Awasizza munyankole

This topic contains 39 replies, has 15 voices, and was last updated by  Mubiru 8 years, 11 months ago.

Viewing 10 posts - 31 through 40 (of 40 total)
  • Author
    Posts
  • #25625

    Mulongo
    Participant

    Naye sirowooza nti Omulangira ono waliwo amukase okuwasa omukazi ono. Era sirowooza nti mu Buganda waliwo atalaba kigenda mu maaso. Okuba nga Abaganda bafa nga bwebafa – ekitaabangawo, nga abaana basaddaakibwa, nga obutemu obwa buli kika bugenda mu maaso, nga ettaka balibba nga nobwa Kabaka bawera kubujjawo nga bebabussawo, nagenda awasa mu enemy camp, sirowooza nti waliwo engeri yonna gyoyinza okukiwolereza. Ffenna Abaganda twandikyagadde, naye kubeera kwelimba. Mukwano gwaffe yasaze eddiiro. Era amazima gali nti obuvunanyizibwa tabusobodde. Nze sinenya, buli muntu alina obutonde obubwe. Naye ndaba yandikoze nga Taata Omuto wa Queen kati ali ku Namulondo ya Bungereza bweyakola, yye yata ekyo bwakabaka nadda ku bulangira. Taata wa Queen aliko kati namuddira mu bigere. Kabaka oyo noluvanyuma nokuwumuzibwa nawummuzibwa. Engeri Omulangira ono owaffe gyaali nga ava mu Ssekabaka Muteesa I, nze gwendabanga gwatalinako mukwano guli awo, ekitiibwa akite. Ekyo kiroowozo kyange, kulwa abaana Abaganda abasaddakibwa nabantu bonna abattibwa mu buli ngeri omulabe gyasobola. Ajja kubanga ayatudde okulemwa nobunafu bwe, kisinga okuwubya abaana abato nabavubuka Abaganda abayinza okulowooza nti Buganda eyinza okufuna ebirungi okuva mu Banyankole na Batuusi.

    Edward VIII of the United Kingdom

    Edward VIII (Edward Albert Christian George Andrew Patrick David; later The Duke of Windsor; 23 June 1894 – 28 May 1972) was King of the United Kingdom and the British dominions, and Emperor of India from 20 January 1936 until his abdication on 11 December 1936.

    Before his accession to the throne, Edward held successively the titles of Prince Edward of York, Prince Edward of Cornwall and York, Duke of Cornwall and Rothesay, and Prince of Wales. As a young man, he served in World War I, undertook several foreign tours on behalf of his father, George V, and was associated with a succession of older, married women.

    Only months into his reign, Edward caused a constitutional crisis by proposing marriage to the American divorcée Wallis Simpson. The prime ministers of the United Kingdom and the Dominions opposed the marriage, arguing that the people would never accept her as queen. Edward knew that the government led by British Prime Minister Stanley Baldwin would resign if the marriage went ahead, which could have dragged the King into a general election and ruined irreparably his status as a politically neutral constitutional monarch. Rather than give up Mrs. Simpson, Edward chose to abdicate. He was succeeded by his younger brother, George VI. With a reign of 325 days, Edward is one of the shortest-reigning monarchs in British and Commonwealth history, and was never crowned. He was the last British monarch to serve his entire reign as the Emperor of India.

    After his abdication, he reverted to the style of a son of the Sovereign, The Prince Edward, and was created Duke of Windsor on 8 March 1937. During World War II, he was at first stationed with the British Military Mission to France, but after private accusations that he held pro-Nazi sympathies, was moved to The Bahamas as Governor and Commander-in-Chief. After the war, he was never given another official appointment, and spent the remainder of his life in retirement.

    #25626

    Balyokwabwe
    Participant

    Kasim Nakibinge ekikolwa kyakoze kitujukizako katono Omumbejja
    Diana ebyamutukako bweyasalawo okusala ediiro agende ne Dodi .
    Mpozi nembaga endala eyali eyembaligga yeya Kawenkene OBOTE bweyali
    agenda okuwasa Miria Kalule .
    Omugenzi Kalule yawakanyanyo muwalawe okufimbirwa Obote nga talaba kilungi
    kiyinza kuva mubufumbo bwa muwalawe ne Obote eri OBUGANDA. Yakiyita KIVVE !
    Naye omuwala yasalawo nagenda ne Obote naye kalungiki akava mubufumbo bwa Obote
    ne Miria era BUGANDA teyadda mukukuba biwoobe ?
    Obote nga amazze okuwaasa Miria yagula emotooka mpya eya Mercedes nagitonera Kalule wadde Kalule yavuganga kagali emotooka ya Obote yagigoba yabagamba
    bagizeyo ewa Obote….
    Nolwekyo Banange Omulangira Nakibinge simanyi oba tewali yamuwa kumagezi naye Obufumbo bwe bujja kufanana nga obwa Miria no Obote. BUGANDA telina kyejja kubufunamu.
    Awangaale Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi……..

    #25627

    Efulansi
    Participant

    Bwaatyo nomulangira Nakibinge bwagenze. Tugumire kukyokubanga Abasiraamu bakirizibwa okuwasa embaga nya, katusubire abalala banabera Baganda. Mbu embaga yabadde ya bagagga, ekyokyokka kilabika bulala mu kiseera Abaganda bangi nga bafa enjala ne ndwadde, okubeera nga kyogerebwa ku lulyo Olulangira. Ate bwosoma ku babadde mu mbaga nolaba nga ddala kino amaka ga Kakungulu bakigudde. Eri Abaganda tekyalabise bulungi nakamu, nga muli nabalabe abagala okusanyawo Obuganda muli ku bubaga musanyuka? Bino ba jjajja ssibyebayita ebya mpuna?

    #25628

    Efulansi
    Participant

    Kabaka acamudde embaga ya Nakibinge
    Bya Joseph Mutebi
    Friday, 11 December 2009
    abagole.jpg
    Nnabagereka, Kabaka n’abagole.

    EMBAGA y’Omulangira Kassim Nakibinge yasitudde Kabaka bwe yasiimye ne yeetaba ku mbaga eno eyabaddeko ebikonge. Kabaka yabadde yaakava e Bungereze gy’amaze akabanga era olwavudde ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe, yagenze butereevu ku mbaga e Kibuli gye yatuuse ku ssaawa 5:30 ez’ekiro.
    Yazze anekedde mu ssuuti eya kkuliimu era olwayingidde ekidaala, enduulu n’evuga olwo omukolo ogwabadde gunaatera okuggwa ate ne guddamu buto n’ekitiibwa kya Buganda.
    Abamu ku beetabye ku mbaga, baawuliddwa nga boogera nti Omutanda okusiima okugyetabako kabonero ka mukisa mu bufumbo bwa Nakibinge.

    Kabaka yayaniriziddwa abagole abaavudde ku nnyonjo nga basanyufu ne bamukulembera n’atuula okuliraana Nnaabagereka eyabadde yatuuse edda ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi. Kabaka yavudde Bungereza ku bugenyi.

    Abagagga b’omu Kampala abaabadde ku mbaga beeyaze mu maaso ga Kabaka ng’akabonero akalaga obuwulize. Kabaka yayagalizza abagole obufumbo obw’essanyu n’emirembe. Nakibinge yawasizza Hasifa Muliisa.

    Omukolo guno gwabadde gwa bantu balondemu bokka era okusinga kwabaddeko bagagga b’omu Kampala, bannabyabufuzi, ba minisita aba gavumenti eyawakati n’e Mmengo, bannaddiini, era Abalangira n’Abambejja kumpi bonna baaweddeyo.

    Bulayimu Kibirige amanyiddwa nga BMK, Meddie Ssebaggala owa Ssebaggala & Sons, Haji Musa Katongole owa UTODA n’abagagga abalala be baakoze emirimu gy’okutuuza abagenyi.

    Mu bikonge ebyetabye ku mbaga, James Mulwana, Gordon Wavamunno, Amos Nzei, omuduumizi wa poliisi Maj. Gen. Kale Kayihura, Baminisita Syda Bbumba, Haji Ali Kirunda Kivejinja, Eriya kategaya, Katikkiro J.B, Walusimbi, Isaac Musumba, Gen Moses Ali, Ameliya Kyambadde n’abalala.

    Kwetabaddwako abayimbi okuli Annet Nandujja, Haruna Mubiru, Juliana Kanyomozi, Blue 3 n’abalala. Byo eby’okunywa n’okulya abantu abaabadde ku mukolo byabalemeddewo.

    Abagole baasoose kuwoowebwa mu Muzikiti e Kibuli oluvannyuma kwe kusembeza abagenyi baabwe mu bimuli by’amaka ga Nakibinge e Kibuli. Baawooweddwa Sheikh Obed Kamulegeya. Abazadde b’omuwala olw’okuba si Basiraamu baawadde Sheikh Suleman Kasule Ndirangwa obuyinza okugaba muwala weebwe eri Omulangira.

    #25635

    Balyokwabwe
    Participant

    Wadde Ssabasajja Kabaka yetabye kumukolo guno naye BUGANDA etamburila kunono
    nampisa za Baganda.
    Bwensoma ebyabadde kumbaga mpulira banagagga Mu Kampala bebajibadeko naye gwe nange tukimanyi bulungi nti BUGANDA tebangako mubwavu bwelimu kasoka ebawo .
    Abaganda abasinga obungi bavu nyonyo…..kati bwebatugamba nti abagaga bebagibadeko kitegezaki ?
    Abaganda tetwandifudeyo senga eyawasiza simulangira . Senga Nakibinge yabade
    mukoopi mu BUGANDA tetwandifudeyo . Naye Lwaki bakayikura ,etc abali mu plani
    yokujja BUGANDA ku map bebasinze kumbaga ? Yelwaki awasa mukazi Munyarwanda omutuusi abali emabega wa zi landbill ne Regional tier mu Kampeyini wokujjawo
    BUGANDA ? BUGANDA temulimu bakyala basobola kufumbira Nakibenge mere ? Lwaki agenda Rwanda ? Lwaki ABAGANDA tetuyiga ?
    Abantu bangi bagamba M7 yali emabega ye yategese embaga ! Plans zona zava Rwakitura !
    BUGANDA enegoba etya ABANYARWANDA nga abaana be NGOMA yabuganda bebawasa ?

    #25678

    Machati
    Participant

    N’Omulangira omulala wuuno eyabadde agenda okuwasa omunyankole.

    Abazadde bagaanyi embaga ya Straka
    Bya Robert Mutebi
    Wednesday, 16 December 2009
    apurple.jpg
    Ceaserman ne Straka
    ABAZADDE ba bba wa Straka Mwezi Beibe bavumiridde Straka ne mutabani waabwe Ceaserman Kayemba ku ngeri gye baategeseemu embaga yaabwe ne bagamba nti byabadde bya kiyaaye.

    Baagambye nti tebaagaliza Kayemba kuwasa Straka kuba enneeyisa ya Straka ya kiyaaye.

    Nnyina wa Kayemba, Omuzaana Jane Musanje owe Nabuti-Mukono Bukedde yamusanze mu dduuka lye ery’engoye mu Kiyembe n’ategeeza nga eby’embaga ya mutabani we ne Straka bwe byamuyitirirako.

    Yagambye nti ng’abazadde tebaategeezebwa ku mbaga eno era tebaakola mukolo gwonna gukolebwa waka ng’omulenzi agenda okuwasa omuli okutegeka akasiki awaka, kyokka tekaakolebwa wadde okuyita abooluganda n’abatuuze okusibirira Kayemba entanda ng’agenda okuwasa.

    “Abaana baasalawo beekolere embaga yaabwe era ndi munyiivu nnyo.” Omulangira Musanje yagambye nti Kayemba teyamubuulira kintu kyonna ku mbaga.  Okuva lw’asussa emyaka 18 waddembe okwesalirawo. Osanga bazadde ba Straka be bamanyi eby’embaga eno.

    Straka ne Kayemba baategeka embaga e Namboole nga December 6, kyokka embaga n’esasika oluvannyuma lw’abagole obutalabikako gattako abantu obutagijjumbira kubanga yali yaaku-sasulira okuyingira. Ku lunaku lw’embaga, Straka yalumbibwa ekimbe n’aweebwa ekitanda.

    Maama wa Kayemba yagambye nti mutabani waabwe yaba-weebudde nnyo kubanga n’abantu bennyini Kayemba be yakula nabo ku kyalo wadde mikwano gy’abazadde be bonna embaga baagitegeeredde mu Bukedde.

    “Ffe tetwamanya wadde ku lukiiko lw’embaga lwonna. Kati eyo mbaga ki? Tetuyinza kuwagira byakiyaaye”, bwe yagambye ng’ayogeza busungu.

    Baakola nabo mu dduuka baamusaasidde mu kiseera we yabadde ayogerera n’aba Bukedde n’addamu: Mundeke, mundeke nnazaala ekyetere,kati nange munfudde muzira nga bali be mugamba abaali baagala okukola embaga y’ebyafaayo,kale kati baagikola era abo bemuba munoonya ffe eby’embaga yaabwe tetwabiriimu temutunoonya.

    Wano yatumye omu ku bavubuka abamuyamba ku dduuka ayite banne be yagambye nti be bako baganda ba Kayemba, kyokka bwe bazze nabo baanenyezza Kayemba okuswaza famire.

    “Olowooza ffe eby’embaga twabimanya,bali tebaakola nkiiko wadde okusaba omuntu ssente z’embaga nga bagamba nti ssente ze bandibadde babasaba zaali zaakuva ku ezo ze basoloozezza ku miryango”Omu ku baganda ba Kayemba bwe yategeezezza

    #25688

    Balyokwabwe
    Participant

    Another view from a Non Muganda :-

    Comment on Prince Kassim Nakibinge’s wedding

    Refer to last week’s wedding of Prince Kassim Nakibunge.

    Available history is that most prominent Baganda personalities that have dared these kind of intermarriages have not survived for long.

    This list includes Sserwanga Lwanga, Sir Edward Mutesa and others. I refer to last week’s wedding of Prince Kassim Nakibinge Kakungulu. Prince Nakibinge is an heir to Prince Badru Kakungulu.

    Why I bring this information to into public scrutiny is the importance of this wedding and why restrictions were sanctioned for the attendees of the wedding of such a prominent person, a grandfather of Ugandan Muslims and a landlord of the entire Kibuli hill!

    Nakibinge’s choice of bride and guests that went beyond that of all people he had on a list are not strangers to one or two scandals around the country.

    Let us have a look at some prominent guests with their scandals: Police boss Maj.Gen. Kale Kayihura, is the person who sanctioned the massacre of over 30 people on Kampala streets between September 10th and 12th, 2009.

    Hajji. Musa Katongole of UTODA is alleged to be the principle sponsor of the Kibooko Squad that is known to be terrorising protestors on Kampala streets.

    The stance by the 3rd Deputy Prime Minister and Minister of Internal Affairs, Al Haj. Kirunda Kiveijinja towards the rioter is still fresh in every body’s memories.

    The list goes on to include: Minister Syda Bbumba, Eriya Kategaya, Katikkiro J.B.
    Walusimbi, Isaac Musumba, Gen. Moses Ali and President Museveni’s Principal Private Secretary Amelia Kyambadde.

    In our country we have a group of vicious politicians who are of the view that to remain in power and command respect is by killing other people who are more popular. The only way to get near such people by befriending them. You can’t get access to your opponent unless he/she becomes a friend.

    We have seen unsuspicious or unexplained deaths. In this case, Prince Nakibinge is among the respected Ugandans. He is a Muganda, Muslim, and worst of all he doesn’t chant the movement mantra.

    This hypothesis about a high profile death is true, we need to keep our eyes open and our fingers crossed.

    Moses Okello
    Kampala

    #25690

    Musajjalumbwa
    Participant

    Ebiseera biri byaali birala. Mu kiseera kino omusajja oba omukazi atta omukago naba Westerners abeera alonzeewo oludda kwaali. Mu kiseera kino, omuntu nga oyo mu mazima Obuganda nebizibu byebulimu abeera abwejjeeko. Tewali muntu mukulu atalaba kiriwo. Tumwagaliza atuuke ku byalubiirira eyo gyagenze, kasita biba nga tebikontana na ddembe na mirembe Buganda byenoonya.

    #27402

    Mulongo
    Participant

    “Gano amaka matooro, wano temwogererawo Luganda.” “Muli mu Kyaddondo mu ssaza lya Kabaka we Buganda”

    Basajja ba Kabaka n’aba Omukama bambalaganye
    [attachment]C:fakepathmuganda mutooro.bmp[/attachment]

    Abagole; Mboowa ne Sharon Kajumba nga bamema mu kwanjula okwabadde okwa kaweereege.

    Bya Robert Mutebi

    KYAYITIRIDDE ng’omumizi n’omuwuwuttanyi basisinkanye ku kwanjulwa kwa Juma Mboowa e Namungoona ku Luyinja mu ggombolola ya Lubaga. Juma Mboowa musajja Muganda ddala ayagala ennyo ennono n’obulombololmbo bwe so nga n’omuwala Sharon Kajumba amaka mw’ava Matoro ddala ng’era empisa n’obulombololmbo bw’Abatoro bye bakulembeza.

    Kati nno Mboowa bwe yagenze okwanjulwa mu maka gano Amatoro ne nkulabira ensiitaano.

    Kyatutte essaawa bbiri omukolo gw’okwanjula okudda mu nteeko oluvannyuma lw’abako ne bazadde b’omuwala Kajumba okulemwa okukkaanya ku nsonga z’obuwangwa ttaano enkulu ze baagambye nti ziteekeddwa okugobererwa.

    Ensonga zino kwabaddeko; oluyimba olulina okuyimbibwa mu luggya lw’Abatoro, olulimi olulina okukozesebwa ku mukolo, Satifikeeti erina okuweebwayo mu, ebintu ebirina okutwalibwa n’omwenge ogulina okutwalibwa.

    Ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo lwa Ssande, abako abaavudde e Kazo baabadde batuuse era nga bakulembeddwaamu omwogezi waabwe, Suudi Kaweesa.

    Emikolo gy’okubayingiza awaabadde wategekeddwa omukolo gyawedde bulungi era ne bakkirizibwa okuyingira babeegatteko oluvanyuma lw’okubategeeza nti baabadde bagenyi baabwe.

    Abako okukkirizibwa okutuula, ensonga ettaano zaabadde zirina kumala kugonjoolwa kyokka Kaweesa omwogezi w’abako n’ateesa nti ezisinga obukulu nga oluyimba ne satifikeeti ze ziba zisooka okugonjoolwa.

    Wadde oludda lw’omukyala si Basiraamu, eyakulembedde okusaba yabadde Musiraamu era olwamalirizza, oluyimba ‘Nagutamba’ (luyite ekitiibwa kya Toro) ne luyimbibwa. Bwe lwawedde, omwogezi w’abako n’asaba ab’oludda lw’omuwala batereere bayimbe Ekitiibwa kya Buganda.

    “Ssebo wano ozze Toro, amaka mw’oli Matoro n’omuwala gw’otwala Mutoro….,” Omwogezi ku ludda lw’omuwala bwe yategeezezza abako.

    “Taata ssebo, nze mmanyi nti wano tuli mu Buganda mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Kyaddondo. Kuva ddi nga Namungoona ekiri mu Lubaga kiri Toro taata wange omulungi?”

    Yabadde akyayongera okulambika ensonga, omwogezi w’oludda lw’omuwala obwedda akkakkanye mu ntebe n’asituka n’amubakira, “Ozze okimanyi nti wano w’oli olina kwogera mu Lutooro si Luganda…”

    Kaweesa yasituse mu bukkakkamu n’amugamba nti, “Olw’okuyamba bannaffe abatategeera Lutooro, nzikiriza mbavvuunulire era njogere mu Luganda lwe bategeera obulungi.”

    Bwe batyo, beezoobye okumala eddakiika nga 30 n’omusobyo oluvannyuma Kaweesa kwe kusituka n’ategeeza abako abaabadde bazze okwanjulwa nti tasobola kugenda mu maaso na mukolo nga babagaanyi okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.

    “Bannange okwanjula kulabika kugaanyi, musituke tuddeyo gye tuvudde bwe baneetereeza ne bamanya nti wano Buganda tulidda.” Olwo abako ne basaakaanya n’okukuba engalo kyokka ng’abooludda lw’omuwala beesooza.

    Eddakiika endala ezaasobye mu 90 baazimaze mu ddiiro gye bazze okwezooba.

    Ebyavudde mu kuteesa:
    Bakkiriziganyizza Ekitiibwa kya Buganda kiyimbibwe.
    Bakkaanyizza nti wadde abako baabadde baleese satifikeeti ya Buganda, bagule eya Toro kubanga ab’oludda lw’omuwala gye baabadde baagala.

    Olw’okuba abako Basiraamu, bakkaanyizza sooda y’aba akozesebwa so si mwenge.
    Bakkirizza okwogera mu nnimi zombi.

    Omuko (eyagabye omuwala), Agaba Kajumba yasabye ente Enzungu 20 ne bakkaanya nti ebimu ku bintu biweebweyo mu nsimbi nkalu.
    Oluvannyuma lw’essaawa nga bbiri, okwanjula kwazzeemu n’abagole ne babawoowa, Sharon n’aweebwa erinnya lya Fairuzi.

    Ggwe olowooza mu kwanjula nga kuno, ku bulombolombo bw’eggwanga ly’omusajja n’ery’omukazi buliwa obulina okugobererwa? Weereza SMS. Sooka owandiike ekigambo FAMIRE, ozzeeko endowooza yo oweereze ku 8338 tujja kufulumya endowooza zammwe.

    Published on: Saturday, 15th January, 2011

    #27723

    Machati
    Participant

    http://www.youtube.com/watch?v=XcpfI9aNBTI

    Ba bobie wine bo twabakoowa dda. Naye Nabageraka sitegedde kyagerekera Buganda mu mbaga eno!

Viewing 10 posts - 31 through 40 (of 40 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed