Baluwa Abanetaba Mu Mpaka Zokulya?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyokumawanga / Diaspora Data Baluwa Abanetaba Mu Mpaka Zokulya?

  • This topic has 4 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #18394
    MulongoMulongo
    Participant

    Wano mpulidde batandika okuyita abantu abagala okwetaba mu mpaka zokusala eddiizi. Ggwe munnaffe olowooza oyinza kuja mu kiti ki mu mpaka zino? Nga wefubaase oyinza kumalawo biki era nga byenkanawa? Olowooza bukodyo ki omuntu bwayinza okweyambisa okuwangula empaka bweziti? Kizibwe wange yangamba nti bwooba oyagala okubeera nessubi eriwangula, wewala amasavu amangi, ate tonywa nga olya, ate bwebakuwa soda londa Mirinda ku pespi oba coke. Ono nno tazetabangamu kko, kale nawe oyinza okubanga olinawo obukodyo wadde tobukozesangako.

    #19474
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyokka banange Mulongo bwotuula awo nogamba nti kandeteyo kino kandabe oba nsobola okwetaba mu mpaka zino ha!
    Oba kiki kyenyinza okulya mukingi?
    Otegeeza ngo kirirawo awo oba ngo lyaako mpola mpola naye ngoli mu mpaka za kukimalawo?
    era mpozzi nga empaka za ssupu nga tolina kugaaya oba nga olya mugoyo ngo onywerako walagi nga buli kosulayo bakookya, naye ate waliwo okutamiira nga tonamalawo mmere newesanga ngolwaanye nasala empaka, ngomalirizza ngomuyise nti gwe jangu ojiryeeyo naye nga ebigambo tebikyayatuka .
    Ate nomugamba nti bakuwereko omwenge nga musu kuba gwebakuwadde tegukuwa speed.

    #19478
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Zino empaka tozessako nga tolina kitone. Ate bwebamala okulya tolaba lubuto nga luzimbye ekiri awo? Oba emmeere ebeera eraga wa? Nze ndowooza emmeere ya beeru nyanguko okussa mu mpaka okusinga eyaffe. Nze nzisjukira abaana balyanga emeere ku sekukkulu nebatandika nokukaaba, ate kyesirabangako wano. Eri eye waffe naddala luli nga eri pure nga ewwera ddala omukkuto gwenyini. Nange ndowooza bi doodo doodo ebyo byangu bya kuvuunya bingi. Kyagala emmeere engonvu egaayika amangu notokoowakugaaya nga tonnajjuza lubuto. Nze nnaliko mu mpaka za kunywa beer ssaatu. Empaka zaali ku ani anasooka okuzimalamu. Naye abaana aba South Africa kale bamira mwenge!!! Baali bakugaba bikopo, nandi ki bigirasi, kwoolwo Buganda nnali ngiretedde ekyokusatu, bronze.

    #19479
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Aba yetenda okulya nzenjagala bamuwe amayuuni aga bwayiise ne lumonde owa kyebandula bamutereko enva ggobe nga lirimu otuzzi tutono bayinza okulifumbiramu akazigo akaganda .

    Netumulaba bwabiriisa speed eya yiriyiri kuba buli mumiro alina okutamako nga jjuuni ligenda limuggunda ebikonde mu mugongo.

    Kyaaba kitya Mussajja waddayo no traininga empaka ziddemu, tukayane recount osanga bronze yaffe bagituwa naye maama netutabaayo naku mudaali gwonna.

    Kyo ekyabaana abato ovaako kive nomulaba nga givubiika atere agimare kusowaani nga ddala akimanyi nti tekyalina gyeraga oba nagikwaata naginyogotola nga kugamba nti entamye singa wabaawo ekyobufuusa na nazibiriza nazibula nge vuddewo okutuusa lwomuyamba nomujjukiza nti tali mu mpaka zakulya.

    #19523
    JonaJona
    Participant

    Ekyangoba ku bawala ba bbaala, kwekunywa nga tebatamiira. Sente zonna zogenze nazo nebazinywa, ate bwotamiira, baba tebakyakuddiza balance. Olwatuukanga mu bbaala ng’omuwala akugambirawo nti ajja kugenda naawe eka ng’anyuse. Ngotandika kusunda mwenge. Olutamiira wemulula mpola, ate nga tanatuusa nakunyuka. Era yye omuleka mulamu tteke.

    Akamu kubukodyo kebakozesanga, bwebaabanga banatera okutamiira nga bagenda mu toi, nga besonseka olugalo mukamwa, omwenge gwonna nga baguzza, nga banaaba bulungi mukamwa, ngabakomawo – vere fulesi.

    Muzino empaka z’okulya, bwemunanzikiriza okufulamako wabweeru “empewo zimpitemuko”, nja kuzetabamu.

    #19525
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Ebyolugalo lwebesonseka nabiwulirako ,naye obwo buba bulyaake bwennyini, okujjako totubulidde kika kyammer okkirizibwa okufulumako wabweeru empewo wezikufuyirako naye nga rifiri akyagakwegese ebyengalo tebiriimu.

    Naye mwe abekisa ekitiirika mwe mwaleteranga abawala obukodyo, bwoyingira nomulaba nga kumatira ngo mugamba nti round esooka gwogigula eddako yagula nga naawe ogunyweesa ffujjo yiriyiri kati kuyiyo onunako nuune ecupa nga wenyweeswa nyweesaako , kati bwegutuuka omulundi gwe era ngoyiwayo lumu alwa daaki nga kubukako nkuyege kuggi

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.