Buganda’s Indepence 8 October 1962

  • This topic has 7 voices and 7 replies.
Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • Author
    Posts
  • #18607
    JonaJona
    Participant

    Buganda’s Independence 8. October 1962

    Twafuna obwetwaaze nga 8 October 1962. Newankubadde obwetwaaze bwaffe babufutyanka, olunaku olwo tulukuze ffe ng’abaganda. Twogere ku betufunye mu kwefuga kwaffe, tulowooze nekubijja mumaaso.

    Tulage ensi nti tukuza obwetwaze bwaffe nga Buganda.

    Plan yange yakukola plakat oba posters nzitimbe wano mukibuga wendi, abaganda bonna abali wano bazukuke.

    Njagala n’okukola bu pamphlets nga bulaga Buganda nsi ki era esangibwa wa. Njagala nokussaamu ebizibu Buganda Kingdom bwesanze kasokedde yefuga.

    Sabasajja awangaale.

    #19464
    MulongoMulongo
    Participant

    Ate era nga eno ye saawa eyokutandika okutegeka okukuza olunaku lwaffe luno. Naye mu butuufu, luno olunaku ssi lwa Buganda kufuna bwetwaaze. Luno lwe lunaku olwa fulumizibwako empapula eziwa Buganda obwetwaaze mu mateeka, ku mpapula. Emancipation Day. Kubanga bino bintu bibiri bya njawulo, era bwogenderera ebyadirira, nokutuusa kati engeri abagwiira gyeberembeka mu nsonga zaffe olabira ddala nga tukyalina olugendo yadde nga kati gyetulaga tulabayo bulungi ddala.

    Kati ekyokuddamu nze bwennetegese okulukuza;
    Wano waliwo African Women’s Festival ku nkomerero ya September. Festival eno ekungaanya nkumi nenkumi za bantu. Eriyo okufumba nokutunda ebyemikono nokuyimba nokuzina. Twagetese dda abawala abanazina nankasa. Twafuna dda emikeeka gyaffe nenkofiira nebirala ebyokutunda. Tugenda kufumba eddigobe erya buli kika kyetunasobola, okulaga enfumba ye Kiganda. Eriyo nokuwa speech. Ne Bendera ya Buganda tujja kugitimba, ne kifaananyi kya Sabasajja nebirala ebiraga ebifo ebye njawulo mu Buganda. Awo wenkyaali.

    #19549
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Abalina plans eyo ezolunaku lwa Buganda luno zigenda zitya? Nze eno mbadde nsubira nti wano ku Ababaka.com twandibaddewo n’olukungaana, netuteesa wano ku forum, oba netunyumyaamu mu chat room, nga bwetuwulira ekiggunda. Naye Abaganda bategedde batya ekiteeso kino? Mwami Kigongo jangu obeeko kyagamba wano.

    #19567
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Kiteeso kirungi kino, naye entegeka gyetubadde tutambulirako nga ya chatroom kutandika kukola mu butongole nga Omukutu gwa Abaganda gumaze okutandika okuweereza ennyimba. Abakiise mwongere okuwa amagezi ku kiteeso kino, nga naffe eno bwetulaba bwetwongera okutegeka. Bwetuba abokutuula mu Kanyumizo kwoolwo olwa 8 October, tujja kuba nga tulina okutandika okuyita abantu awo nga 24 September.

    #19577
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze ewange ngenda kukokola ekijjulo makeke naye nga yonna mmere nganda gyendizuula mmale ntiimbe ebifananyi ebya bazira baffe byonna byensobola okufuna nsuleko obuyimba obweeka obugendera kumukolo nga Twalaba entiisa , Musenze alanda Eddame lya Chwa nendala ezijjirawo kumukolo , ndage mikwaano gyange ebyafaayo byaffe byonna nga bwebizze nembeera gyetwagala okuberamu nga ABENDA YA NNAKALAAMA

    Kiteeso kirungi netusisisnkana mu kanyumizo netumanyangana wamu nokujaguliza awamu

    AWANGAALE SSABASAJJA KABAKA NANTAWETWA MAGULU NYONDO

    EYETTA YETTE

    #19855
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Kyannaku nti nze sisobodde kubaako kyenkola ku lunaku luno, kubanga nkola enkya neggulo. Naye ekirungi, ekitiibwa kya Buganda kyaava dda, era Omulimu gwokukikuuma gwa buli lunaku.

    Awangaale Sabasajja Kabaka Wa Buganda.

    #19873
    MugerekaMugereka
    Participant

    Yii bannange nga nsanyuse. Nnali simanyi nti eriyo abantu abajjukira okukuza olunaku luno. Nnali siwulirangako okuva mu buto bwange bwonna nga olunaku luno lwogeretwako nti tukungaane. Era Ababaka.com tugyebaze nti wano ku mawanga etuwadde omukisa ogukungaana, ne Katonda yebazibwe eyawa amagezi abayyiiya internet. Yadde nga tutula wano bwetuti, era kikulu nnyo eri buli Muganda yenna. Ne bannanfe abaava mu bulamu abali mu ggulu batutunulako nebamweenya.

    #19883
    MugerekaMugereka
    Participant

    Nze bwempulidde bwebagaanye Kabaka Waffe okugenda mu bitundu ebimu ebya Buganda, nenteekako akayimba kano, era obwedda kempuliriza nga kekampooya wooya. Naye ekikulu kyendoowoza nze, abagala okugenda e Bunyoro bagende, bave okwaffe. Ffe tetulina gwetukwatira mu Buganda.

    http://www.youtube.com/watch?v=-s7QNpqiqsc

Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.