Bomb scare causes panic in Kampala

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Omw Africa / The African Bomb scare causes panic in Kampala

  • This topic has 6 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #17521
    MachatiMachati
    Participant

    Bomb scare causes panic in Kampala
    Daily Monitor Reporter
    News | October 30, 2009
    Business along Kampala – Bombo road was today morning brought to a halt following a bomb scare.

    The anti terrorism squad was quickly deployed at Bhatia Towers near Kampala Pentecostal Church (KPC).

    Many shops were closed down after police cordoned off the areas to start the search for any bombs.

    However, calm has returned to the area after the police picked up the suspicious object. Business is back to normal as police continues investigations.

    Police said that an anonymous person called Central Police Station and reported a suspicious ‘object wrapped in a polythene bag’.

    “We dispatched the police Anti Terrorism Unit personnel at the scene at Bhatia Towers and they removed the object. We are still analyzing it,” Deputy Police spokesman Richard Musisi told Daily Monitor.

    Security has been on high alert following threats by the Al-shabab a Muslim extremist group in Somalia who vowed to attack Uganda last week.

    A senior leader of the al-Shabab militant group last week said that the rebels would strike within Uganda and Burundi in retaliation for civilian deaths allegedly caused by the African Union Mission in Somalia.

    The rebel leader accuses the peacekeepers under AMISOM, of being responsible for the shelling of a packed civilian area on Thursday last week which reportedly killed more than 30 people.

    However, President Yoweri Museveni said that Al-Shabaab would pay dearly for any attack attempted on Ugandan soil.

    #25487
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    “However, President Yoweri Museveni said that Al-Shabaab would pay dearly for any attack attempted on Ugandan soil.”

    Ate alinda ki? Baabo bamaze okumwegeezaamu! Wabula obuzibu guli mukulowooza nti beebo ngate balala. Anti nokubeera nabalabe abangi!

    #25489
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Kayikura anawonya ku mbwa ezibadde zimamidde wonna kati zonna bwana zitraininga mu week emu okuwunyiriza, bbomu za batujju ajja kuba afunye two in one ,
    Waliwo bajjajja ffe kyebagamba nga nti oli yessizza mu butaala nga bategeeza eya tadooba ate nga teriimu mafuta.
    Ekyabatwaala okutujja abatujju zaali ssente and of coarse abatujju balina ssente ate kati bwebasalawo okuleeta olutalo munsi enjavu nga Uganda baba bamenya mu jjenje ssirivu, kuba nooyo yennyini gwosizaawo okukukuuma akunonyeza akatale , ani amuwaamu ezisingawo, bibi B) ate byonna bijja bigereke

    #25498
    KulabakoKulabako
    Participant

    MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKIKUUMA BAKIKUMIRA BWEREERE
    OMUYEKERA BWEBAKUYEKERA NAAWE TEWEBAKA, WANO NE TEAR GAS GWOBADDE OKUBA ABANTU KATI, OMWERABIDDE OBALIKO BEWEGAYIRIRA BAKUTEMYEEKO NGA BALABYE OMULABE OMWERABIRA , NEMIGGO GYOBAYISIZAAKO , NEBOGGALIDDE MU MAKOMERA NEBOKYAYOOLA , OYAGALA NGA TONABAGGALIRA MU MAKOMERA BAMALE OKUBBIRAKO NTI BALINA GWEBEKENGERA , KINO OMUGANDA KYAYITA OWETTULU OKUTEMYA KU WABIRI NTI LABA, ATE WALIWO NALUNO OLUGAMBA NTI OMUKADDE AKWASIZA KU MMERE YE ,NGO MUGEZI ATADDEWO ENNYONDO ABUUZA OMPAAMU MMEKA GOING ONCE GOING TWICE ……..SOLD B)

    Ataddewo emiziziko 12 agimenya gwe bakuba

    1257001695sevo.jpg

    Bnnalukalala bano batiisizza okulumba Kampala bagikube ne bbomu nga balanga gavumenti okusindika amagye mu Somalia okubatangira okutta.

    Bya Margaret Ziribaggwa

    BANNALUKALA ba Somalia aba Al Shabaab nga ke kamu ku bubinja obuwamba emmeeri ezitambuza ebyamaguzi ku liyanya kirimulaala, batiisizza ne bategeeza nga bwe bategeka okusuula bbomu ku kibuga Kampala ekya Uganda ne Bujumbura ekya Burundi. Bagamba beesasuza olw’ebikompola ebyatta abantu baabwe 30 mu kibuga Mogadishu n’amawanga gano okutwala amagye mu Somalia.

    Abatujju olukongoolo balutadde ku Uganda ne Burundi kubanga ge mawanga agalina amagye mu Somalia okukuuma eddembe. Pulezidenti Museveni bwe yabadde aggalawo olukung’aana lw’omukago gw’amawanga ga Afrika olwa African Union Summit mu Kampala, yalabudde abatujju obutagezaako kulumba Kampala kubanga ekinaabatuukako baakukyejjusa.

    Okwerinda si buti ne gavumenti evuddeyo n’essaawo emiziziko egiwerako egigenda okutangira Abasomalia bano era anaagimenya amateeka gagenda kumukangavvyla.

    Batandikidde ku kuwandiisa okumanya omuwendo gw’Abasomaali n’ebibakwatako. Okwewandiisa kukolebwa mu Kisenyi mu Kampala ng’eno gye basimba amakanda nga bawaayo amannya gaabwe, gye bakolera n’abantu be balabirira.

    Omumyuka w’akulira ekibiina ekigatta Abasomalia mu Uganda Roble Abdulayi agamba nti Abasomaali balina okuwaayo obufaananyi bwabwe bubiri baweebwe kaada. Balina okulaga gye babeera ne nnannyini mayumba kwe basula.

    Poliisi esabye Bannayuganda babeere basaale mu mulimu guno baleme kugulekera gavumenti yokka .

    Buli muntu asabiddwa okumanya Abasomalia abali mu kitundu kye, ebibakwatako era bwe wabaawo gwe mwekengera mutuukirire poliisi ebali okumpi esobole okukola okunoonyereza.

    Singa olaba omuwendo gw’abantu ababeera mu nnyumba yonna nga gweyongedde kyokka nga tebeeyanjudde mu butongole tegeeza poliisi oba abatwala ekitundu ensonga zaabwe ziyingirwemu mangu.

    Abakuumaddembe abali ku nsalo eziyingira mu ggwanga balagiddwa okwetegereza abantu abayingira mu ggwanga n’ebintu bye bayingira nabyo okukakkasa nti si byabulabe.

    Poliisi y’oku kisaawe yayongedde okwekeneennya abantu abayingira naddala abagwira n’ebintu bye bajja nabyo okukakasa nti si byabulabe. Ennyanja n’ebizinga nabyo bitunuuliddwa nnyo.

    Singa owulira omuntu oba abantu abatambula ekiro mu kitundu kyo, tegeeza aboobuyinza.

    Bw’osanga ekintu ekisuuliddwa ku mabbali g’ekkubo oba ennyumbayo oba mu takisi n’okyekengera tokikwatako wabula okuyita abakuumaddembe.

    Abatambulira mu takisi bwe mulaba abantu be mwekengedde oba abalina bye balese mu mmotoka tegeeza poliisi kubanga tomanya ekintu ekirekeddwa mu mmotoka kyandiba ekyobulabe.

    Abalina ebifo ebisanyukirwamu ne wooteeri, poliisi ebasaba okwongera okunyweza ebyokwerinda nga mukebera abantu abayingira mu kifo. Tebalina kukoma ku kukebera bantu bayingira bokka wabula n’okwetegereza emmotoka ezisimba mu kifo kino ssaako ezibeera ezirekeddwaawo okumala ebbanga.

    Abalina kkampuni n’ebitongole bya gavumenti nabyo birina okwongera okunyweza ebyokwerinda nga bakebera abantu abayingira n’ebintu bye batambudde nabyo.

    #25505
    BusagwaBusagwa
    Participant

    One journalist termed it “Credit Crunch Security” meaning that they are looking for money..and of course intimidating Ugandans!
    Museveni kati nebwalaba ensiri agiyita Njovu!! Kyaava aboonyabo
    nya Mukaziwattu Betty Nambooze!! kale mazima mwebuuze yamukolaki
    okujjako okumusinga amagezi!!anti bagamba Negwozadde..akukubira
    engoma nozina..There are more Namboozes on the way!!!!

    #25508
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Busagwa kyogereko, ye M7 amanyiddwa okulwaana nga kozesa lugambo ate kati akoze kyonna BigDaddy amuwe sente neekyo ekyo kukubamu obutale bwa banaabwe okuttiramu abantu abatalina musango ate nga si bebakutte emmundu , bakikola kulaga babawa ssente nti naffe tusudde emirambo mutwongere ssente , kuba kyo ekyokuttanga abantu obwemage bakiyonkanga ku nte ezo zebakulussanyanga kuttale .

    Kati olwokuba abantu be beyassa mumirimu buli omu anyaga sente nga zikukulira ,tasigazza ssente yakulabirira busirikale obunyaluse aids ne njala kati kwekusalawo agende mu sitenseni alaye enduulu nti wolf yiino ezze kati bo abeeru badduke bamuyiire obutitimbe bwassente bazigabane nga bulijjo .

    Bano ba Rwanyakitaala buli kiseera babakwatira mukituli nga babba teri noomu gwatwaala Luzira na mu makomera amalala okujjako okujjuzaayo abaana baffe kuba okutya kumuli bubi.
    Bagamba nti awakula ennume tewakula emu , kati kano Abaganda kebazibuse amaaso kijja kuba kizibu okuddayo okubebasa

    WHAT WONT KILL YOU MAKES YOU STRONGER

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.