BUGANDA BULI LUKYA BASUULAMU OBULABE

This topic contains 1 reply, has 2 voices, and was last updated by Basajjamivule Anonymous 7 years, 4 months ago.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #17979
    Basajjamivule
    Anonymous

    [attachment=2545]obusaanyi.jpg[/attachment]
    Ab’e Buddu ne Mukono basattira lwa busaanyi, babadde bakyadaga n’akawuka k’emmwanyi n’ebitooke, kati balumbiddwa obusaanyi.

    Ab’e Buddu ne Mukono basattira lwa busaanyi, babadde bakyadaga n’akawuka k’emmwanyi n’ebitooke, kati balumbiddwa obusaanyi. Kabango Fred ategeezezza nti bwe yatuuse mu bitundu obusaanyi buno webwalidde, yakizudde nti bujja kufuuka ebiwojjolo.


    Ekintu kinno kyanewuunyisizadda lwaki mu Buganda, siliimu yatandikira Rakai mu Masaka buganda, ekibuuzo kilinti lwaki, era ani ali emabega wa genocide eno????

    Abalimi b’e Buddu babadde bakyadaga n’akawuka k’emmwanyi n’ebitooke, kati balumbiddwa obusaanyi obulya buli kibala ekya kiragala. Abalimi mu bitundu by’e; Ddimu, Kyesinga, Kyanamukaka, Buyaga ne Bukakata be balumbiddwa obusaanyi, nga businga kwettanira omuti gw’oluzibaziba.

    Wabula atwala ebyobulimi e Masaka, Kabango Fred ategeezezza nti bwe yatuuse mu bitundu obusaanyi buno webwalidde, yakizudde nti bujja kufuuka ebiwojjolo era n’abagumya nti busobola okufuuyirwa ne bufa kyokka n’alabula abaliraanye olubalama lw’ennyanja Nalubaale gye businze okukosa obutabufuuyira kubanga kyandiviiramu okwonoona ebyennyanja ssaako omutindo gwabyo okugwa.
    Abalimi b’e Buddu babadde bakyadaga n’akawuka k’emmwanyi n’ebitooke, kati balumbiddwa obusaanyi obulya buli kibala ekya kiragala. Abalimi mu bitundu by’e; Ddimu, Kyesinga, Kyanamukaka, Buyaga ne Bukakata be balumbiddwa obusaanyi, nga businga kwettanira omuti gw’oluzibaziba.

    n’abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulimi basabye abalimi okwogera okufuuyira ebirime byabwe ebitannafuna busaanyi buno era n’abasuubiza nga bwe bagenda okusooka babafunireyo lita z’eddagala 100 batandikire okwo nga bwe basaba ne gavumenti ebayambe ku kizibu kino. Akulira ebyobulimi e Mukono, Mukasa Mabira yasabye abalimi obutafuuyira birime byokka wabula n’ensiko eriraanyeewo kubanga gye buva.

    #27845
    Musajjalumbwa
    Musajjalumbwa
    Participant

    Plot erabika nnene ddala, buno bu Museveni buddu bwa baddu ba muddu. Takijja kubeera kyangu ekizibu kino okukyeyambula, naye mu kufuba okwa bangi atenga kungi tujja kuwangula.

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.