Bakung’aanya Bisigala by’Abaazirwanako

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Emmunyenye za Ababaka / Ababaka stars Bakung’aanya Bisigala by’Abaazirwanako

This topic contains 1 reply, has 1 voice, and was last updated by Kulabako Kulabako 9 years, 5 months ago.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18666
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Bakung’aanya bisigala by’Abaazirwanako | Print | E-mail
    Bya Fred Mutyaba ne Edward Sserinya
    Sunday, 07 March 2010 11:09

    EKIBIINA kya Uganda Freedom Movement kikung’anya ebisigala by’abajaasi abaafiira mu lutalo lw’ekiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza.
    Omulimu guno ogwakuliddwa Capt. Jack Bamunoba ne Capt. Annette Ssebwato nga ye Ssentebe w’ekibiina kino gwatandise wiiki ewedde ku kyalo Kiteezi mu Nangabo era baziikudde ebisigala by’abajaasi abasoba mu 580 mu bitundu eby’enjawulo.

    Ssebwato naye eyazirwanako agamba nti, “tubadde tuyisibwa bubi okulaba nga bannaffe abaafiira mu lutalo tebaziikiddwa, kuba abamu baasuulibwanga ku ttale olw’embeera embi eyaliwo. Kino kyatuwa obuvumu ne tusalawo okutandika okunoonya ebisigala byabwe tubiziike mu ntaana emu e Ssi mu Kyaggwe.”

    #26165
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    kino kiteeso kirungi era wateekwa nokussibwaawo ekijjukizo wonna webaziika abazira baffe bajjukirwenga era twandibasabye abalina ebifananyi netubisa ku kitimba kyaffe kinio ekyabaganda nga twongera okwebaza okuwaayo obulamu bwammwe ku lwannyafe Buganda Nandibadde eyebatta nakati akyatta naye tugenda kutuuka lumu kubuwanguzi
    naye bonna Mukama abawe ekiwummulo ekyemirembe.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.