Home › Forums › Ababaka Discussions for Unity and Peace › Ggwanga Mujje / Come Nation › Buganda N’abagenyi
- This topic has 13 replies, 6 voices, and was last updated 3 years, 1 month ago by Mulongo.
-
AuthorPosts
-
October 4, 2008 at 5:17 am #18873
Obuganda bwayaniriza abagenyi, bwasenza abanaku, bwajjanjaba abakazi abembuto abajja banoonya obubudamu, bwasomesa abaana abeborereze abataliko ba kitaabwe abava emitala, bwalabirira nenfuuzi ne bamulekwa aba mawanga amalala. Ebyavaamu, Obuganda busasulwa kubbibwa, kutemulwa, n’obukyaayi obwa buli langi. Abateesa muteese engeri gyemulaba Buganda gyeteekwa okuva kati nokweyongera okwekengera ku bantu abajja nge misege egiri mu maliba ge ndiga.
October 4, 2008 at 6:42 pm #19829Bwetubanga twagala okufuna obutebekenvu nga buno obwazino ensi gyetwaddukira, tulina okulaba nga twekuuma mu ngeri eya maanyi ddala nobumalirivu. Museveni omulimu gwakoze obulungi, gwe gwokubanga yasanga abantu abekisa, naye agenda kubaleka nga bantu bakambwe okusinga. Abagwiira abalijja mu Buganda nebammibwa obubudamu tulibayita abafunye ebibala kya Obote,Amin, Museveni ne bannaabwe. Oyo gwetulikubiramu ekigambo nti Museveni nga oyo takkirizibwa kudda yadde ku nsalo za Buganda.
October 5, 2008 at 8:17 pm #19835Bano nabo bakyayitibwa bagenyi? Kino kibambulira.
October 6, 2008 at 7:04 am #19844Abagenyi abaawa otegeeza bano banarengedde ettaala eyaka, nakonkona nomuggulira newejaga nomutwaala ku kyooto nakugamba nti amateeka gakyuuse kyewatannamako kimala kati nze ntannama naggulirawo nebanne abalaalo squard bonna nebatannama ate nebakukwaata nebakukanyuga ebweeru nebakugamba nti kati nabo bannyinimu. awo ngogenda mu dictionary yo Luganda ngosangulamu ekigambo mugenyi kuba tekikyayamba ate kiri na dangerous.
October 6, 2008 at 10:44 pm #19852Bwewekennenya obulungi, okuyita abantu bano abagenyi kuba kwonoonera ddala kigambo bagenyi. Era nga awo oli okukugamba nti nja kujja ewuwo ndye obugenyi, oba nkuletera abagenyi obeera olina kuyita police, nakujjayo byakulwanyisa, nga kwotadde nokwongera obukondo ne kufulu ku luggi. Eyawandiise omulamwa ajje ajjewo ekigambo bagenyi, tulyoke twongere okukiika.
October 7, 2008 at 5:01 am #19857Buganda teyitangako muntu yenna alina waabwe kujja mu Buganda kukyaala era sirowooza nti erina gweteekwa okuyita omugenyi . Omugenyi ye muntu gwomanyiiko akakwaate ka lube luganda oba mukwaano era nsubira nti oba tolina kumwekengera kuba oba omanyi nti tazze kukulumba kyoova olaba nti Abaganda bayanguwanga okumuwa obubaka nti omugenyi mubi simwagala njagala agende , ngalaba nti atandise okumuzibako akayumba.
Wano ekigambo ekituufu okukozesa kya banoonyi ba bubudamu kuba nebwogenda awalala wonna bwe bakuyita. Abalala abayingidde mu Buganda nga bava ewaabwe ekyeyagalire nga tebalina ntalo naye , nebasigala nabo nebatandika okwe begerako, kyokka nga balina n’ewaabwe nga bo tebagala mulala yesazeeyo. Abo betwandiyise ba nakigwanyizi abeyagaliza ebya banaabwe naye nge byaabwe tobikwatako abo bowulira nti abamawanga gundi babajjiddeyo amafumu nembukuuli nebabagobayo , kyokka ogenda okulaba nga bbo Buganda bagigabanye kyeere.
Omugenyi ye muntu akulaganyizza nomukyaaza ate namala nasibula naddayo ewaabwe mu ddembe so si ajja nakagugu ku muggo na nakuteega okukuba akatayimbwa nga bukutte.
October 7, 2008 at 6:52 am #19865Eno batuyita ba Immigrants ekitegeeza nti Abanoonyi bobubudamu. Neyajja okusoma bwotoddayo nga omaze era ofuuka munoonyi wa bubudamu. Neyajja nga oli muto nabazadde naawe obeera munoonyi wa bubudamu. Neyazalibwa kuno abeera munoonyi wa bubudamu owa kyebayita second generation- Omugigi omupya. Kale bagenyi mukimenyewo, ekigambo ekikozesebwa ensi yonna kye kya banoonyi bobubudamu. Era tebajja kukyaala bajja kubudama. Mpozzi ekyebuzibwa ge mateeka agafuga omubudami n’amubudamya, mu nsi yonna. Ku ago kwetujja okusinziira okulaba obanga ffe twakola ensobi oba bbo abatannama okusinga nyinimu.
October 7, 2008 at 7:27 pm #19878Kalibattanya kati eyo yensonga eteekwa okutesebwaako kuba kirabika nti mu Buganda wokka we watali mateeka gakwaata kumuntu ayingirawo abe nga azze kusenga oba nga zze kubudama ago genyini getulina okuddamu okutunulirira okusinziira ne munsi gyetusangibwa engeri gyebagasaawo nokugobererwa biki ebitasobola kukolebwa munoonyi wabubudamu oba omusenze .
Kuba njagala nkutegeeze nti amawanga amalala kanku ekyokulabirako Rwanda abasinga bakulidde mu Buganda basomedde eno nebajjanjabirwa nebafuna buli kimu ku bwereere nebasalawo nokuwefunira si kbibanja wabula yiika nayiika za Takka naye gwe wesaaze ewaabwe bajja kukutegeeza nti bwotoba mu Nyalwanda tosobola wadde kufunayo kibanja .
Genda wano mu Uganda amawanga amalala go gakwaata amateeka gaabwe okuva ku ntandikwa era kasita okubayo olubu lwebigere embukuuli ogiwulirira ku mutweegwo ngosibamu bwanguwa ngo viira ekibambulira.
Naye abo bonna bakunganidde mu Buganda batubuzizaako obwekyusizo buli lwetwemulugunya nti babano batusososla batugobaganya ,n’obabauuza nti twabayita ? ewammwe mmwe temwagala ffe tugendeyo lwaaki mwesiba ewaffe? enkulakulana gyemunoonya enebeera mu Buganda wokka ? tulina okuddayo okuzaawo amateeka ga Buganda geyalina okusobola oku balanci-nga embeera.
Tekisoboka kuba nti ebitakolwa mu mawanga amalala wonna bikola mu Buganda wokka.October 12, 2008 at 10:59 am #19915Nzikirizza ensonga nagyanjula bubi, tebali era tebabangako bagenyi, tuleme okwetamya abantu okukyaaza. Banagoba nabenganda zaabwe. Banoonyi ba bubudamu abalagibwa ekisa, abasangibwa omusamariya omulungi nga bagudde ku makubo. Kati bali ku Musamariya bakuba, babba. Kati Omusamariya ono omulundi omulala akole ki? Era addemu ave ku bibye ayambe?
October 15, 2008 at 2:54 am #19939Gavt. erwanirire ku bannansi
Ndi mweraliikirivu ku ngeri Gavumenti gy’ekuttemu Abayindi. Kyannaku nti ate baabakkirizza okudda kuno kyere. Abantu abo tusaana tubasseeko ekkomo.
Mwasooka ne mugamba bajja nga bannaggagga wabula ekyanneewuunyisa baatandikawo emirimu nga egyaffe kyokka ate era ne baleeta abantu baabwe okukola mu bizinensi.
Ffe batusosola nnyo mu mawanga g’ebweru siraba lwaki ate tubiibiita abagwira abajja kuno. Kyannaku nti Abayindi bano balina n’emisolo gye babasonyiwa, ffe bannansi ne tubonaabona.
Kino kiraga nti Gavumenti tefuddeeyo kulwanirira bannansi. Nsaba mutuyambe naffe tusobole okweyagalira mu nsi yaffe.James Galiwango,
Makindye.
bukeddeOctober 28, 2008 at 9:23 am #20118‘Musabe balisseeko abasenze’
Asiimwe (ku ddyo) ng’ayogerera mu lukiiko.
Bya John Niyonzima
OMUYAMBI wa Pulezidenti Museveni mu byobufuzi, Jacob Asiimwe awadde amagezi abatuuze mu Disitulikiti y’e Kiboga okusaba abakulembeze bayise ekiteeso ekisaba ebitundu by’ebibira bisenzebweeko abantu.
Asiimwe bino yabyogedde asisinkanye abatuuze b’Eggombolola y’e Lwamata abaamukaabidde nga disitulikiti bw’emaamiddwa ettaka ly’ebibira ekiyinza okuleetawo enjala kakutiya singa teribaweebwa.
Omutuuze Richard Yawe Balimunsi yagambye nti gavumenti eri ku kaweefube wa kukyusa bbago ly’etteeka ly’ettaka kyokka nga Kiboga erimu ebibira bya gavumenti 14 ng’amagombolola agasinga okukosebwa mwe muli ey’e Bukomero, Lwamata, Kapeke, Kibiga, Mulagi, Wattuba, Ntwetwe, Nsambya ne Gayaza era ng’ebitundu awali ettaka eggimu we baasimba emiti.
Asiimwe yagambye nti ab’ekitongole ky’ebibira beeyambisa amateeka g’okukuuma obutonde bw’ensi kwe kuwa amagezi abakulembeze ba disitulikiti batuule bayise ekiteeso ekisaba ekitundu ky’ettaka ly’ebibira kitwalibwe mu palamenti kiteesebweeko bisenzebweeko abantu.
Published on: Monday, 27th October, 2008
October 28, 2008 at 9:31 am #20119Bano bannafe abekisa ewaabwe teri bibira byebasobola kusenzaamu bantu leero Buganda gyebesibiridde okuleka nga Dungu , nze ssirabanga bantu batalowooza ate bali selfish nga bano ensi yonna ekuba nduulu kulekeraawo kutema bibira kuba byebikuuma obutonde naye bano abantu baganidde ddala okukiyingiza mu mitwe gyaabwe. siraba lwaaki yekoloobya bi mbu muleete ekiteeso mu pariament ate oba bebaliyo lwaaki okutambuza abalaalo obwereere ndowooza yatidde wa camera oba mu nnamawulire kuwulira nga bagamba nti wonna wammwe mwegazaanye mu bibira nga bwemwagala.
December 23, 2008 at 5:48 am #21241Agukkirizza
MUNNAKENYA abadde yeeyita ajjanjaba abantu era ng’agamba nti awonya siriimu, agguddwaako emisango okuli okweyita ky’atali n’okuddukanyiza emirimu mu ggwanga nga talina bbaluwa.
Samuel Wesonga Makobi 35, bwe yatuuse mu maaso g’omulamuzi Francis Dawa Matenga ku kkooti ya Buganda Road, emisango n’agikkiriza n’atanzibwa emitwalo 60, oba okusibwa omwaka mulamba.
Yasasudde era n’ateebwa. Omulamuzi era yalagidde akalwaliro ka Makobi, aka Multi Molecular Advancement Research Center okuggalwa.
Kibadde kigambibwa nti omusango yaguzza wakati wa September ne December 2008, bwe yeefuula omusawo ajjanjaba abantu endwadde omuli ne siriimu ate ng’akolera mu ggwanga nga talina lukusa.
Published on: Monday, 22nd December, 2008December 23, 2008 at 7:24 am #21244Rid the health sector of quack doctors
Editorial
The recent arrest in Kampala of Mr Sammy Wesonga Makopi, a Kenyan, who was operating an illegal clinic that used oxygen to “treat” various diseases including HIV/Aids and cancer, is only an eye opener of the danger Ugandans are exposed to due to lack of proper surveillance of the medical practitioners.
What is even more disturbing is that it took a directive from President Museveni to the Inspector General of Police to have the man apprehended. By the time of his arrest, Mr Wesonga Makopi who is alleged to have fled justice in his native country, had administered his oxygen therapy “treatment” to some 40 Ugandans in two months at Shs600,000 each.
Dr Medi Kawuma, who heads the Uganda Medical and Dental Practioners Council (UMDPC), which monitors medical practitioners, described the man as “dangerous to society.”
Cases of illegal clinics and quack doctors like Mr Wesonga are all too common in this country but no one can tell why the police and the Medical Council seem to cast a blind eye on them to the detriment of the community.
In May 2006, Mr Elahi Allahgholi, an Iranian national, was arrested for making and selling expensive drugs without the approval of the National Drug Authority (NDA). For two years, Mr Allahgholi claimed that his herbal ‘medicine’- Khomeini — was a cure for HIV/Aids, and many unsuspecting patients were duped into buying the ‘drug’ expensively.
In an another case, UMDPC suspended the late Prof. Charles Ssali from practising medicine after finding that his Mariandina pills were mere food supplements and not a cure for Aids. But by the time the disciplinary measures were taken against Prof. Ssali, many people had been fleeced of millions of shillings over a long time.
There are important laws on our books governing medical practice but there is no interest on the part of the police and other concerned authorities to enforce them. The National Drug Policy and Authority Act mandates the NDA to regulate the administration of drugs in the country.
But under the very noses of the NDA, some unscrupulous people are flooding the city streets with adverts of drugs with claims that they can do all sorts of things including enlarging bums, breasts and manhood. Daily on FM radios and in newspapers, people who claim to be “doctors,” are inviting patients to go for treatment and healing, in total contravention of the Medical and Dental Practitioners Act.
The Medical Council and police should not wait for a presidential directive to start executing their mandate. The public is in obvious danger and our health sector must quickly be relieved of quack ‘doctors.’
MONITOR
-
AuthorPosts
- You must be logged in to reply to this topic.