BANO BEBALIDDE MU BUGANDA OLUKWE

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Masangaanzira / Crossroads BANO BEBALIDDE MU BUGANDA OLUKWE

  • This topic has 11 voices and 24 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 25 total)
  • Author
    Posts
  • #19143
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    Wano buli omu aleete kyalaba omuntu oyo kyakoze ekimulaga nti alidde mu buganda olukwe, bo tulina bangi nze nsokedde ku

    SSEKANDI

    Ebbanga lino lyonna alabye okubonabona kwabaganda naye tomuwulirangayo ngavaamu wadde akagambo akamu mu myaaka gyabadde nemukamawe m7 nga tulugunya Abaganda
    buli lwewabaawo ensonga yonna eluma abaganda olugituusa mu paliamenti nga givuvuba asigale nga kyasanyusa mukama we

    #21083
    JonaJona
    Participant

    NSIBAMBI

    Nsibambi wa musaayi mutabule, ssi muganda bulungi. Alimu omusaayi omu Seychelles. Nsibambi yasomerako e Mengo school. Yatuuka watuuse ng’ayambibwaako Buganda. Waaliwo ekiseera lweyali omuwagizi wa Federo ya Buganda. Wabula yakyuuka amangu ennyo, era bwatyo nakuba Buganda omugongo.

    Kati soma bino…

    Nsibambi Rejects Baganda Culture, Names Daughter Musika

    Prime Minister Prof Apollo Nsibambi of Uganda shocked his family and Baganda, in general, when he disowned his supposed cultural norms and declared a daughter his heir (musika). Nsibambi, who is reported to be fighting a bout of severe depression, chose a conference on population policy at Sheraton Kampala to declare his daughter, Rhoda, his official musika. Among Baganda, it is taboo for a person to have a musika who is not of the same sex and clan.

    One Muganda elder who went to Mengo School with Nsibambi, told this reporter that Museveni’s prime minister is a very selfish man. Quote: “Since he was a small boy Apollo has been a self-centered ‘kabandabe’ (show-off) person. In primary school, he used to do very selfish things such as telling lies about classmates to gain teachers’ favors. Even at university level, he relied more on people manipulation skills than on his raw brains. His problem now is that today’s Baganda see through him, and his master Museveni knows it too. It is the ‘kabandabe’ inferiority complex mixed with insecurity that made him name the daughter as a musika. But now it is the daughter and her husband and children who will be stigmatized for the rest of their lives. Can a 70 year old be more selfish than that?”.

    Every Muganda like Nsibambi belongs to a clan; the clan of his or her father. In Baganda culture, an adult person never fully dies because after his or her death a person of the same clan and sex is selected to become the deceased’s musika. Typically a person chooses their heir. Their child, grandchild, brother, cousin or nephew for men. And a sister, cousin or niece for women. This custom is called okusikira (to replace). It is so important to Baganda that even if a 10 year old female cousin becomes musika to the mother of a 46 year old, he publically refers to her as “my mother”.

    It is important to note that the okusikira custom is independent of property inheritance rights. For hundreds of years Baganda men without have willed large proportions of their wealth to their daughters without naming them the musika. Baganda women have historically done it even more, often giving virtually everything to their daughters and sons and only a token of appreciation to the official musika.

    Reader’s comment

    I am in total agreement with the hypothesis of the inferiority complex as a possible explanation for the good professor’s increasing goofs.And they come abunduntly, you know!! He donates money to the Kabaka’s cause and he goes around bragging about it well-knowing that it is a taboo in the Ganda culture; he makes a surprising u-turn about his long-held beliefs in the Buganda’s much -cherished ‘Federo’ for a so-called charter and/or regional tier; I now understand that he is one of those prominent Baganda politicians in Central Government now advocating for the quick passing by the Uganda parliament and subsequent implementation of the controversial land amendmend bill, contrary to the obvious position of his Kabaka and the wishes of the majority of Baganda and Bugandans; and now lo and behold, he publically introduces his heir at a function not related at all to his fumbe cultural matters!! It is bad enough for anyone in Buganda to publicly tell people who their heir-apparents are and certainly worse if that musika is a girl-child (woman/lady)! Yii, banange tuswala!!! I am NOW even tempted to think that this gentleman may not be a Muganda in the first place?!? Oba could he be doing the Paul Muwanga ‘thing’ of “regretting to having been born a Muganda(God forbid!!” as he vainly tried to be a ‘Mr. Good-Muganda’ before his boss Milton Obote?? Surely, Muzzukulu wa Walusimbi Prof. Nsibambi that is, if he is really one!)is overdoing it, and obviously the wrong way

    #21115
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    NANKABIRWA[/

    NANKABIRWA olabika tozikangako naye teweyibaala obirya kati ngo biwomerwa oba bitungununa, birmu olunyonyo …. naye bijja kukulakira nga bonna boddidde mu bigere buuza mukama wo gye yabanyugunya oddemu obunyise enjiri yomutukuvu wo M7.

    Museveni yekka y’asobola Uganda – Nankabirwa

    AMAZIMA galina okwogerwa, naye Uganda tennafuna muntu gw’olaba ayinza kudda mu bigere bya Pulezidenti Mseveni. Obuzibu bwe tulina be bannabyafuzi abatuvuganya okuba nga tebalumirirwa ggwanga lyabwe wabula beenoonyeza byabwe ng’abantu.

    Njagala ombuulireyo omuntu asobola okutebenkeza ebyokwerinda kw’eggwanga lino nga bw’olaba Museveni bw’akoze? Tetwagala twerabire byafaayo kubanga bye bituyamba obutadda mu nsobi ze twakola. Jjukira gavumenti ezaayita n’engeri gye zaayisangamu abantu nga balinga abatali bannansi.

    N’abo bennyini abatuvuganya, ekituufu bakimanyi nti omusajja Museveni alwanye nnyo n’eggwanga lino okuliggya mu ddubi gye yalisanga. Tunuulira eddembe ly’okwogera, mbuulirayo omukulembeze gwe baali bavumye ng’ono n’atayanukula?

    Simanyidde ddala oba abo abawoza mbu obuwagizi bwaffe bukendedde ekipimo kye bakozesa. Saagala bannaffe bano babeere ng’abazibe b’amaaso kubanga ffe abalengera ewala tukiraba nti abawagizi baffe be bantu aba bulijjo era tebakyukakyuka baffe nnyo.

    Bano bannabyabuzi ababadde mu bifo eby’obuvunaanyizibwa be bakyukakyuka nga babajjuludde ne babaggya awali omugaati. Ate ekisinga okwewuunyisa bwe batuuka eyo gye baba bagenze batandika okwejjusa naye ng’obudde bubayiseeko ne bafiira eyo mu kasirise.

    Tukimanyi nti tulina amabanja ge tulina okutuukiriza eri abalonzi baffe nga bino twabibasuubiza mu biseera by’akalulu, naye bingi tugezezzaako okubikola kubanga tewaliwo kibuga olaba ne Roma teyazimbibwa mu lunaku lumu noolwekyo tukimanyi nti tugenda kutuukiriza kuba ffe tetwerabirangako gye twava mu bantu baffe abo abaabulijjo wabula tubasaba babeere bagumiikiriza ebintu byonna bigenda kutereera.

    Tukimanyi nti enkyukakyuka mu byobufuzi zibaawo, naye ate tosobola kumala gazikola kubanga owulira ng’oyagala zibeewo, ekyo kiba kibi kubanga bw’oba teweegenderezza ziyinza okukuviiramu omuyaga omubi ennyo. Bw’otunuulira olwaleero abantu abasinga okwogerera Museveni amafuukuule, be bamu kw’abo abaali mu kintu nga basuubira kukifiiramu, naye bwe baalaba nga ye (Museveni) aleese enkyukakyuka nga naffe Banankabirwa atuleese ne batandika entalo zaabwe noolwekyo abantu balina okwegendereza abantu abanoonya enkyukakyuka nga balina essungu lyabwe. Ovanga ku Museveni, amaze emyaka 40 ng’alwana kuleeta mirembe mu ggwanga, tetuyinza kumuleka kugenda aleke eggwanga lye yaggya mu ddubi ate nga lizzeeyo.

    Gwe waalabyeko ye mwana Bannayuganda balowooze nnyo ku nkyukakyuka nga za mirembe so si bano abaagala okutuleetera ezituzza emabega.

    Published on: Saturday, 13th December, 2008

    #21116
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyokka banange ate mbadde bino sibisomye bulungi omwana muwala awomerera ono ekiswaaza obuswaaza alabika oluseke alina lwakyuuma olwo okulusigukulurayo ajja kwetaaga wetiiye M7amuwaana nokusinga mukazi we yennyini Kyambadde.
    amma mukyaala mukulu ono sooka omusongere wateekwa okukoma nga bwewakola Nabagesera

    #21233
    MulongoMulongo
    Participant

    Sebaggala wano teyegaanye kubeera mu lukwe lwakugaana bantu kwekalakasa nakwediima ate nga bino bimanyiddwa nga bikolwa bya democracy. Sebaggala awalana democracy era mulabe wabantu okulaga okusiima nobutakkanya bwaabwe. Bino byayogeddwa kaati nga waali era teyabyegaanye. Ono ayisemu straight ku list yaba Buganda’s Public enemies.

    ‘Abavubuka muwase mangu’
    1229881688woman.jpg
    Museveni (ku kkono) ng’ali n’abagole ku mbaga. Ku ddyo ye Sebaggala.

    Bya Richard Kayiira

    PULEZIDENTI Museveni agambye nti akolagana ne Meeya Haji Nasser Sebaggala kubanga yamukakasa nti tagenda kukkiriza kuwagira bantu beekalakaasiza mu kibuga.

    Museveni ye yabadde omugenyi omukulu ku mbaga ya mutabani wa Sebaggala abeera e Bungereza Sulaiman Cobra Ssebaggala ne mwana munne Mariam Sebaggala abaagattiddwa mu muzikiti e Kibuli ne basembeza abagenyi baabwe ku wooteeri ya Serena akawungeezi k’oku Lwomukaaga.

    Museveni yagambye nti, “enjawulo Sebaggala gy’alina ku bantu abalala, akimanyi nti enjawukana mu ndowooza z’ebyobufuzi terubeera lutalo. Banne abatawagira gavumenti yaffe, baali baagala okufuula Kampala eddwaaniro naye Sebaggala ebyo yabigaana era yantegeeza nti ajja kuyamba poliisi okulemesa abaagala okwekalakaasa, okwediima n’okwegugungira mu kibuga.”

    Museveni yagambye nti ye muzzang’anda era mwetegefu okukolagana n’abeebibiina ebirala kasita babeera abeetegefu obutataaganya nteekateeka za gavumenti. Yasabye abavubuka obutalinda kumala kuweza myaka 40 balyoke bawase, n’agamba nti amangu ddala ng’omuntu amalirizza okusoma era ng’afunye omulimu, ky’alina okuddako okukola, kwe kufuna omubeezi.

    Sebaggala yeebazizza abaamuyambako okukuza mutabani we Cobra n’agamba nti nnyina w’omwana ono Ellena Sebaggala yamufaako ng’abaana bato nnyo era mukaziwe kati gw’alina Gera Mosha yakola kinene okubakuza.
    Bukedde
    Published on: Sunday, 21st December, 2008

    #21247
    KulabakoKulabako
    Participant

    Abeyita Abaganda tusanze bangi naye nga mu bimpimpi basakira lubuto lwaabwe okuviira ddala ku Obote , kubuli mulembe tufunayo kaasa eva ku mugendo naye ebintu webituuse bano bonna naffe tubayise nga nabo bwebatuyisa kati tobakkiriza ku mikolo gyammwe naawe togenda ku gyaabwe .

    #21277
    MulongoMulongo
    Participant

    DP egobye Sebaggala
    Bya Hannington Nkalubo

    NASSER Sebaggala agobeddwa mu DP. Alabuddwa obutaddayo kweyita wa DP okuggyako ng’azzeemu okusaba buto n’akkirizibwa okudda mu kibiina.

    “Sebaggala kati agenti wa Gavumenti gw’ekozesa okubba ebintu mu Kampala babitunde beekolere ssente”, ekiwandiiko ekyafulumiziddwa eggulo, omwogezi wa DP, Betty Nambooze bwe kyategeezezza.

    Kyokka Sebaggala yayanukudde: ako akawala ka Nambooze tekalina buyinza kungoba. Nze ndi ‘Super Delegate’ era mmemba wa DP owenkalakkalira. Okungoba balina kusooka kugenda mu kkooti. Ekibiina kya DP tekigoba bammemba.

    N’agattako: Nambooze alina okumanya gye yava. Akyali muto nnyo. Bwe yali tannayingira DP ng’akiyita kigaali ekitaliiko nnamba. Ayinza atya okwetwala ng’alumirirwa DP okusinga nze eyakizaalirwamu?

    Ekiwandiiko kya DP ekyabaddemu olulimi olukambwe okusinga ku kugonda okumanyiddwa mu kibiina ekyo, kyalabudde ne Museveni okukomya okweyita nti yaliko mmemba wa DP n’akivaamu.

    “Museveni alimba. Ayagala kukozesa DP kubanga ky’ekibiina ekitalina bbala lyonna. Mzee Byanyima eyakuza Museveni aludde nnyo mu DP kyokka tamanyangako Museveni kubeera wadde okweriraanya DP”

    “Twagala Museveni atubuulire ennamba ya kaadi ya DP gye yalina, ekiseera we yabeerera mu kibiina n’abakulembeze be yali nabo mu kiseera ekyo”, Nambooze bwe yagambye. N’agattako nti kiswaza omukulembeze w’eggwanga okusasaanya obulimba n’atuuka n’okubussa mu kitabo kye ekya Sowing the Mustard Seed.

    Nambooze yagambye nti ekiwandiiko yakikoze asinziira mu buyinza obumuweebwa konsitityusoni ya DP era ebikirimu tabikoze ku lulwe wabula ku lwa bammemba ba DP bonna.

    N’agamba nti okuvaayo kuno kwenkana n’okutangaaza kubanga Sebaggala yeegoba dda yekka mu DP bwe yeesimbawo ku bwameeya wa Kampala ku lulwe (Independent) oluvannyuma lwa DP okusimbawo omuntu waakyo.

    OKuva olwo, Nambooze yagambye nti Sebaggala abadde akolerera kusuula kibiina nga yeegatta ne Gavumenti ya Museveni okutunda ebintu mu Kampala naddala ebiyamba omuntu wabulijjo.

    Yatuuka n’okutwala ensimbi okugulirira abalonzi mu lukiiko lwa DP e Namboole.

    Sebaggala yalabudde Nambooze ne banne bamugendeko mpola kubanga ajja kubayimbulira ebibinja by’abavubuka be bibakoleko.
    Bukedde
    Published on: Tuesday, 23rd December, 2008

    #21403
    JonaJona
    Participant

    Prof. Bukenya

    Buganda Eri Mu Buwambe:
    Essomo lya UN Charter

    Twabasubiza nti tujja kubasomesa mpolampola nti ddala Buganda eri mu buwaambe era nga abagikuumira mu buwambe (occupation by force) bakulemberwa Yoweri Museveni ne Banamawanga banne, nga kw’ogasse n’Abaganda abatono abalidde mu nsi yaabwe olukwe (treason).

    Abaganda kino ssenga tukitegeera obulungi era n’okumanya amangu nti Museveni buli kyanyaga ku Buganda aba amenya mateeka ga nsi yonna (International Law) tujja kusobola okutandika amangu omulimu gw’okubimusuuza mu mateeka agatali gage.

    Era tukubiriza buli Muganda nti, ne bwotunda ettaka oba enju, sala amagezi gonna okukuuma kopi ze byaapa, ebifananyi, n’empapula endala zonna, kubanga kiyinza okusoboka okulaga nti wakakibwa bukakibwa pulogulaamu za Museveni okwavuwaaza oba amateeka amakyaamu nga Land Act of 1998 wetundeko ebibyo. Anti eyagula olusi kisoboka nti yamanya nti agula kibbe!

    Kizibu nnyo okutegeera nti Museveni, Kuteesa, Karuhanga, Nsibambi, Bukenya n’abalala byebakola bya bumenyi bwa mateeka g’ansi yonna (International Law) okujjako nga omaze okutegeera amateeka ago kye gagamba.

    Mu ssomo lino tukwanjulira Endagaano ya Mawanga Amagatte (United Nations Charter). Uganda yassa omukono ku ndagaano eno, awamu n’endala eziwerako era Gavumenti ya Uganda erina obuvunanyizibwa okuzigoberera. Okuyiga obulungi tukusaba osome United Nations Charter n’obwegendereza, naye nga essira olissa ku Ssuula I, Akatundu 1, Akawayiro 2 (Chapter I, Article 1, Section 2). Bwooba tomanyi Lungereza funa omuvvunuzi omulungi.

    Mu Luganda, Akatundu ako wagulu kagamba nti ekimu ku bigendererwa by’Amawanga Amagatte (United Nations):

    …Okulakulanya enkola ey’okutegeragana wakati w’amawanga nga kwesigamizibwa ku misingi gyo’bwenkanyi mu ddembe ly’abantu era n’okukiriza abantu abaawamu okwesalirawo engeri gyebafugibwaamu era n’obulamu bwaabwe nga bwebusaana okutambula (self-determination)…

    Eky’okuyiga mu ssomo (lesson) lino kiri nti Abaganda 90% n’okusoba bwebategeeza akakiiko ka Odoki nti bo bagala kufugirwa mu nkola ya Federo, nga bwekyaali mu 1962 bali bakozesa eddembe lyaabwe ery’obwebaange “okwesaliraawo engeri gyebafugibwaamu era n’obulamu bwaabwe nga bwebusaana okutambula”. Era eddembe eryo nga Unitied Nations Charter erilambika mu musana.

    Bidandi Ssali ne Mulondo, Abaganda, balya mu Buganda olukwe (treason) bwebegatta ku Mulaalo Museveni nebamma Abaganda ekyo International Law kyekakasa nti ddembe lyaabwe lya bweebange, eryarambikibwa ne mu United Nations Charter. Museveni, Bidandi ne banaabwe ky’ebakola, ekyokukaka eggwanga eddamba (Buganda) mu mbeera ey’okufugirwa ku bugubi United Nations ekiwakanya era ebyafaayo biraga nti etera n’okuwagira abo abasalawo okwerwaanako okuva ku bugubi ng’obwo. Kino United Nations yakikola mu Southern Rhodesia (Zimbabwe), South Africa era ne juuzi mu East Timor.

    Kal, buli lw’owulira Museveni, Otafiire, Nsibambi, Bukenya n’abalabe ba Buganda ababafanana batyo bagamba nti “Buganda tetujja kuna Federo” oba “Abakulembeze abali e Mmengo misege” toterebuka nnyo. Oyo yenna bwiino nti Buganda efugirwa mu Buwambe (occupation by force) era mu bumenyi bwa International Law. Mukifo ky’okuterebuka wetegeke oba tandika kutabaala balabe ba Buganda.

    Ba jjaja baffe Buganda tebazimbira ku butitiizi. Ate bw’owulira nga Kabaka agamba nti “Ffe Federo yokka gyetumanyi yeyaliwo mu 1966” ate n’owulira abakungu be Mmengo bakiriza nti Kabaka agende ateese ne Museveni ng’omanya nti Omutanda bakaka mukake era ateesa aliko akabundu kumutwe.

    Endagaano zonna ezivaamu za bichupuli kubanga Abaganda tetuzimanyiiko mayitire ate ne Kabaka akakibbwa okwetaba mu kuteesa. Mufube nnyo okusomesa n’okunyonyola abaana n’abazukulu nti Kabaka waffe ali mu buwambe, balwaane okutuusa lwalinunurwa – emyaaka ne bwegiriba 300.

    Namata – Ow’Ente

    Bazzukulu 2

    #21598
    JonaJona
    Participant

    Tamale-Mirundi (oba Rwamirundi)

    Naye yeyita Muganda…

    Tamale yasoma kwenkana wa?

    KU ntandikwa ya wiiki eno nnawuliddeko omuyambi wa Pulezidenti Museveni mu byamawulire Tamale Mirundi ku leediyo emu ng’alumba Mmengo wamu n’okuvumirira Ekisaakaate ekyategekeddwa Maama wa Buganda.

    Ekyanneewunyisizza kwe kuba nti Tamale yeeyita ‘mukukunavu’ era mbu kakensa mu byobufuzi. Kye nzijukira kiri nti Tamale alina ddiguli emu gye yasomera e Makerere nga mukulu wano jjo jjuuzi.

    Siwulirangako nti Tamale yagendako okusoma awalala mpozzi nga yali mu mchakamchaka.

    Kati olwo owa ddiguli emu bwe yeeyita ‘omukukunavu’ bapulofeesa boogere ki? Ne leediyo emukkiriza okweyita ‘omukukunavu’ yeeswaza yokka.Sookera ku babbi abali mu gavumenti olyoke olingize Mmengo.

    Wilson Mukasa, Nansana

    #25020
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyetwebuuza ffe abaganda abali ebweeru nti lwaaki Bukenya tava kulusere na Kabaka waffe kyokka ssinga osoma ebimuva mukama bikontana nendowooza ya Baganda buli Kabaka waffe womulaba nga ne Bukenya ono mbadde ngamba nti yaddirira M7 tateekwa kuba nti alebeeta M7 instead. Alowooza bwataave ku lusegere Abaganda tebamumanyi mbadde yasalawo okukolera M7 lwaaki ate yekulubeesa embuga olutatadde simanyi mutume oba ewa mukwano gwe atyaayo kanywe okawulire?
    bwaavaawo nayagala okusanyusa M7


    TUBEGAYIRIDDE ABEMENGO TUKOOYE OKULABA ABEYITA ABAGANDA NGA BEKULUBEESA KUKABAKA WAFFE NAYE NGA BALIWO KUSANYUSA M7NDOWOOZA KINO KATI KINABAYAMBA OBUTAMUYITA KUMIKOLO GYABUGANDA NGA BWATATEEKA BWAKABABWAFFE KITIIBWA
    He said the days where all the power was in the hands of kings, who would even order the killing of a person if they wanted, were over.
    simanyi eriyo basasula okumuyita , ffe abamu abawulira ebimuvaamu mutukoyesa, kuba twamukoowa dda ne ki smile kye ekiri vampish.

    1252167263zulu.jpg
    Mengo forget federo — VP Bukenya

    By Moses Mulondo

    VICE-President Gilbert Bukenya has said the kind of federalism Mengo is advocating for cannot be granted in modern Uganda. He urged Mengo to accept the regional tier system for the good of the Buganda Kingdom.

    “Once democracy overtakes the monarchy, you are wasting time or dreaming when you talk of going back to the absolute federalism of the monarchy we used to have before the colonialists,” Bukenya told Sunday Vision.

    He said the days where all the power was in the hands of kings, who would even order the killing of a person if they wanted, were over.

    “When the British came in, they started taking away power from the king and gave it to the chiefs. That was the beginning of the process of reducing absolute monarchism.”

    By 1950, he said, the monarchies were dying away because the colonialists had introduced elections. “And once they introduced the system of one man one vote, democracy overtook the monarchy.”

    Contrary to Buganda’s call, ‘twagala federo eyekimemette (we want a solid federal system)’, Bukenya, who is a Muganda, said people should forget about going back to the past.

    “The central Government can give some power and you can call that federalism. But the previous federalism of an absolute monarchy is gone forever.”

    Bukenya also told the Buganda Kingdom that the central Government would not accept to grant a regional government to Buganda, whose Katikkiro (prime minister) is not elected.

    “I want this to be re-emphasised, which seems to be our major disagreement: In a democratic arrangement, you cannot expect that there will ever be a leader of a government without being voted by the population.”

    See full excerpts in interview

    #25022
    MulongoMulongo
    Participant

    Anzijukizza film yaba mafia gyennalaba, omusajja omu yagenda neyewola sente zaabwe nayisa ku lunaku nga tannazizza. Godfather, omukulu wa Mafia group kyeyava amuyita mu office ye, namujjukiza nga bwebaali bajjukira gyabeera. Kyaava ayongerako nebibuuzo bino, “Ye muwala ne mutabani wo bali batya? Nobuzzukulu bwo bunyirira obusoma mu kali akasomero kabato nga ku bank! Bulabirire bulungi, family is the best thing you’ll ever have in this life.

    Eyo mu University twagirina nga ngombo, nga oli bwakukola ebitakugenderako nga omugamba nti mmanyi gyobeera. Well Bukenya ajjukiza ekyo. He’s a somewhat funny guy, if you like dark humour.

    #25344
    MachatiMachati
    Participant

    Noono Nsambu ali ku list elengezza Obuganda nokubulyamu enkwe nga bwakirumira empiyi ebbiri. Wano yabadde mu ba NRM banne nga yeyama bwatajja kuddayo kufukamirira Kabaka. Nagattako nokwogera ebityoboola Obuganda.

    President’s Mengo plan splits NRM
    News
    Written by Edris Kiggundu
    Wednesday, 30 September 2009
    From now on, I will not kneel for the Kabaka
    NRM lawmakers failed this week to agree on how kingdoms and other cultural institutions should be regulated. Instead, the ruling party MPs hurled insults at each other in a shouting match one legislator described as not so different from the abuses petty traders exchange in flea markets.

    Sources have told us that MPs went personal and tribal at the Monday, September 28 meeting, co-chaired by NRM Chief Whip Daudi Migereko and the Prime Minister, Apolo Nsibambi––as emotions spilled onto the floor of the conference hall at Parliament.

    The main agenda of the meeting was to debate President Museveni’s recent special address to the House where he suggested measures to regulate cultural institutions.

    Museveni said that traditional institutions should declare donations above a certain value that they receive, and also called for formulation of a law to operationalise Article 246 of the Constitution, which bars cultural leaders from engaging in politics.

    But it appears some MPs considered this a narrow scope of discussion and instead sought to broaden the agenda by delving into other matters, outside the speech. Two MPs: Alintuma Nsambu (Minister of State for ICT) and Bruno Pajobo (Workers) presented extremist views that left others MPs polarised along pro and anti-Buganda lines.

    Nsambu, reeling from a recent incident in Masaka where he was prevented by a rowdy crowd from speaking at function attended by the Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi, said he no longer respects the Mengo establishment. He also took a swipe at the Kabaka.

    He said: “They called me an Acholi,” Alintuma narrated his Masaka ordeal. “I have red blood like the Kabaka and I also have two balls like the Kabaka. From now on, I will not kneel for the Kabaka.”
    Sources said Alintuma looked very emotional and angry. MPs Nalubega Mariam (Youth) and Rose Namayanja (Nakaseke) protested and demanded that Nsambu apologises, but the junior minister could have none of it.

    Nsambu’s hate affair with Buganda started two years ago when he suggested that Buganda’s radio, CBS, be closed for allegedly abusing President Museveni. On his part, Workers MP Bruno Pajobo suggested that cultural institutions be abolished for what he called promoting ethnic hatred and disunity among the people, whipping up a storm and leading to calls of “motion, motion” from some MPs.

    “They should be abolished because they are inciting people to hate one another,” Pajobo submitted.
    Ironically, Pajobo later demanded that cultural institutions be restored for the Lugbara, Lendu and Madi ethnic groups of West Nile….

    #25378
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    1254583533zulu.jpg Yoono ababade tebamumanyi bwafaanana Nsambu eyagamba nti tagenda kuddayo kufukamirira Ssaabasajja. Ekiseera kijja nga atafukamirira Ssaabasajja mu Buganda mwaava nagenda ewaabwe nakola byayagala. Batuleke Abanyamulenge naffe tukole byaffe byetwagala.

    #25379
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mukama bwakuwanga abantu nebakubulirira bwoteekwa okwogera mu bantu webazanga , kuba abantu abamu balowooza nti Buganda bwejjuzizza bamusenze alanda nti naye ayinza okweyita Omuganda ate najja namala gawanda byakitumbaavu wonna wasanze .

    Nze ndowooza nti Nsambu oluyombo lwe yandiRukomezza ku abo beyali ayomba nabo wano siraba Kabaka waffe wabiyingiriramu , naye ba nange ndi muuganda awo womulabira , bwaaba Nsambu zi balls ze azewulira obuzito lwaaki teyazegeza ku mukamaawe M7 , actually olulala bwaabanga nolukiiko ne mukama we azitwalire mungalo amutende nga ebyo byebaweze ku zi radio endala zonna nti ye yatandikiddewo dda obutaddayo wadde kufukamirira Kabaka kuba yawulira M7 akyogera nalowooza nti naye bwanakyogera naalya obwa vise president .

    Nnammawe olya leero enkeera weerya enkuta ate mu kino ekiseera ojja kusanga nga Baganda bakyuuse ate bagamba nti kyerabira mugambi naye tekyerabirwa mugambibwa .
    Muyinza okukubagana okusanyusa M7 nga mwogera ebityoboola Abaganda naye bagamba nti omukadde akwasiza ku mmere ye wooba tokisubira webakikujjukiriza awo nga lugabire ogyambadde kibariga
    nooti aguudu filingi atoolo
    Naye bagamba nti kyosiga kyokungula , mwaami elephant balls gano gakyaali mabaga

    #25396
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Minister Alintuma Nsambu went too far

    I have a problem with the Minister of State for Information and Communication Technology, Alintuma Nsambu. The minister went too far. Can you imagine getting too personal with the Kabaka?

    It’s so absurd that this gentleman does not know his limits and for his information, the Kabaka was not even involved in what he termed as “an insult” when his subjects referred to Nsambu as someone from another tribe. How many times have we and our Kabaka been referred to as “Luo”?

    Mr. Minister, just know it that the Kabaka can’t get annoyed and it’s rather we his subjects who get annoyed. Trust me, expect a lot more of such treatment. Kneeling or not kneeling for the Kabaka is not an issue, and besides you are just one individual, whereas millions are always ready to kneel down before him. But it would be wise for you to remember that what goes round comes around.
    Rogers Kakoza
    Munyonyo.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 25 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.