mu kaboozi, guli ku mukazi.
    Sitayiro esinga okubanyumira bagiyita ‘akakoligo’.

    Omukazi asitama ku kaliba n’akwata ku mugongo olwo omusajja n’atandika okwekejja ng’akuba ak’embarara, amazzi ne gakulukutira ku kaliba kali.

    J.K yatutegeezezza nti ky’atayinza kwerabira ku mwanamuwala Omunyankole, y’engeri gye yaleekaanamu ng’atuuka ku ntikko.

    Okuleekaana kuno bakuyita okushashamwa era kikolebwa okulaga nti omukazi anyumiddwa. Bw’atakikola, omanya tolina w’omutuuse!

    Nabo balina enkumbi (bagiyita olukumbi) gye bakozesa okulongoosa omusajja era bakikola bwe bamusiima emirimu.
    bukedde
    Published on: Monday, 17th November, 2008

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 40 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.