BUGANDA NGA BWEYONONEBBWA KATI

This topic contains 16 replies, has 6 voices, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 10 years ago.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 17 total)
  • Author
    Posts
  • #19105
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Embalaza n’enguudo zifuuse loogi, wooteeri n’ebiyigo

    BYA EDWARD KALUMBA NE JOSEPH MUTEBI
    ABAGANDA bagereesa nti ebiyita ekiro ne Kangaawo yeetikka. Olugero luno lutuukira bulungi ku mbeera y’ekibuga Kampala bw’otunuulira ebikolebwamu ekiro.

    Ssaawa okuwera bbiri ez’ekiro, Kampala afuukuuka. Byanabiwala ebirenga emibiri gyabyo biwamba buli nsonda ya kibuga, buwooteeri bumeruka ku mbalaza z’ebizimbe ne mu paaka za takisi wakati, n’abatunda ebintu ebyayitako n’ebitawera ne babiyiwa ku luguudo okubiguza abaagala ebya ddondolo.

    Kuno kw’ogatta abatya okukonkonebwa balandiroodi ne beebikka ebiveera, obudeeya nebigoye ebikadde ku mbalaza.

    Ono ye Kampala ekibuga ekikulu ekya Uganda!

    Ku Lwokutaano wiiki ewedde abasasi ba Bukedde, Joseph Mutebi ne Edward Kalumba baasuze mu kibuga Kampala okulaba ebikolebwamu.

    Ssaawa ku 11;00 ezakawungeezi abakozi batandika okunnyuka okudda ewaabwe era zigenda okuwera nga 3:00 ng’abasinga ekibuga bakidduse sso ng’abalala naddala abadigize bakiyingira buyingizi.

    Mu bakiyingira akawungeezi mwe muli abatunda tonninnyira. Bano bettanira nnyo paaka za bbaasi, takisi, Mukwano Arcade, okumpi n’essundiro ly’amafuta erya Caltex, oluguudo Kafumbe Mukasa ne Bule Room.

    Abasinga okugula emmere eno be batambula eng’endo empanvu ababa balindirira bbaasi, abavuzi ba bodaboda, sipesulo, bamalaaya, abaleeta ebyamaguzi mu butale n’abadigize abava n’abagenda mu ndongo.

    Waliwo abawala abayingira ekibuga okutandika n’essaawa emu. Bano basibira ku nzigi z’amaduuka, enkuubo z’oku bizimbe ne bbaala olwo ne beesimba mu ngeri esikiriza abasajja babaguze omukwano.

    Abalala beesimba nga miti gya ssimu ku nguudo nga William, Wilson, Luwum.
    Omuwala eyeetundira mu kifo kino bw’afuna kasitoma, emikolo batera kugimalira mu bigaali ebisindikibwamu ebyamaguzi. Bino bisinga kusimbibwa ku Wilson.

    Abalala balinnya waggulu mu nkuubo z’ekizimbe kya City House ne bakikolerako eyo, anti teziggalwa.
    Sooti esasulwa wakati wa 2,000/- ne 3,000/-. Wabula n’owo 1,000 bw’oyogera obulungi bakulengerako.

    Bamalaaya abamu ku be twayogedde nabo bagamba nti ekisudde ebbeeyi be bawala abangi abeeyongera okweyiwa ku nguudo.

    Kyokka bw’ogula malaaya okuva mu bifo ng’awaali Sax Pub e Nakasero, ekikuubo emabega wa Radio One n’okwambukira ddala ku Speke Hotel n’okwetoolola, oteekwa okuba nga waleti yo nsanyufu. Tebakka wansi wa 5,000/-.

    OLUSU

    Obudde bwe buziba Kampala acuuma okukamala. Alina ensu 16 ez’enjawulo z’awunya ezikuleka nga weegoga.

    Ensu z’amazzi ge bayiwa okuva mu loogi eziri ku Arcade ez’enjawulo, emidumu gy’akazambi gwe bata ekiro n’asaasaanira ekibuga, omusulo abantu gwe bakunkumula buli we basanze, enjaga gye bakommonta ekyere ne kasasiro gwe bayoola ekiro abakazi mwe basuula embuto ze bawakankuddemu. Kuno kw’ogatta enfuufu esaasaanira ekibuga mu makubo ge beera ekiro wamma gwe n’olaba akatogo.

    Kye twazude kiri nti abo abantu abasula ku nguudo z’omu Kampala si bamasikiini. Abamu baakoowa balandiroodi.

    Ku mbalaza kwe bava okugenda okuyiiya. Kyokka n’abaserikale olumu tebabaviirako awo, abamu babasikamu ssente za ‘rent’ (soma lenti).

    Okunaaba bwe kutuuka, bangi amazzi bageeyiwirako awo ku mbalaza ate abalala ne banaabira mu nzizi eziri mu paaka enkadde ne mu mwala gw’e Nakivubo.

    N’olwekyo oli bw’akugamba nti Kampala si bizimbe, abeera takulimbye!

    Published on: Tuesday, 4th November, 2008 From Bukedde

    #20278
    Jona
    Jona
    Participant

    Hha, kino kitalo. Kampala waffe…

    #20283
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Kano kebayita akatogo akaduze,twetaaga ekyeeyo ekya masanyalaze

    #20574
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Akeedi z’omu Kampala zifuuse mpuku za babbi

    Munda w’emu ku Akeedi z’omu Kampala.

    1227010233babbi.jpg

    Bya Robert Mutebi
    DDADI jjangu kaakano akaayase… oyo muveeko tamanyi bya kwambala obufun a buubuno mugagga………’

    Bw’oba ebyo obadde obimanyi mu butale bwa mubuulo oba Owino, ne mu Akeedi gye wandisuubidde okugula ebintu mu ngeri y’ekikungu nga tolina akutaataaganya bituuseeyo.

    Nga wayiseeko mu zimu ku Akeedi zino abantu ze bawaana n’okutenda okusinziira ku ndabika yaazo wamma osoberwa.

    Zikirako nguudo zigenda mu ppaaka ya bbaasi olwa faasi faasi ataggwaayo. Bwe kituuse ku nkola eyakazibwako ery’atunda ayolesa, wamma ne gujabagira.

    Waggulu ku bisenge, ku mabbali gaabyo, ku buuma obutangira omuntu okugwa wansi wonna ngoye ze zitimbiddwaako.

    Wansi ku sementi, mu nkuubo abaguzi mwe balina okutambulira bayiyeemu ngatto na nsawo era abantu batambula bali ku bukenke bwa butatomerwa mpozzi nga bw’olaba abayita ku luguudo lw’eggaali y’omukka.

    Abakuba obugatto okuyita n’okusikiriza abantu baba bakyali mu, “Pwa…pwa.

    weegulire ku kambalo akaanyumye naawe oveewo ng’oli ku mulembe mwana w’eka”, ng’ate olaba balala kukuwugula nti ‘toloba jjangu weeyiwemu obwayase tubulina wano bboogi…”

    Abamu bwe balaba tofaayo ku bye bakugamba, olabira awo nga bakusise emikono.

    Bw’oteegendereza, mu bakuyita olumu mubaamu n’ababbi. Bw’omugoberera, weesanga akututte mu kafunda oba kaabuyonjo ng’akubbiddeyo!
    Enteekateeka ya Akeedi mu Kampala, yali egendereddwaamu kuwonya baguzi kugenda mu bifo ebitali bitegeke bulungi.

    Omugotteko oguli mu Akeedi z’omu Kampala guwalirizza abasazi b’ensawo okwewogomayo era bw’oloberayo ovaayo tosigazza yadde ekuba ennyonyi.

    Ebizimbe ebimu byazimbibwa nga byakubeeramu amaduuka 300 kyokka weesanga mulimu 400 nga 100 ga kimpatiira.

    Mu mbeera eno, omukugu mu by’ebizimbe mu kitongole kya KCC, Musa Magala agamba nti abazimba Akeedi bafiirizza KCC ensimbi nnyingi olw’amaduuka ag’ekimpatiira ge bongeramu oluvannyuma lw’okuwaayo pulaani yaabwe n’eyisibwa.

    Olw’okuba engoye zitimbibwa mu buli kifo, n’okutambulirayo mu zimu olina kusooka kwewetamu si kulwa ng’okoona emmaali y’abasuubuzi n’ovaayo n’akabalangulo.

    Ebizimbe omwali empewo kati ababeerayo omukka babaka mubake!
    Mu Akeedi gy’osanga n’abavubuka abatalina nsonyi abakyakwatirira abawala n’abakazi ku bubina.

    Nze Akeedi z’omu Kampala nazivuddemu ndojja era nga ntenda bannanyini zo kubeera na mulugube gwa ssente ne batalowooza ku bayingirayo kugula bintu.

    Ono ye Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu!

    #20575
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    ‘KCC ekole ku nguudo z’omu Kisenyi’

    1227009943sweep.jpg

    Oluguudo lwa Kafumbe Mukasa bwe lufaanana ng’enkuba etonnye.

    Bya ERIA LUYIMBAAZI

    ABATUUZE n’abakolera mu Kisenyi basabye KCC ebakolere enguudo z’omu kitundu kyabwe bawone ebinnya.

    Bagamba nti, enguudo okuli olwa Kafumbe Mukasa tezikyayitikamu naddala mu biseera by’enkuba ekibagobyeko abaguzi.

    Richard Kakooza atunda ebyuma yagambye nti, ebinnya bijjudde mu nguudo ekibagobyeko abaguzi naddala mu kiseera kino eky’enkuba kuba abamu tebaagala kuyita mu bisooto n’okutwala mmotoka zaabwe mu binnya n’asaba KCC esitukiremu ebayambe.

    John Mutebi, avuga bodaboda ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa yagambye nti, KCC esiiba ebakwata kyokka eremereddwa okubakolera enguudo eziyita mu Kisenyi ng’abavuzi b’ebidduka bayita ku mbalaza okwewala ebisooto n’ebinnya.

    Hamza Ssekajja yanenyezza KCC nti tefuddeeyo kukola nguudo mu Kisenyi era bakeera kwekolamu mulimu buli enkuba lw’etonnya, okuyoola ettaka mukoko ly’aleka mu luguudo songa gwandibadde mulimu gwa KCC naye tefaayo.

    Geoffrey Malungu yanenyezza Meeya wa Kampala, Ntege Sebaggala nti talina ky’abakoledde kyokka bwe yali anoonya akalulu yabagamba nti embeera ejja kutereera naye bakeera kufungiza ngoye okusobola okuyita mu nguudo ezijjula mukoka mu nkuba.

    Ali Tamale naye yalumbye meeya nti yabasuubiza bingi kyokka talina kye yali abakoledde naddala ku nguudo zaabwe embi.

    Ye omuwandiisi w’olukiiko lwa Muzaana Zooni, Mwasa Mugenyimubi yasabye nti enguudo mu kitundu kino bwe ziddamu okukolebwa, bakole ez’obuwangaazi kubanga ezibadde zikolebwa teziwangaala.

    Published on: Tuesday, 18th November, 2008

    #20981
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Enkuba yagoyezza abantu mu Kampala

    kampala.jpg

    Mmotoka nga ziyita mu mazzi ku ssaawa ya Kwiini

    Bya Musasi waffe

    ENKUBA eyatonnye eggulo mu biseera by’amalya g’ekyemisana yagoyezza Bannakampala era entambula n’egootaana mu bitundu ebisinga naddala ku ssaawa ya Kwiini.

    Mmotoka zaatubiridde mu mazzi agayanjadde mu nguudo era abantu abaabadde batambula baawaliriziddwaokuwalampa obuuma obuli ku mwala gwe Nakivubo okusobola okufuna we basalira okudda ku ludda lwe Katwe.

    Aba bodaboda baabadde ku mugano gwa kusomosa bantu n’okusindika mmotoka ezaazikidde.

    Published on: Wednesday, 10th December, 2008

    KINO KYEKIBUGA EKIKULU EKYE GWANGA ……..KISALIIZA ATE KIKAABYA NAMAZIGA

    #21275
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Jjaamu’ adibizza Kampala

    Akalippagano k’ebidduka mu Kampala keeyongedde ng’abantu beetegekera Ssekukkulu.

    Bya Ahmed Mukiibi

    OMUGOTTEKO gw’abantu, mmotoka, bodaboda, obugaali, ebigaali gufudde Kampala ng’ekiyumba ky’enjuki ng’abantu beetalira Sekukkulu.

    Bino bwe byegasseemu akasana, enfuufu n’eng’ombe za mmotoka ne gujabagira. Eno y’embeera ekibuga Kampala gye kirimu okuva ku Mmande ng’abantu naddala abatambuze bayising’anya ate abasuubuzi beeyiye kumpi mu nguudo wakati okukola eza Ssekukkulu.

    Entambula ya kaweerege olw’ebisale ebyalinnyisiddwa naddala takisi ne bodaboda ate nga n’okutambuza ekigere nakwo kwazibuwadde olw’abantu abangi abateevunya obuteevunya.

    Ebifo ebisinga okubaamu akeetalo ge maduuka aga Arcade, Ekikuubo, mu butale, ne paaka abasuubuzi gye banjadde ebintu ku mbalaza. Engoye empya omuli Jean, empale z’abasajja, engatto, obugoye bw’abaana, amasaati bitundibwa okuva ku 2,000/- okutuuka ku 10,000/-. Eby’okutimba ebya Sekukulu, biva ku 500/- okutuuka ku 5,000/-

    Wabula wadde abantu bangi mu kibuga, abasuubuzi beemulugunya nti abagula batono.

    Published on: Tuesday, 23rd December, 2008 1230034074woman.jpg

    #21499
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Bukedde akubye ttooci mu biyinza okuba mu Kampala omwaka 2009

    BUKEDDEku ssande akubye ttooci mu bintu ebitali bimu ebiyinza okukyuka mu Kampala mu 2009:

    Embeera:
    Kampala agenda kufunda era abantu bangi baakumudduka badde mu byalo olw’obwavu obunaamubamu. Ebyembi, ne mu byalo gye bagenda okuddukira baakusangayo ebibanyiga. Kino kigenda kuleetawo embeera y’obunkenke mu 2009.

    Poliisi ejja kusindiikiriza abantu bangi okuva mu bifo mwe bakolera. Okutundira ku nguudo kwakweyongera kyokka ate ne KCC ejja kubayigganya.

    Ebizimbe bingi byakumeruka mu kibuga era buli wali ekibangirizi waakuzimbibwa.

    Omugotteko:

    Okuzimba ebizimbe ebitaliiko paakingi mu kibuga ssaako okweyongera kw’emmotoka n’abantu kujja kwongera nnyo obulippagano mu Kampala. Takisi zaakubulwa we zisimba mu kibuga era abantu bangi baakutambuzanga bigere okuva mu Kampala okudda ewaabwe.

    Bodaboda nazo zaakweyongera mu kibuga, olw’abantu abaagala okutambula mu bwangu. Obubenje nabwo bwakweyongera era eddwaaliro ly’e Mulago lyakujjula abantu abamenyese amagulu olw’obubenje bwa bodaboda.

    Obuzzi bw’emisango:
    Akanyigo mu Kampala, okugobaganya abantu mu bifo we babadde bakolera n’okweyongera kw’abantu mu kibuga byakuleetawo n’obumenyi bw’amateeka obukyaludde okubaawo.

    Abasazi b’ensawo baakugufuula mugano okunyagulula abantu wadde nga poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe byakwongerwa okuyiibwa mu kibuga.

    Kazambi mu kibuga:
    Ebizimbe bingi byakuzimbibwa ku midumu gya kazambi era mingi gyakweyongera okwabika ekibuga kicuume okukirako kaabuyonjo.

    Amasomero ga UPE:
    Ekibuga kyakuggwaamu amasomero ga pulayimale agali ku musingi gwa UPE. Singa ebimu ku byasalibwawo mu mwaka 2008 bissibwa mu nkola mu 2009, amasomero nga Nakivubo Blue P/s, Nakasero P/s, Buganda Road P/s, Nabagereka P/s ne Bat valley P/s gaakusikizibwa paaka za takisi, wooteeri oba ebifo ebisanyukirwamu. Abaana bakireereese baakweyongera.


    Abasiraamu n’abalokole:

    Okuwa abalokole ekibangirizi ky’Abasiraamu (Abatabuliiki) ku ssaawa ya Kkwiini kyakuleetawo entalo z’eddiini ng’abasiraamu bakiraba ng’okubatyoboola.

    Abalokole baakwongera okupangisa emyaliiro gy’ebizimbe by’omu Kampala basabireko mu biseera by’amalya g’ebyemisana.

    Ebyalo mu Kampala:
    Enkingizzi za Kampala abagagga bagenda kuzisenda. Ekyokulabirako ku bino mulimu Kisenyi, Kamwokya n’ebirala omuli ebivvulu mu kiseera kino.


    Obubbi bw’emmundu:

    Obubbi bujja kweyongera era poliisi mu kugezaako okubulwanyisa bangi bajja ku lusuulamu akaba.

    Ebbula ly’emirimu:
    Abantu abatalina mirimu bakweyongera obungi. Abakozesebwa bangi bajja kugobwa ku mirimu olw’okubba gye bakola.

    Published on: Saturday, 3rd January, 2009

    #21745
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    – – – – – – – – – – – – – – – – – – –
    Garden City built on murder, witchcraft

    Dear Rk, what you don’t know is the story behind this Garden City complex in Kampala. During its construction 30 children were sacrificed. According to one Nyanzi a builder, all heads and genitals came from victims in western region. One Rukanyangira a driver of a pick-up reg. no UC 723 did the deliveries at night and all that rituals were done at night in the presence of Janet the owner of the building. So don’t blame those doing it now, people in government started the business.

    from radio katwe

    GARDEN CITY FROM HELL LWAAKI TEBAGITWAALA NEBAGIZIMBA MU WEST
    OKUWA ABAGANDA OBUZIBU BWOKUGISENDA, KATI NNO ABAGANDA ABAKYAGENDA OKUMALIRAYO SSENTE ZAMMWE MUMANYE BYEMULINNYAKO

    #21756
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Bino byaliwo last year waliwo ekyakolebwaawo okukyuusa embeera eno obutaddamu klafloods21.jpg

    #21757
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    kino kyebayita omuddukirize okwetaaga okuddukirirwa Klafloods2.jpg

    #21758
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Ngo kunganyizza busente bwo enkeera akamotoka ko nooba ngolina ku kannyulula mu mukoka nga tolina guarantee nti kanaddamu okuva mu kifo 3.jpg

    #21759
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Wano tewali ngeri gyewebalama kirwadde ,nga mukoka yegasse ne midumu egitwaala kazambi
    Kyokka nga bakyawoggana nga bwebaleese enkulakulana ddeka busa oba katugiyite mpaawo atalikaaba, kati natuno otuzzi otwa brown tufuuse twabbula atalina ssente talembeka
    sort of kill me quick klafloods8.jpg

    #25540
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Nze lwenayagala okuzza ssente mu nsi yange konze sijja kulinnya nyonyi zabalala kanninye eno eyaffe luli nga nkya kkiririza mu Uganda nenninya uganda airline naye gyenakuba amaaso nge mitto bagisibizza migwa gyambuzi , era buli lwetwabanga nekyeggunda nga nsabirira butayita mu ntobo ya nnyonyi kuyitamu kugwa wansi naye nabano abagamba nti entebe ziba ziririddwa enkuyege , okuba akafananyi ngo tudde kunkuyege nekusimba erinnyo , balaba abuuka ngatandise okweyambula nga bwazisuula eri, lwetulizigula ensi eyaffe eddayo okweyagaza nga buli kimu kikola nga bwekitweeka nga byetulabye tubirabye.

    aaaaaaaaaaaaaaaaaaaaaaaag.jpg

    Ekikwekweto ku takisi envundu kijja
    Tuesday, 10 November 2009 11:50
    [Omuserikale ng’aggya nnamba ku takisi ganyegenya.]

    Omuserikale ng’aggya nnamba ku takisi ganyegenya.
    EBIZIBU bya Bannakampala tebiggwaayo. Obeera okyewuunya ebinnya ebikwaniriza mu kibuga ky’eggwanga ekikulu, ate n’olaba takisi enkadde z’oyinza okuyita envundu nga zifubutukamu abantu abanyumye okuzaama.

    Abantu abamu ku siteegi ezitali zimu bazira okulinnya takisi eziri mu mbeera embi.

    Kyokka waliwo ebifo gy’otosanga takisi nnamu ng’era okusobola okufuna entambula, olina kulwanira ezo embi. Anti bagamba nti, “Omubi akira ebbanga”.

    Mu Kampala mw’osanga takisi ng’eri ku nnamba UAM kyokka nga yonna yasensebuka. Ye bw’oyingira munda, okufuna w’otuula ng’emitto bagisibisizza muguwa nga gino ebisiba ente.

    Waliwo takisi z’osanga ng’emitto gyonna gyaliibwa enkuyege, miyulifuyulifu naye abasaabaze olw’obutaba na kyakukola obasanga batudde nga n’ezimu bazirwanira.

    Ebimotoka bino ebimu okusimbula basindika bisindike ate ebirala bategula bitegule. Ezimu amafuta zinywera mu budomola nga ne munda zonna olowooza nti batisseemu dizero olw’engeri gy’abeera awunya ennyo.
    Ekizibu kya takisi envundu kitandikira ku mmotoka enkadde ezireetebwa mu ggwanga. Engeri takisi ezisinga gye ziggyibwa mu bibanda nga zaavugwamu dda, bwe zituuka ku nguudo z’omu Kampala embi gattako badereeva abavugisa ekimama n’abaziyigiramu, kizireetera okwongera okwonooneka.

    Takisi eziri mu mbeera embi zisinga ku siteegi ya Bwaise – Kazo, Bwaise – Lugoba, gattako bududu obuva mu paaka zombi okudda e Lubaga ne Mengo. Kuno kwossa ez’e Makindye Luwafu, Nsambya Keviina.

    Mu budde obw’emisana, takisi envundu oyinza obutazisanga ku nguudo naye bwe buziba naddala eyo nga zituuse mu ssaawa ttaano ez’ekiro ng’olwo zivaayo gye bazikukulira nga zidda ku kkubo kukola mmaali. Takisi envundu zitambulira ddala okutuusa ku ssaawa nga 12 ez’oku makya.

    Atwala poliisi y’ebidduka mu Kampala, Steven Odongkara yagambye nti bateekateeka ebikwekweto ssinziggu ku takisi envundu. We twatuukidde ku Mmande, nga baakakwata mmotoka ezisoba mu 25. Yagambye nti ebikwekweto byakumala wiiki bbiri era enguudo omuli Bwaise, Nsambya ne Mengo bazitaddeko nnyo amaanyi.

    Faisal Nsereko agamba nti yalinnya takisi okuva e Kasubi naye yali asituka okufuluma, empale ye ekyuuma ekyali ku ngulu ne kigiyuza.

    Yayongeddeko nti oluusi awalirizibwa okukeera ennyo n’atambuza ebigere asobole okwewala okulinnya takisi kubanga kyenkana zonna eziri ku siteegi kw’alinnyira nvundu.

    Caroline Muwanga agamba lumu yalinnya takisi enkadde naye yali agenda kufa ebbugumu. “Takisi olwasimbula buli ntebe n’etandika okubuguumirira era buli yalimu n’atuuyana”.

    Isma Ndaula yasabye poliisi ekomye okulya enguzi ku bavuga ebimotoka ebitwala abantu ebivundu, wabula bebimotoka bino bitemwemu essigiri. Yawagiddwa Kakooza Ssemugabi.

    John Michael agamba nti lumu yali atudde agenda Kawaala, takisi n’etandika okunyooka omukka. Kyokka bwe baagamba dereeva yaddamu nti, “mutuule eyo ekizoosi”.

    #25542
    Busagwa
    Busagwa
    Participant

    Bannange Uganda kati yafuuka “Tugezeeko tulabe” era okutambulira
    mu Mmotoka ewaffe oba omaze kulaama!!Bano abajjira ku waya abeyita abakulembeze ekigendererwa kyaabwe kwaali kunyagulula!!
    era Namagye gaffe wadde Polisi basula mu nsiisira!! Kabuyonjo bamussa mitweetwe!!Tusabe Omutonzi atuwangaaze tusobole okukutula enjegere ezitusibye kumawanga tuddeyo ewaffe!!

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 17 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.