Bajeti ebya Buganda ebiresse bweru,

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Kulabako Kulabako 6 years, 2 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18214
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Zino sente olwo zinavaawa oba basubira kuzijja ku bawereza eka?

    Bajeti ebya Buganda ebiresse bweru, ezze kukaabya banaku-

    KAMPALA

    Minisita w’ebyensimbi Maria Kiwanuka asomye bajeti y’omwaka 2013/14 enkambwe ekyawalirizza ababaka ba palamenti n’abakungu abalala abaabadde bamuwulirizza okumukuba olwogoolo naddala kasita yategeezezza nti n’amafuta g’ettaala munaku tadooba nago yabadde agongezza omusolo.

    Yabuwumbi 12,000 n’omusobyo.

    Bajeti eno Kiwanuka mwe yategeerezza ng’ebyokusaaga bwebikomye ku bya gavumenti okudibuuda ssente ekyamuwalirizza okuyimiriza enkola ya bgavumenti okupangisizza minisitule ebizimbe yagisomedde ku Serena Hotel ku lwa pulezidenti Museveni naye eyabadde amwegese amaaso.

    Yagambye nti buli alina ka bizinensi konna ateekwa okuwa omusolo kisobozese ebyenfuna bye yagambye nti bikuze ebitundu 5.1 ku 100 okweyongera.Yagambye nti omusolo ku loogi bagenda kugunyikirira.Ebirala ebyatereddwako omusolo kuliko ,boda boda. Mmotoka eziyingira eggwanga,engano,amazzi ge yagambye nti omusolo ogwali gugagyiddwako guziddwawo.

    Ye Bajeti ey’okusatu okusomya Kiwanuka gye yasomye mu kiseera kye kimu nga n’amawanga g’obuvanjuba bwa Afrika amalala nago gasoma. Eya Tanzania yabadde ya buwumbi bwa Tanzania 16,714. n’obukadde 800. Ate eya Kenya nga yeesinga obunene mu kitundu kino yabadde ya buwumbi 1027 n’obukadde bwa Kenya 200.

    Mu bajeti eno ya 2013/2014, ebyokwerinda byalinyisiddwa ssente okuva ku buwumbi 945 okutuuka ku buwumbi 1045 .

    Ebyamasanyalaze n’ebyobuggaga eby’omuttaka nabyo birinnyisiddwa okuva ku buwumbi 1481 okutuuka ku buwumbi 1762.2 mu mwaka gw’ebyensimbi 2013/2014.

    Omutemwa gw’ensimbi ezigenda mu by’obulamu nagwo gwongezeddwa okuva ku buwumbi 852.2 okutuuka ku buwumbi 1592.5b sso ng’ate eby’enjigiriza bikendeezeddwako okuva ku buwumbi 1592.5 okutuuka ku buwumbi 1555 mu bajeti ya 2013/2014.

    Ebirala kuliko sigala, zzaala w’omu Casino ne Mobile Money nayo yateekeddwako omusolo gwa 10 ku 100.

    Ku massanyalaze Kiwanuka yagambye nti UMEME egenda kwongera okutambuza amassanyalaze mu byalo kikulakulanye bizinensi era gavumenti yataddewo obuwumbu bubiri n’obukadde 700 okukola omulimu ogwo.

    Yagambye nti ataddewo obuwumbu 72 n’obukadde 700 okudaabiriza enguudo mu bibuga ebyenjawulo naddala Arua, Gulu, Mbale, Tororo, Masaka, Mbarara, Fortportal ne Hoima

    Ebirinye

    Ekidomola ky’amazzi kya 40 okuva mu kitongole ky’amazzi

    Omusolo ku bodaboda gwa 200,000 /- okuva ku 130,000/-

    Gambolingi atereddwako emisolo

    Petulooli ne Dizero bongeddeko 50/-

    Amafuta g’etaala bongeddeko 200/

    Siggala ayongeddwako 25/-

    Ebitereddwamu ssente

    Ssente zokuwola abayizi mu matendekero agawagulu ziri obuwumbi 500

    SACCO z’abasomesa obuwumbi 5

    Basasi b’Eddoboozi

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.