Ssejjusa yagambye nti okulonda kwabulimba, bulijjo obululu babba bubbe. Dr. Besigye yagamba akalulu tewali asobola kukawangula kujja Museveni mu ntebe. Museveni yennyini yagamba nti akapapula obupapula tekamujja mu ntebe, nti quarter pin eyingira na nyondo nevaamu na nyondo, yatta ensolo ye talina gyagenda nga tannagimalawo, akola kyonna ekisoboka okuwangula…Wabula waliwo Abaganda abamu, nga Katikkiro Mayiga eyakunga Abaganda balonde Bukenya, ne Hon. Nambooze mu kwogera kwe mu Ttabamiruka USA yakunga Abaganda okulonzesa amagezi. Ate ye Muky Betty Kamya yatandika okukunga abalonzi be nga okulonda okwasemba kwakaggwa. Kino kitegeeza ki? Tebamanyi kya bubbi bwa bululu abantu bangi aba bulijjo kyebabadde bamanyi bulijjo? Abali mu parliament ekyo bulijjo tebakimanyi oba bakunga abantu okulonda basobole okukuuma emirimu gyaabwe egyemisaala emisava?