Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ebyokumawanga / Diaspora Data › Biki Abaganda Byetusaanye Okukoppa Mu Nsi Mwooli?
- This topic has 6 voices and 14 replies.
-
AuthorPosts
-
December 15, 2009 at 2:04 pm #19073
Mulongo
ParticipantOba twongere okutereeza mu kibuuzo. Biki byolaba eyo mu nsi mwooli byolowooza nti naffe nga Abaganda mu Buganda yaffe kyandituyambye singa twaali tubikola nga abantu beeyo?
December 30, 2009 at 10:46 pm #25762Anonymous
Nze ndowooza nti Abaganda tusaanye okwagala ennyo ensi yaffe Buganda ng’Abangereza bwe bagala eyabwe. Bwokola business, sooka osembeze muganda. Ate naawe omuganda tobba muganda munno.
December 30, 2009 at 11:54 pm #25763Omumbejja
ParticipantObuvunanyizibwa ku buli kikolebwa,Banange ssente tekoleka bwooba ngosazeewo okugisasulamu omusolo olina okubuuza akana nakataano kiki kyekoze , simanyi mwe banaffe abali munsi endala ebyammwe bwebikola, naye nze wendi omusolo bagukkanda ekigenda ewala ate nebatakoma awo nti kasita wesisiggiriza gyokoma okusasula fine ate nga tebakomye kweekyo kyokka nokuwamba ebyobugagga bwo oba nassa lean ku property yo, omale okusasula amabanja agakubanjibwa
Kale bwewabaawo abatuuze kyebetaaga babawuliriza nokubakolorera ku kibaluma
Ngo jeeko nti batwaala ngo bulamu bwomuntu si bwakuzannyisa lwotomala gavuga kimama ekyo kyebavuga eka nebattira abantu mu makubo day in day out nga bamanyi nti tewali kijja kubakolebwaako .
Mukusooka oyinza okufa ngokolerera oyo gwokoonye bwekiba kivudde ku nguudo mbi abalabirira oluguudo bebakubwa mu mbuga era webigweere nga babakamuddemu obukadde bwensimbi , ngo jeeko nti insurance yo ekusasuza zikulemesa kuddayo kuvuga , nolweekyo okwegendereza kwo wekuli , nobugumikiriza.January 2, 2010 at 7:10 am #25772munabuddu
ParticipantOkusoma kyekintu ekisinga obukulu okukulakulanya ensi,naye newunya nti University emu bweti jetulina kumpi abantu obukade nga 7 telina na Website wogisanga.Kakati nebuza tunavayo tutya?
Universities,jendi,ezisinga zabantu,oba za non-profit organizations,zifuna obuyambi okuva wanno wali,oba zitunda emigabo abantu nebasobola okusamu cash,nezikulakulana bulungi.Kakati mu techinology century,otekwa butekwa okuba ne Website eyiyo ekola buli lunaku,abantu nebamanya biki ebibafako,nebatabisoma mumawulile.Kiyamba okutumbula essomero,era ne sente zeyongela,wamu nokusoma nekweyongela munsi.
Bwentyo bwendowoza!!
January 5, 2010 at 3:07 am #25791Ndibassa
ParticipantShagy kyoyogedde ekyo kwagala ensi yaffe kati abaali bazibirizza nokutwaala ebintu byaffe for granted bano banakunkunye dda batuwadde essomo, omanyi oluusi ogenda nogenda munsi engenyi neweyisa bulungi nogoberera amateeka gaabwe oluusi nosanga nga bantu nabo bakuyisizza bulungi newerabira nti ewammwe ezeeyo bano banazze kwonoona nakubba buli kyewaleka wo, ekyo kyekituzibudde amaaso, era kyekigenda kati okutuwaliriza okugeberera amateeka agafuga abagwiira naddala munsi ezitakkiririza ddala mugwiira yenna kuyingirira byansi gyakyaddemu kuba ddala bwotunula nolaba kyebakoze Buganda webuuza nti ddala lwaaki abantu abo bennyini bwebajja mu nsi za beeru yo tebaletayo gayisa gaabwe gabi nobujama bwaabwe nobubbi naye byonna nebabimalira mu Buganda ?
Ekyokuddamu kiri kimu nti munsi yo gwe kennyini nnyini nsi gwooba olina okwekwatira mumateeka go era abantu bo bennyini bebaba balina obuvunanyizibwa ku bintu byaabwe okuviira ddala ku byenfuna okutukira ddala kubyenjigiriza , wamu nembeera yabantu bo, kati awo osobola bulungi okujjawo omuntu yenna atakola mulimu gumuweebwa okusinga okukubira ensingo nti babano ba musenze alanda batumalawo buli muntu Katonda yamutondera ensiiye era namuwa ne right okwefuga nga bwaaba alabye kyeekyo kyetulina okukoppa munsi gyetusangibwa , kwekolera kunsonga zaffe
January 5, 2010 at 2:03 pm #25795Kalibattanya
Participantmunabuddu wrote:
Quote:Okusoma kyekintu ekisinga obukulu okukulakulanya ensi,naye newunya nti University emu bweti jetulina kumpi abantu obukade nga 7 telina na Website wogisanga.Kakati nebuza tunavayo tutya?Universities,jendi,ezisinga zabantu,oba za non-profit organizations,zifuna obuyambi okuva wanno wali,oba zitunda emigabo abantu nebasobola okusamu cash,nezikulakulana bulungi.Kakati mu techinology century,otekwa butekwa okuba ne Website eyiyo ekola buli lunaku,abantu nebamanya biki ebibafako,nebatabisoma mumawulile.Kiyamba okutumbula essomero,era ne sente zeyongela,wamu nokusoma nekweyongela munsi.
Bwentyo bwendowoza!!
Munabuddu eyo omazeeyo bbanga ki? University nga ziri buwumbi kati mu Uganda! Wadde ezisinga tezirina kyezisomesa, anti zifuba kuyisa ba Rwanyakitara, bwebamala bagende mu Havard oba Stanford oba Oxford ku seminaries ku sente zaffe balyooke nakyo bakiteeke ku mpapula zabwe. Awo nga befuga bulungi eggwanga lyaffe. Zzo university gyeziri mpozzi education yelina obuzibu. Kubanga nebijjankunene ebiluna ebiwanga abikalu ebyeereere ebitasobola kyonna biwebwa degrees, kasita biba nga biva mu West ne Rwanda.
January 5, 2010 at 2:10 pm #25796Kalibattanya
ParticipantAbantu beeno ekintu bwekikwaata ku ggwanga lyabwe bonna basituramu. Ate bwebaba tebannategeera, newaabaawo abantu ababakunga, tewaba ekituuka ku bantu abo. Kubanga awo basituka na bukambwe bungi nnyo nga kimanyise nti abantu abo battibbwa oba kutulugunyizibwa lwa kuyita bantu belwaaneko. Abantu eno ku bye ggwanga lyaabwe tebebaka. Bwewabaawo ayita basirika kubanga babeera bakyetegereza. Ekintu bwekimala okwelambikira ddala, olwo yenna abeera ebesimbyeemu abeera alina kwetegeka kwanganga obukambwe bwa bangi.
January 6, 2010 at 6:03 am #25799munabuddu
ParticipantMwatu Kalibattanya,ekyokuba ne University enyingi kati,nze sikifako nakamu,nfa kuyaffe,singa tugizimba nobuvumu,neba nga yesinga mubyonna,kija tuyamba nyo,nga bwenawadika,nti tusobola okugulamu emigabo nekulakulana,tuyinza nogigata kuzeno ebwelu era ne byeyigiliza,biba byamanyi kubanga,abasommesa baffe baba basasulwa bulungi,in the end netufuna abaliba abakulembeze ba Buganda abayivu obulungi,naye ssebbo,byonna byenkugambye bijja kutandika na University nga nungi,era ngelina Web site, nze kwekinuma,tuli mabega,era simanyi lwaki abali e Mengo byetuwandika,tebabidamu oba tebabisoma,nadala bekikwato,nga Minister webyenjigiliza,oba tebalina sente bogele tumanye,nze nfa kukusoma,era manyi nti ekalamu telimba,njagala Univesity yaffe nyo nyo naye mpandise,naye sifuna anzilamu,oba olina gwomanyi eka mugambe ademu tulabe kyetuyinza okukola.
Bwentyo bwendowoza!!
January 6, 2010 at 10:58 pm #25800Omumbejja
ParticipantMunabuddu Abaganda bangi abalina ebirowoozo ebirungi era bangi abagala ebirowoozo byaabwe okubissa mu nkola naye okujjako nga tumaze ffenna Abaganda okusitukira awamu okununula ensi yaffe tewali kigenda kukolebwa, nasomyeeko awamu mu mawulire ebibadde bigenda mumaaso eka nga bagamba nti abalina emirimu balina kuba mu good books e za Statehouse era eyo ba contributing-a yo sente buli mwaaka okusigala nga bakola kati gwe Omuganda kyonna kyoleeta okukulakulanya Buganda ba makinga sure nti ba ki-shooting-a down.
Mpulidde abantu bangi abagala okuggulawo amasomero eyo mu byaalo gyegatali oba clinics nebawereza ne byuuma oba amalagala naye banaffe bano ba najja kwonoona nebabikwatira gye babikwatidde oba mu ma store gaabwe ebyononeka ne byononeka , ngo jeeko nti nabantu okugezaako okwezimba oli natumya ebintu ebikosebwa okuzimba nebabikwatira yonna gyebayagala nebabireka ebweeru nebyononekera awo mu musana ne munkuba , kale okujjako nga tumaze okwezimba kiba kizibu nnyo okutandika okukola ekintu kyonna nga tukyaali nabantu abatatwagaliza kalungi konna.
Ekintu ku bimu byetulina okusokerako bebantu baffe okubazaayo ku buyonjo bwebalina ngekintabuli tekinajja, kubanga awatali buyonjo tewaba bulamu , kubeere kunywa kwambala nakusula byonna bikwaata ku bulamu bwaffe okusobola okuberawo nga twewala ,endwadde zetusobola okwewalanga twekumidde mubifo ebiyonjo nokulya wamu nokunywa ebitu ebiyonjo.
Tulina okusooka okukyuusa embeera gyetulimu eya katogo ko kwenyiganganako buli omu nasooka awa munne ebbanga awo kusizza nokwetayiza buli omu alina okusooka okudda ewaabwe okwezimba n’Abaganda bennyini badde mu byaalo bave mu kwenyiga mu ntobazzi nga baliko ettaka nebibanja oli wasobola nokussa nebwebeera ensisira naye ngali wagazi ate awayonjo.
January 7, 2010 at 6:34 am #25801munabuddu
ParticipantWebale kutesa,ndi mabegawo naye tulina okuwagila kyetulina,kubanga abantu abasomye bamanya bingi era tebeyisa nga abatasoma,nasoma ku basawo abagenda nebyuma e mulago ne man power okumala omwezi mulamba nga basomesa,era nokujanjaba abeka,osanga naffe tuyinza okufuna abazila kisa,nze ndi kusoma,kubanga manyi nti ekalamu telimba,waliwo kyebayita bulungi bwansi,tusobola okuyita mu mwoyo ogwo,nga bwetulinda lwelitonya,byoyogedeko byona nange mbiwulila,emisolo mingi nyo kubazukulu wa Kintu,naye we cant give up,singa Magulunyondo,asaba cement,emitayimbwa,bloka,omusenyu,okuva mubazilakisa,olowoza bameka abanayanukula omulangogwo,nga ekisulo kyabana tekigwa,oba nga tetumaliliza, wali Amin weyakoma kubulange munkola ya bulungi bwansi,nze sandyagade kusilika busilisi,era tuyinza okuweleza enkalu,nebakola,ebimu, kasita tuba nabesimbu,era nebatulaga byezikola,manyi sibyangu,naye jukila nyama ntono……….tuwagile essomero lyaffe,bingi ebijja okuvamu,ebilungi,njagala tukole test ku Bulange ewatagwa.
Nze bwetyo bwendowoza!!
January 7, 2010 at 7:47 pm #25807Omumbejja
ParticipantMunabuddu otesezza bulungi naffe wano twayita mu radio yaffe eno eya Baganda wamu n’Ababaka okusobola okudukirira abaana baffe bebasanjaga mu kwekalakaasa wamu ne byonna ebyaali bigenderako obubaka bwatuuka bulungi era netufuna nokuddibwaamu, bwo obusobozisi tubulina naye kati , twekunze Abaganda okukola omulimu ogwawamu kubanga ebitulinze bingi ddala.
Njakwongera okukutegeeza kuba waliwo ensawo eziyitibwaamu okuyamba abantu baffe naye nga kati bwekiri nti kukunga buli Muganda waali lindako tulabe entegeka nga bwezigenda mumaaso tulabe bwetunakyongera okukikolako nokuyamba Nyaffe Buganda
Awangaale Kabaka waffe Empologoma ya Buganda
January 18, 2010 at 8:53 am #25896munabuddu
ParticipantBanange Omumbejja oyinza okunfunila endagiliro yabobuyinza,abakola ku University yaffe,oba Minister webyenjigiliza,oba yenna agilamula?
Waliwo abagala okuyamba,naye simanyi kyabagamba,nge ku Net teliko.
Ssabasajja Kababaka Awangale
January 18, 2010 at 10:15 am #25901Mulongo
Participantmunabuddu wrote:
Quote:Banange Omumbejja oyinza okunfunila endagiliro yabobuyinza,abakola ku University yaffe,oba Minister webyenjigiliza,oba yenna agilamula?Waliwo abagala okuyamba,naye simanyi kyabagamba,nge ku Net teliko.
Ssabasajja Kababaka Awangale
http://mak.ac.ug/index.php?option=com_frontpage&Itemid=1
Yyo Makerere ku net kweeri, naye nange ndowooza nti essaawa eno Abaganda byetuyinza okuzimba bitono mu nsi yaffe. Okukotoggera wekuli era kwa maanyi, okwagala okulemesa okuva mu bujja nemitima emikyaafu nemububbi. Kimanyiddwa buli omu wonna nti buli kamu akakolebwa bakilimululu Abarwanyakitara babeera bakagalako era gyebiggweera nga M7 ne mob ye bakilidde bakivulunze bakyonoonye kyonna. Naye mu bantu abaava mu ttale nebadda mu nsiko olindayo ki? Nze ndowooza essaawa eno ekisinga obukulu kwejja mu matigga, tulyoke tuzimbe ensi yaffe nga tudda mu maaso nga tetulina bamwooyo nsolo batufutyanka.
Era awo wendeteera endowooza yange, Abaganda tujjukire omwooyo nga ogwa ba jjajja ffe ogutatiririra nsi yabwe na ddembe lyaayo. Wano wendi okwogera obwogezi ku kwongera okuwa abagwiira Visa wesanga mu kulonda tofunyeeyo yadde akalulu akamu. Ate nomala owaliza empaka abantu eno tebatya kulwaana. Abantu bali mu ddembe kubanga betegefu okulifirira, era anajja okulibajjamu ajja anywedde nnyo kubanga nekumusanga ayinza obutayitako. Ate tebalinda bintu kutuuka wala, olwogerawo kebalowooza nti kajja kuleeta ebizibu nga basitukirawo, era abantu bonna obalaba nga ebintu byensi yaabwe babitwaala nga bibakwatako ddala. Ekyo Abaganda tulina okukijjukira.
January 18, 2010 at 10:34 am #25902munabuddu
ParticipantMwatu Mulongo,sigamba Makerere,ndi ku Muteesa 1 Royol University oyinza okufuna information jembuziza,tuswala nyo nyo obukadde kumpi 8 ngeyaffe telina Net,olaba ne baganda baffe a bakonjo balina,kitalo!!
Ssabasajja Kabaka Awangale
January 18, 2010 at 10:56 am #25903Alex Kigongo
Keymastermunabuddu wrote:
Quote:Mwatu Mulongo,sigamba Makerere,ndi ku Muteesa 1 Royol University oyinza okufuna information jembuziza,tuswala nyo nyo obukadde kumpi 8 ngeyaffe telina Net,olaba ne baganda baffe a bakonjo balina,kitalo!!Ssabasajja Kabaka Awangale
Mulamwa gwa maanyi guno Munnabuddu. Naye ne Makerere nayo yaffe ya Baganda, vva kubyaabo abagala okwezza buli akava mu ntuuyo za Baganda.
Eno ye link ya Muteesa I Royal University.
http://mru.ac.ug/index.php?id=libraryZino ze ndagiriro namasimu.
The Academic Registrar
Muteesa I Royal University
P. O. Box 14002
MMENGO-KAMPALA, UGANDA, (East Africa)
Tel: 0417-711069
E-mail: muteesa1royaluni@yahoo.comThis e-mail address is being protected from spambots, you need JavaScript enabled to view itRELATED INFORMATION CAN BE AVAILED BY THE FOLLOWING OFFICES:
The Vice Chancellor
Tel: 0434-251459
The University Secretary
Tel: 0417-711069 -
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.