Baganda table manners and table manners elsewhere

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Enfumba y’ Abaganda / Baganda Cuisine Baganda table manners and table manners elsewhere

This topic contains 8 replies, has 7 voices, and was last updated by Efulansi Efulansi 10 years, 2 months ago.

Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • Author
    Posts
  • #19065
    Efulansi
    Efulansi
    Participant

    Table manners are very important to all cultures, maybe as much as the food that is being served. For all of us away from home, we have witnessed different cultures and the way other people behave on their meal tables. Let’s try to compare and contrast our own table manners and what we have seen out here.

    #24807
    Mulongo
    Mulongo
    Participant

    Ku lujjuliro ewaffe nga tebatukkiriza kuliisa buti oba magumba kugasonga mu mmeere. Bakuyitanga kuzanyisa mmeere, nga bakugamba nti okuta nga mugwaagwa. Mbu omugwaagwa yakkuta nazannyisa bwaatyo emmeere nga atayagyagale edda. Songa ate e China obuti bwebaliisa. Ate amasowaani bagasitula negabeera kumpi nomumwa. Ewaffe ku lujjuliro ezo mpisa mbi. Essowani oyinza kugisitula kuwuuta mucuuzi wokka.

    #24808
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Baganda table manners oba enneyisa yo ku lujjuliro lwa Baganda
    Okusooka kwabyonna nga tonatuula ku lujjuliro omala kunaaba mungalo , abamu kyebabuusa amaaso , abaana nomukyaala batuula bafukamidde okujjako nga bakulu amagulu galuma naye ekyo kyonna bakikolanga oba bakyakikola kulwabulombolombo bwaffe obwokwewombeeka ngoliko kyokola .

    Nandibadde Abaami tebafukamiranga nga nabamu batuula ku kamwasajjute waggulu naye nga abamu batulangawo wansi ndowooza bakube bulungi eddigobe , nakawunga kakkirire butooke mu mimiro.
    Ettoke barisimbanga ekigalo oluvannyuma lwokulibuusaako waggulu katono nebalikuba ennoga nebalyambaza ebinonoggo neriryooka lisabala omumiro, era werituukira gyeliraga nga likubye ennoga nakatuuyo kamuyitamu nga saba lwendo lwamazzi bweyawomerwanga ennyo ngengalo zonna azikomba kineemu nga saba nebbakuli okugikomberako awo nga siima eyafumbye.

    #24814
    Justus Zagudu
    Justus Zagudu
    Participant

    Kulabako oteekwa kuba nga osaaga. Eno ffe nga tebatukiriza kukomba ngalo yade amasowani.Tewali kuzanyisa mmere, nakusituka nga tosabye lukusa.

    #24816
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Abange munansonyiwa nabadde ntandise bulungi naye ebintu nebinsobako nendeeta byonna ebitakkirizibwa kulujjuliro naye wawo eyabinnyumiza kale nenjagala nammwe mugabane kukaboozi kooli eyali akuba ennoga ettooke
    Naye nga mazima gali nti kulujjuliro omwaana bweyamalanga okulya nalekayo okufukamira nga tudde ekiganda ennyo nga bamanya nti amaze , kiringa no kufumbya abasinga nga bakimanyi nti ofumbya omaze, era bwewakikolanga nga balowooza nti gwe okkuse nga bakujjako esowaani, ate ekimu kubintu ekitakkirizibwanga kwekukomba engalo , oba okuzibatikayo zonna mu kamwa .

    #24855
    Kalibattanya
    Kalibattanya
    Participant

    Ne wuuma nebijiiko ebyo ndowooza tebijja ku lujjuliro lwewaffe. Anti emmeere eyaffe tefumitwa fumitwamu. Bannaffe bangi abaliisa wuuma bamanyi nokujangulula emmeere, nga bagizza eno neeri ne wuuma. Neekyo ewaffe tekikola ku lujjuliro. Naye ekikulu mu byonna Kulabako kyogambye, nti ku lujjuliro tokwaata ku mmeere nga tonaabye mu ngalo. Sso wano aba wuuma bakuwa buwi nga olya. Bangi tebanaaba mu ngalo, songa ate oluusi bayinza okukwaata ku mmeere ne ngalo. Wadde ate abamu okukwasa ko engalo ku mmeere bakiyita kya mpisa mbi. Nnawulirako nabagamba nti tekiri civilised omuntu okulya nengalo ze!!!!

    #24869
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Empisa zo kulujjuliro lwa Baganda tebakkirizangako kuvubiika wadde okwogera nemmere mukamwa kuba nga oli ayinza okukuba banne missile zemmere, era nga tekikkirizibwa ku booking-a mmere kutandika kwesooka nti biri ebitole byange oba okugizimbako obuyumba nti waleme kubaawo agitwaala, ate nga tosobola kukunukiriza kujjawo yakulinaanye, oba okulya ngotunula musowaani za banno ngo pimisa amaaso ebiyingula byennyama byebalina, oba byenkana nebibyo byolina mu sowaani yo ate bwewayagalanga okuwuuta ssupu ngolina kukooza kawujjo sijjukira oba bwebakayita nowuuta ssupu wo mpola mpola so si kusolobeza nga wuuta ebikaawa.

    #24894
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Olujjuliro nga tebakkiriza kulujjako ngoliko obulimiro ngomala kubunaabako ate nga teri kulusitamako nga mawanga amalala bwegakola , wadde okulya ngeeno bwowanda , kuba ekyo kyekimu kubyenyinyaza ate olaba nokubejjagal nga kirina kukolebwa mpola nga nemimwa ogibiseeko kuba ekyo okukikola kulujjuliro olutulidwaako buli omu nga kiraga omuntu atalina mpisa nnungi kuba singa buli omu yeyasbuluza mungeri y kiba kisigadde kwenyinyaza batudde kulujjuriro , kale nga bagezaako abantu abalutuddeko okulaga empisa ezekintu kiramu.
    Buli eyamalanga okulya ngayebaza omwaami okugabula oba okuteesa nga nomukyaala yebazibwa okufumba .

    Nga bamaze okulya basokaanga kujjawo mmere eba esigaddewo nebagikunganyiza wamu, nebalyooka bazingako obulungi endagala nebazissa bulungi mukibbo.

    #25908
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Nze banange ekyannema okutegeera kye kyabakulu abagala okujjura etooke eribobedde era olibege nga likyayokya okujjako oli ngalina ka freezer mu kamwa, naye etooke eryo liba mu degrees ezokera ddala, ate nga tolaba alisulayo mu kamwa neyewujja no mukono akamwa nga kakutte omuliro ,naye kyemmannyi kiyira wa malusu akola over time

    , Abakulu nga bamanyi nokugamba nti emmere ewoze mubegereyo ekitole ekyookya , era ndowooza nze kati engalo mmala kuzisabika mu ndagala okukwaata ettooke eryookya lityo ate nga ndiko nolwendo lwakatunda akanyogoga obulungi wabbali awo , ate mujjukire nga bakulu tebakkiriza kunywa nga bwoolya.
    okujjako kyesimanyi oba nsobola okukyebeera kwekukoza mukinyeebwa ekikutte obulungi nga kirimu nakatiko akabaala na kazigo akaganda , nesikomba ku ngalo neemu bweeti ,kikkiribwa okubikkawo omukono omulala mu maaso nokombako mpola mpola ku ngalo , sitegeeza kiri ekyokuzibala okuva ku nasswi okutuuka ku nsajja.
    Ate bwooba oddiza omuntu katugambe okumulisaako kikkirizibwa okukomba olugalo lwamunno nga lujjiddeko enva ? naye ndowooza kyebaavanga baddiza nga bakuwa mu sowaani oba okukuteera kulujjuliro kuba awo wayinza okubaawo obuzibu.

Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.