babaka baffe kuggyibwako ddembe ly’okuteeseza awam

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Emboozi Ezenjawulo / General Discussions babaka baffe kuggyibwako ddembe ly’okuteeseza awam

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #16668
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Adwadwalikanye lwa babaka baffe kuggyibwako ddembe ly’okuteeseza awamu

    ABABAKA ba palamenti bwe baabadde bakyenoonyamu emikono 111 egyetaagibwa ku kiwandiiko ekyokuwa Sipiika waabwe Edward Kiwanuka Ssekandi ayite olukiiko olw’amangu luteese ku by’okukwatibwa kw’abakungu b’e Mengo, omukyala alung’amya ababaka b’ekibiina kya Muvumenti yaweerezza obubaka ng’alabula nti ‘mmwe muli jjanzi eritabuuka na nzige’ n’olwekyo ekiwandiiko temukissako mikono.

    Aba Muvumenti ekiragiro ekyo baakijemeedde ekiwandiiko ne bakissako emikono era ebintu byagenze okuggwa ng’ababaka ab’ebibiina byonna abakissizzaako emikono bali 128 so ng’ate n’abalala bangi baasigadde beeswanta. Kuno kulabula kunene eri abakulembeze mu ggwanga anti kirabika amayanzi gatandise okubuuka n’enzige mu palamenti.

    Ababaka bazibuse amaaso ku nsonga z’eggwanga nga kati ne bw’obakubira entoli tebakyazina. Eky’okuyimbula ebibiina byobufuzi byeyambise eddembe lyabyo okwetaba mu byobufuzi kyali kirungi. Naye ate ekibi ekibadde kivudde mu kirungi kye ky’ejjanzi eritabuuka na nzige. Ekyo kibadde kireetedde ababaka okwesalasalamu ne batuuka n’okuteesa ku nsonga z’eggwanga ezibakwatirako awamu kyokka nga besazemu bali ku ndowooza za bibiina byabwe, bawoza ffe tuli jjanzi teribuuka na nzige.

    Jjuuzi abakungu b’e Mmengo, Peter Mayiga, Lubega Sseggona ne Betty Nambooze baakwatibwa nga ebyonziira ne bakasukibwa mu makomera. Kyokka olwaleero oba enkya babaka ba palamenti bennyinni be bajja okukigwako n’olwekyo awo enkola ya ffe tuli mayanzi tetubuuka na nzige wetayambira. Ababaka bayozaayozebwa olw’okwegya mu nkola eyo erowooleza mu bibiina byabwe ne ku nsonga ezetaagisa okulowooleza awamu ku lw’obulungi lw’abantu bonna.

    Kino we kijjidde nga palamenti enetera okutandika okuteesa ku mateeka aga kasaameeme gamba ng’etteeka ly’ettaka erireeseewo n’akatuubagiro wakati wa Mengo ne Kampala. Amateeka ag’engeri eyo ababaka tebasaanye kugateesaako mu mwoyo ogufuna ebiragiro okuva mu bakulembeze b’ebibiina byabwe wabula basaanye okugateesaako mu mwoyo ogwawamu nga banoonyereza ddala ekyo ekinaayamba eggwanga.

    Ssemateeka bwatandika okufumitibwamu ebituli kyetaagisa ebiwuka byonna okusitukiramu okuteesa Ssemateeka wabyo kubanga aliwo ku lwabulungi bwabyo byonna. Oba engeri abakungu b’e Mengo gye bakwatibwamu ne gye baasibwamu ekontana ne Ssemateeka, ekyo kibeera kikwata ku babaka bonna okwerabira enajwukana basitukiremu okukuba ebiraka mu Ssemateeka w’eggwanga nga bamuddaabiriza ate nga tebalinze bakulembeze baabwe kubawa biragiro kubanga ekiddirira kuyinza okuba okudwadwalikana.

    Era wano Dwaddwaddwa Mumansa we nkikinalira okubuuza nti okuggyako okuba n’omutima ogw’effubitizi lwaki ejjanzi teribuuka na nzige so ng’ate byonna biwuka? Lwaki ababaka baffe bakugirwa ne baggyibwako eddembe lyabwe ery’okuteeseza awamu ku nsonga ezinaayamba eggwanga?

    Published on: Wednesday, 6th August, 2008

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.