Busemba emu ku ng’oma z’Obwakabaka

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Olulimi Oluganda / Luganda Language Busemba emu ku ng’oma z’Obwakabaka

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17770
    KulabakoKulabako
    Participant

    Ajjukiza Busemba y’agikuba.

    Busemba emu ku ng’oma z’Obwakabaka

    MUJAGUZO. Eminyoro gyayo gyabanga magumba ga muntu; buli Kabaka yagikubisanga gigye! Mujaguzo bwe yakung’aananga okuvugira Kabaka omuggya mu bugenderevu Busemba baagirekangayo. Kati awo omuntu bwe yamalanga n’ajjukiza nti Busemba teriiwo, oyo abambowa gwe battanga (bamussanga bikonde) ne bamuggyako emikono ne bawundamu eminyoro!

    Olugero luno lutulabula obuteebuuzanga bintu bya kabi kubanga tuyinza okubyeyitira!
    Essomo lya leero awo we likomye.

    Katonda kuuma Buganda.

    Ssaabasajja Kabaka awangaale

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.